EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47
Tuyinza Tutya Okukuuma Okwagala Kwe Tulina eri Abalala nga Kunywevu?
“Tweyongere okwagalana, kubanga okwagala kuva eri Katonda.”—1 YOK. 4:7.
OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima
OMULAMWAa
1-2. (a) Lwaki omutume Pawulo yagamba nti okwagala kwe “kusinga” engeri zonna? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
OMUTUME Pawulo bwe yali ayogera ebikwata ku kukkiriza, essuubi, n’okwagala, yagamba nti “okwagala kwe kusinga.” (1 Kol. 13:13) Lwaki Pawulo yagamba bw’atyo? Kubanga mu biseera eby’omu maaso tujja kuba tetukyetaaga kukkiririza mu bisuubizo bya Katonda ebikwata ku nsi empya oba okubisuubiriramu, olw’okuba bijja kuba bimaze okutuukirira. Naye bulijjo kijja kutwetaagisanga okwagala Yakuwa n’abantu. Mu butuufu, okwagala okwo kujja kweyongera emirembe n’emirembe.
2 Okuva bwe kiri nti bulijjo kijja kutwetaagisanga okwoleka okwagala, kikulu okwekenneenya ebibuuzo bino bisatu. Ekisooka, lwaki tusaanidde okwagalana? Eky’okubiri, tulaga tutya abalala okwagala? Eky’okusatu, okwagala kwe tulina eri abalala tuyinza tutya okukuuma nga kunywevu?
LWAKI TUSAANIDDE OKWAGALANA?
3. Lwaki tusaanidde okwagalana?
3 Lwaki tusaanidde okuba nga twagalana? Okulagaŋŋana okwagala kitwawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima. Yesu yagamba abatume be nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:35) Ate era, bwe tulagaŋŋana okwagala kituyamba okuba obumu. Pawulo yagamba nti okwagala “kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:14) Kyokka, waliwo ensonga endala enkulu lwaki tusaanidde okulagaŋŋana okwagala. Omutume Yokaana yawandiikira bakkiriza banne nti: “Oyo ayagala Katonda asaanidde okwagala ne muganda we.” (1 Yok. 4:21) Bwe tulagaŋŋana okwagala, tuba tulaga nti twagala Katonda.
4-5. Waayo ekyokulabirako ekiraga akakwate akaliwo wakati w’okwagala kwe tulina eri Katonda n’eri bannaffe.
4 Lwaki kigambibwa nti okwagala kwe tulina eri Katonda kulina akakwate n’okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe? Okusobola okutegeera ekyo, ka tulabe akakwate akaliwo wakati w’omutima gwaffe n’ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Omusawo bw’aba ayagala okumanya embeera omutima gwaffe gye gulimu, atunyiga ku mukono okumpi n’ekibatu okuwulira engeri omusaayi gye gutambulamu. Kiki kye tuyigira ku ky’okulabirako ekyo?
5 Omusawo bw’atunyiga ku mukono okuwulira engeri omusaayi gye gutambulamu asobola okumanya obanga omutima gwaffe gw’amaanyi oba munafu. Mu ngeri y’emu, tusobola okumanya oba ng’okwagala kwe tulina eri Katonda kw’amaanyi bwe twekenneenya engeri gye tulagamu abalala okwagala. Bwe tukiraba nti okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kukendedde, ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti n’okwagala kwe tulina eri Katonda kugenda kukendeera. Naye bwe tuba nga bulijjo tulaga bakkiriza bannaffe okwagala, ekyo kiba kiraga nti okwagala kwe tulina eri Katonda kwa maanyi.
6. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe bwe kuba nga kugenda kukendeera, lwaki kiba kizibu kya maanyi? (1 Yokaana 4:7-9, 11)
6 Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe bwe kuba nga kugenda kukendeera, ekyo kiba kiraga nti waliwo ekizibu eky’amaanyi. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga tuba tuli mu kabi ak’okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ekyo omutume Yokaana yakyoleka bulungi bwe yagamba nti: “Oyo atayagala muganda we gw’alabako tayinza kwagala Katonda gw’atalabangako.” (1 Yok. 4:20) Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti Yakuwa okusobola okuba ng’atusiima, tulina okuba nga ‘twagalana.’—Soma 1 Yokaana 4:7-9, 11.
TUKIRAGA TUTYA NTI TWAGALA ABALALA
7-8. Ebimu ku bintu bye tusobola okukola okulaga nti twagala abalala bye biruwa?
7 Mu Bayibuli, enfunda n’enfunda tukubirizibwa okulagaŋŋana ‘okwagala.’ (Yok. 15:12, 17; Bar. 13:8; 1 Bas. 4:9; 1 Peet. 1:22; 1 Yok. 4:11) Kyokka okwagala ngeri ebeera mu mutima era tewali muntu asobola kulaba kiri mu mutima gwaffe. Kati olwo abalala bayinza batya okukimanya nti tubaagala? Okuyitira mu bye twogera ne bye tukola.
8 Waliwo ebintu bye tusobola okukola okulaga nti twagala bakkiriza bannaffe. Bayibuli eraga ebimu ku bintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, egamba nti: “Mwogerenga amazima buli omu eri munne.” (Zek. 8:16) “Mube n’emirembe buli omu ne munne.” (Mak. 9:50) “Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10) “Musembezeganyenga.” (Bar. 15:7) “Mweyongere . . . okusonyiwagananga.” (Bak. 3:13) “Buli muntu yeetikkenga omugugu gwa munne.” (Bag. 6:2) “Buli omu abudeebudenga munne.” (1 Bas. 4:18) “Muzimbaganenga.” (1 Bas. 5:11) “Musabiraganenga.”—Yak. 5:16.
Tuyinza tutya okuyamba mukkiriza munnaffe ayolekagana n’ebizibu? (Laba akatundu 7-9)
9. Lwaki bwe tubudaabuda abalala, kiba kiraga nti tubaagala? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Kati ka twekenneenye ekimu ku bintu ebyogeddwako mu katundu akavuddeko kye tusobola okukola okulaga nti twagala abalala. Pawulo yagamba nti: “Buli omu abudeebudenga munne.” Lwaki okubudaabuda abalala kiraga nti tubaagala? Okusinziira ku kitabo ekimu ekinnyonnyola ebyo ebiri mu Bayibuli, ekigambo ‘okubudaabuda’ Pawulo kye yakozesa kitegeeza “okuyimirira okumpi n’omuntu okumuzzaamu amaanyi ng’ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi.” N’olwekyo, bwe tubudaabuda mukkiriza munnaffe ayolekagana n’ebizibu, tuba tumuyamba okuyimirira asobole okweyongera okