LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Okitobba lup. 6-11
  • Oli ‘Muwulize’?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oli ‘Muwulize’?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • GONDERA BAZADDE BO
  • GONDERA “AB’OBUYINZA”
  • GOBERERA OBULAGIRIZI OBUTUWEEBWA EKIBIINA KYA YAKUWA
  • “Abaana Abato, Muwulirenga Abazadde Bammwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Yesu Yali Muwulize Nnyo
    Yigiriza Abaana Bo
  • Ani Gwe Tusaanidde Okugondera?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Obuwulize Bukukuuma
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Okitobba lup. 6-11

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42

Oli ‘Muwulize’?

“Amagezi agava waggulu . . . mawulize.”​—YAK. 3:17.

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

OMULAMWAa

1. Lwaki oluusi tekitubeerera kyangu kuba bawulize?

OLUUSI kikuzibuwalira okuba omuwulize? Kabaka Dawudi oluusi tekyamubeereranga kyangu kuba muwulize, era eyo ye nsonga lwaki yasaba Katonda nti: “Nzisaamu omwoyo ogwagala okukugondera.” (Zab. 51:12) Dawudi yali ayagala nnyo Yakuwa. Wadde kyali kityo, oluusi yazibuwalirwanga okuba omuwulize, era naffe oluusi tuzibuwalirwa okuba abawulize. Lwaki? Ensonga esooka eri nti, ekibi kye twasikira kituleetera okwagala okujeema. Ey’okubiri, buli kiseera Sitaani aba agezaako okutuleetera okuba abajeemu nga naye bw’ali omujeemu. (2 Kol. 11:3) Ey’okusatu, twetooloddwa abantu abooleka omwoyo gw’obujeemu, kwe kugamba, “omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.” (Bef. 2:2) N’olwekyo, tulina okufuba ennyo okulwanyisa obutali butuukirivu bwaffe n’okwewala okutwalirizibwa Sitaani n’abantu abakola by’ayagala abagezaako okutuleetera okuba abajeemu. Kitwetaagisa okufuba ennyo okuba abawulize eri Yakuwa n’eri abo b’awadde obuyinza obw’ekigero.

2. Kiki ekizingirwa mu kuba abawulize? (Yakobo 3:17)

2 Soma Yakobo 3:17. Yakobo yawandiika nti abantu ab’amagezi baba ‘bawulize.’ Ekyo kiraga nti tulina okuba abeetegefu okugondera abo Yakuwa b’awadde obuyinza obw’ekigero. Kya lwatu nti Yakuwa tatusuubira kugondera muntu atulagira kumenya amateeka ge.​—Bik. 4:​18-20.

3. Lwaki Yakuwa akitwala nti kikulu okugonda abo bawadde obuyinza?

3 Kiyinza okutwanguyira okugondera Yakuwa okusinga okugondera abantu. Ekyo kiri kityo kubanga bulijjo obulagirizi Yakuwa bw’awa butuukiridde. (Zab. 19:7) Naye ekyo si bwe kiri eri abantu abalina obuyinza. Wadde kiri kityo, Kitaffe ow’omu ggulu awadde abazadde, abakungu ba gavumenti, n’abakadde mu kibiina obuyinza obw’ekigero. (Nge. 6:20; 1 Bas. 5:12; 1 Peet. 2:​13, 14) Bwe tubagondera, tuba tugondera Yakuwa. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okugondera abantu Yakuwa b’awadde obuyinza wadde ng’oluusi obulagirizi bwe batuwa buyinza okutuzibuwalira okukolerako.

GONDERA BAZADDE BO

4. Lwaki abaana bangi tebagondera bazadde baabwe?

4 Abaana beetooloddwa baana bannaabwe ‘abatagondera bazadde baabwe.’ (2 Tim. 3:​1, 2) Lwaki abaana bangi tebaagala kugondera bazadde baabwe? Abamu bakiraba nti bazadde baabwe bannanfuusi. Abazadde bye balagira abaana okukola bo tebabikolerako. Abaana abamu obulagirizi bazadde baabwe bwe babawa babulaba ng’obwava ku mulembe, ng’obutakyakola, oba ng’obubakugira ennyo. Bw’oba ng’oli mwana, naawe oluusi bw’otyo bw’atwala obulagirizi bwa bazadde bo? Abaana bangi bazibuwalirwa okukolera ku kiragiro kya Yakuwa ekigamba nti: “Mugonderenga bazadde bammwe mu Mukama waffe kubanga kino kya butuukirivu.” (Bef. 6:1) Kiki ekiyinza okukuyamba okugondera ekiragiro ekyo?

5. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 2:​46-52, lwaki tugamba nti Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kugondera bazadde be ng’akyali muto?

5 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kuba omuwulize. (1 Peet. 2:​21-24) Wadde yali atuukiridde, bazadde be baali tebatuukiridde. Naye yabassangamu ekitiibwa ne bwe baakolanga ensobi oba ne bwe baabanga bamutegedde mu bukyamu. (Kuv. 20:12) Lowooza ku ekyo ekyaliwo nga Yesu alina emyaka 12. (Soma Lukka 2:​46-52.) Ye ne bazadde baagenda e Yerusaalemi okukwata embaga. Naye bwe baali bakomawo, bazadde be tebaakitegeera nti teyali nabo. Bwali buvunaanyizibwa bwa Yusufu ne Maliyamu okukakasa nti abaana baabwe bonna bali nabo nga baddayo eka. Oluvannyuma Yusufu ne Maliyamu bwe baazuula Yesu, Maliyamu yanenya Yesu olw’okusigala mu Yerusaalemi. Yesu yandibadde amugamba nti tekyali kya bwenkanya kumunenya. Mu kifo ky’ekyo, yaddamu bazadde be mu ngeri eyali eraga nti yali abassaamu ekitiibwa. Kyokka Yusufu ne Maliyamu tebaategeera “makulu g’ebyo bye yabagamba.” Wadde kyali kityo, Yesu “yeeyongera okubagondera.”

6-7. Kiki ekiyinza okuyamba abaana okugondera bazadde baabwe?

6 Abaana, oluusi muzibuwalirwa okugondera bazadde bammwe bwe baba nga bakoze ensobi oba nga babategedde mu bukyamu? Kiki ekiyinza okubayamba okubagondera? Ekisooka, mulowooze ku ngeri Yakuwa gy’akitwalamu. Bayibuli egamba nti bwe mugondera bazadde bammwe “kisanyusa Mukama waffe.” (Bak. 3:20) Bazadde bammwe bwe baba nga babategedde mu bukyamu oba nga babateereddewo amateeka agatali mangu kugondera, ekyo Yakuwa aba akiraba. Naye bwe musalawo okubagondera, mumusanyusa.

7 Eky’okubiri, mulowooze ku ngeri bazadde bammwe gye bawuliramu. Bwe mubagondera, kibasanyusa era beeyongera okubeesiga. (Nge. 23:​22-25) Ate era mweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere nabo. Alexandre ow’omu Bubirigi agamba nti: “Bwe nnatandika okugondera bazadde bange, enkolagana yange nabo yeeyongera okunywera era tweyongera okuba abasanyufu.”b Eky’okusatu, mulowooze ku ngeri okugondera bazadde bammwe kati gye kijja okubayambamu oluvannyuma. Paulo, abeera mu Brazil, agamba nti, “Okuyiga okugondera bazadde bange kinnyambye okuyiga okugondera Yakuwa n’abalala abalina obuyinza.” Ekigambo kya Katonda kiraga ensonga endala enkulu lwaki osaanidde okugondera bazadde bo. Kigamba nti: “Osobole okubeera obulungi era owangaale ku nsi.”​—Bef. 6:​2, 3.

8. Lwaki abaana bangi basalawo okugondera bazadde baabwe?

8 Abaana bangi bakirabye nti okugondera bazadde baabwe kivaamu ebirungi bingi. Luiza naye abeera mu Brazil, mu kusooka yalinga azibuwalirwa okutegeera ensonga lwaki okumala ekiseera bazadde be baali tebamukkiriza kuba na ssimu, kyokka ng’abaana abasinga obungi ab’emyaka gye baalina essimu. Naye oluvannyuma yakiraba nti bazadde be okumugaana okuba n’essimu baali bamukuuma. Kati akimanyi nti bazadde be bwe bamuwa amateeka tasaanidde kukitwala nti bamukugira nnyo, kubanga aba ageetaaga. Elizabeth, abeera mu Amerika, oluusi awulira ng’azibuwalirwa okugondera bazadde be. Agamba nti, “Bwe mba nga sitegeera bulungi nsonga lwaki bazadde bange banteerawo amateeka agamu, nfumiitiriza ku mulundi amateeka ge banteerawo lwe gannyamba.” Monica, abeera mu Armenia, agamba nti buli lw’agondera bazadde be ebintu bimugendera bulungi okusinga lw’atabagondera.

GONDERA “AB’OBUYINZA”

9. Abantu bangi batwala batya eky’okugondera amateeka?

9 Abantu bangi bakkiriza nti gavumenti tuzeetaaga era nti tusaanidde okugondera agamu ku mateeka “ab’obuyinza” ge batuteerawo. (Bar. 13:1) Kyokka abantu abo be bamu bayinza okugaana okugondera amateeka ge bataagala oba ge batwala nti si ga bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ky’okusasula emisolo. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu nsi emu ey’omu Bulaaya, abantu 25 ku kikumi bakitwala nti “kiba kituufu obutasasula musolo kasita oba ng’okiraba nti si kya bwenkanya okugusasula.” Tekyewuunyisa nti abantu bangi mu nsi eyo tebasasula misolo gavumenti gy’ebeetaagisa okusasula.

Maliyamu atudde ku ndogoyi era nga Yusufu amukulembeddemu nga bagenda e Besirekemu. Ebifaananyi: 1. Ow’oluganda atunula ku kalimi akalaga sipiidi y’emmotoka ng’ayita ku kapande akalaga sipiidi gy’alina okuvugirako. 2. Ow’oluganda ng’ajjuzaamu foomu kw’asasulira omusolo. 3. Mwanyinnaffe ayambade masiki ng’ayogera n’omusawo era amwesudde akabanga.

Kiki kye tuyigira ku Yusufu ne Maliyamu ku kuba abawulize? (Laba akatundu 10-12)c

10. Lwaki tusaanidde okugondera n’amateeka ge tuwulira nti tetwandyagadde kugagondera?

10 Bayibuli eraga nti gavumenti z’abantu zireetera abantu okubonaabona, ziri wansi w’obuyinza bwa Sitaani, era nti zinaatera okuzikirizibwa. (Zab. 110:​5, 6; Mub. 8:9; Luk. 4:​5, 6) Kyokka era egamba nti “oyo awakanya ab’obuyinza aba awakanya enteekateeka ya Katonda.” Mu kiseera kino Yakuwa alese gavumenti z’abantu okufuga okusobola okukuuma obutebenkevu, era atusuubira okuzigondera. N’olwekyo tulina okuwa ab’obuyinza ‘bye tuteekeddwa okubawa,’ omuli okusasula omusolo, okubassaamu ekitiibwa, n’okubagondera. (Bar. 13:​1-7) Wayinza okubaawo etteeka lye tulaba nti litukaluubirira okugondera, nti si lya bwenkanya, oba nti kitwetaagisa okusaasaanya ssente nnyingi okuligondera. Wadde kiri kityo, tugondera ab’obuyinza kubanga Yakuwa ayagala tubagondere kasita kiba nti amateeka ge batuwa tegakontana na mateeka ge.​—Bik. 5:29.

11-12. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 2:​1-6, kiki Yusufu ne Maliyamu kye baakola okugondera etteeka eritaali lyangu, era biki ebyavaamu? (Laba n’ebifaananyi.)

11 Tulina kye tuyigira ku Yusufu ne Maliyamu abaagondera ab’obuyinza ne mu mbeera etaali nnyangu. (Soma Lukka 2:​1-6.) Maliyamu bwe yali ng’ali lubuto lwa myezi nga mwenda, gavumenti erina ekintu kye yali ebeetaagisa okukola ekitaali kyangu. Kabaka wa Rooma eyali ayitibwa Agusito, yayisa etteeka nti abantu bonna mu ttwale lye beewandiise. Yusufu ne Maliyamu baalina okutindigga olugendo lwa Mayiro 93 nga bayita mu bitundu eby’ensozi okugenda e Besirekemu. Olugendo olwo terwandibadde lwangu naddala eri Maliyamu. Yusufu ne Maliyamu bayinza okuba nga baali beeraliikirira olw’obulamu bwa Maliyamu n’obw’omwana eyali tannazaalibwa. Watya singa ebisa byanditandise okulumira Maliyamu mu kkubo? Mu lubuto lwe mwalimu omwana eyali agenda okuba Masiya. Ekyo bandikitudde ng’ekyekwaso okujeemera gavumenti?

12 Wadde nga Yusufu ne Maliyamu baalina ensonga ze baali basinziirako okweraliikirira, baagondera etteeka eryo. Yakuwa yabawa emikisa olw’okuba abawulize. Baatuuka bulungi e Besirekemu, Maliyamu n’azaala omwana omulamu obulungi, era n’ayambako mu kutuukiriza obunnabbi obuli mu Bayibuli!​—Mi. 5:2.

13. Bwe tuba abawulize kiyinza kitya okukwata ku bakkiriza bannaffe?

13 Bwe tugondera ab’obuyinza kituganyula era kiganyula n’abalala. Mu ngeri ki? Tuwona okuweebwa ebibonerezo ebiweebwa abo abamenya amateeka. (Bar. 13:4) Ate era kikwata ku ngeri ab’obuyinza gye batwalamu Abajulirwa ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, emyaka mingi emabega mu Nigeria, abasirikale baayingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, nga banoonya abantu abaali beekalakaasa nga tebaagala kusasula musolo. Omusirikale eyali akulira abasirikale abo yabalagira okufuluma mu Kizimbe ky’Obwakabaka n’agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa basasuzi ba misolo.” Buli lw’ogondera ab’obuyinza, oyambako mu kukuuma erinnya eddungi ery’abantu ba Yakuwa, era lumu ekyo kiyinza okuviirako bakkiriza banno okufuna obukuumi.​—Mat. 5:16.

14. Kiki ekyayamba mwannyinaffe omu okuba ‘omuwulize’ eri ab’obuyinza?

14 Kyokka oluusi tuyinza okuwulira nga tukaluubirirwa okugondera ab’obuyinza. Joanna abeera mu Amerika agamba nti: “Kyanzibuwaliranga nnyo okugondera ab’obuyinza kubanga baali bayisizza bubi nnyo abamu ku b’eŋŋanda zange.” Naye Joanna yafuba nnyo okukyusa endowooza ye. Okusookera ddala yalekera awo okusoma ebyo ebiteekebwa ku mitimbagano ebyali bimwongera okuba n’endowooza embi ku b’obuyinza. (Nge. 20:3) Eky’okubiri, yasaba Yakuwa amuyambe okweyongera okumwesiga mu kifo ky’okusuubirira mu nkyukakyuka ezandibaddewo mu gavumenti z’abantu. (Zab. 9:​9, 10) Eky’okusatu, yasoma ebitundu mu bitabo byaffe ebyogera ku butabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. (Yok. 17:16) Joanna agamba nti kati okugondera ab’obuyinza kimuyambye okuba n’emirembe ku mutima.

GOBERERA OBULAGIRIZI OBUTUWEEBWA EKIBIINA KYA YAKUWA

15. Lwaki oluusi tekitubeerera kyangu okugoberera obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa?

15 Yakuwa atulagira okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina. (Beb. 13:17) Wadde nga Yesu, Omukulembeze waffe atuukiridde, abo b’akozesa okutukulemberamu wano ku nsi tebatuukiridde. Kiyinza obutatwanguyira kubagondera nnaddala singa batugamba okukola ekintu kye tutaagala kukola. Lumu omutume Peetero yakaluubirirwa okugondera ekiragiro ekyamuweebwa. Malayika bwe yamulagira okulya ensolo ezaali ziragibwa mu Mateeka ga Musa nti si nnongoofu, emirundi esatu miramba Peetero yagaana okugondera ekiragiro ekyo! (Bik. 10:​9-16) Lwaki? Yali akiraba nti kyali tekikola makulu gy’ali. Kyali kya njawulo nnyo ku ngeri gye yali azze akolamu ebintu obulamu bwe bwonna. Bwe kiba nti Peetero yakaluubirirwa okugondera ekiragiro malayika atuukiridde kye yamuwa, tekyewuunyisa nti kizibu nnyo n’okusingawo ffe okukolera ku bulagirizi obutuweebwa abantu abatatuukiridde!

16. Wadde nga Pawulo ayinza okuba nga yali akiraba nti obulagirizi obwamuweebwa bwali tebukola makulu, kiki kye yakola? (Ebikolwa 21:​23, 24, 26)

16 Omutume Pawulo yali ‘muwulize’ ne bwe yaweebwa obulagirizi bwe yali ayinza okuba ng’alaba nti tebukola makulu. Abakristaayo Abayudaaya baali bawulirizza ebintu eby’obulimba ebyamwogerwako ebyali biraga nti yali agamba abantu “okuleka Amateeka ga Musa,” era nti yali tagassaamu kitiibwa. (Bik. 21:21) Abakadde b’omu kibiina ky’e Yerusaalemi baalagira Pawulo okugenda n’abasajja bana ku yeekaalu yeetukuze nga bwe kyali kiragibwa mu Mateeka ga Musa, asobole okukiraga nti yali agondera Amateeka ago. Naye Pawulo yali akimanyi nti Abakristaayo baali tebakyali wansi w’Amateeka ga Musa. Ate era teyalina kikyamu kyonna kye yali akoze. Wadde kyali kityo, Pawulo yakolera ku bulagirizi obwamuweebwa. “Ku lunaku olwaddako, . . . yatwala abasajja ne yeetukuliza wamu nabo.” (Soma Ebikolwa 21:​23, 24, 26.) Obuwulize bwa Pawulo bwayambako mu kwongera okuleetawo obumu.​—Bar. 14:​19, 21.

17. Kiki ky’oyigidde ku Stephanie?

17 Mwannyinaffe ayitibwa Stephanie yakaluubirirwa okukkiriza ekyo ab’oluganda abaali batwala obukulembeze kye baali basazeewo. Ye n’omwami we baali baweerereza mu kibinja ekyali kyogera olulimi olulala era baali basanyufu nnyo. Oluvannyuma ofiisi y’ettabi yaggyawo ekibinja ekyo era ne balagirwa okugenda mu kibiina ekyogera olulimi lwabwe. Stephanie agamba nti, “Ekyo kyampisa bubi nnyo. Nnali sikikkiriza nti waaliwo obwetaavu bwa maanyi mu kibiina ekyogera olulimi lwaffe.” Wadde kyali kityo, yagondera obulagirizi obwabaweebwa. Agamba nti, “Oluvannyuma lw’ekiseera, nnakiraba nti kyali kya magezi ab’oluganda okusalawo bwe batyo. Mu kibiina kyaffe bangi tebalina ba ŋŋanda zaabwe baweereza Yakuwa, n’olwekyo tufuuse nga bazadde baabwe. Kati njiga Bayibuli ne muganda wange eyali aweddemu amaanyi, era nnina ebiseera bingi eby’okwesomesa.” Stephanie agattako nti, “Omuntu wange ow’omunda tannumiriza kubanga nkimanyi nti nfubye okuba omuwulize.”

18. Tuganyulwa tutya mu kuba abawulize?

18 Tusobola okuyiga okuba abawulize. Yesu “yayiga obuwulize.” Naye teyabuyigira mu mbeera etaalimu kizibu kyonna, wabula yabuyigira mu bintu “bye yayitamu ng’abonaabona.” (Beb. 5:8) Okufaananako Yesu, emirundi mingi obuwulize tubuyigira mu mbeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, ekirwadde kya COVID-19 bwe kyali kyakabalukawo ne tusabibwa obutakuŋŋaaniranga ku Bizimbe by’Obwakabaka era n’okulekera awo okubuulira nnyumba ku nnyumba, wakaluubirirwa okugoberera obulagirizi obwo? Wadde nga kiyinza okuba kyali kityo, obuwulize bwakukuuma, bwakuyamba okweyongera okuba obumu ne baganda bo, era bwasanyusa Yakuwa. Kati ffenna tweyongedde okuba abeetegefu okugondera obulagirizi obunaatuweebwa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Okuba abawulize kijja kuwonyaawo obulamu bwaffe!​—Yob. 36:11.

19. Lwaki oyagala okuba omuwulize?

19 Tulabye nti okuba abawulize kivaamu emikisa mingi. Naye okusingira ddala ekituleetera okuba abawulize eri Yakuwa kwe kuba nti tumwagala era twagala okumusanyusa. (1 Yok. 5:3) Tewali kye tuyinza kusasula Yakuwa olw’ebyo byonna by’atukoledde. (Zab. 116:12) Kyokka tusobola okumugondera era n’okugondera abo abatulinako obuyinza. Bwe tukola tutyo, kyoleka nti tuli ba magezi; ate abantu ab’amagezi basanyusa omutima gwa Yakuwa.​—Nge. 27:11.

KIKI EKITUKUBIRIZA . . .

  • okugondera bazadde baffe, bwe tuba nga tukyali bato?

  • okugondera “ab’obuyinza”?

  • okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa?

OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa

a Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna oluusi tuzibuwalirwa okuba abawulize, ne bwe kiba nti oyo aba atuwadde ebiragiro alina obuyinza okubituwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba emiganyulo egiri mu kugondera abazadde, “ab’obuyinza,” n’ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina.

b Okusobola okumanya engeri gy’oyinza okwogera ne bazadde bo ku mateeka gye bakuwa agakukaluubirira okugondera, laba ekitundu, “How Can I Talk to My Parents About Their Rules?” (“Nnyinza Ntya Okwogera ne Bazadde Bange ku Mateeka ge Banteerawo?”), ku jw.org.

c EBIFAANANYI: Yusufu yagondera ekiragiro kya Kayisaali n’agenda okwewandiisa mu Besirekemu. Leero Abakristaayo bagondera amateeka agakwata ku by’enguudo, ku kusasula omusolo, ne ku by’obulamu, agassibwawo “ab’obuyinza.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share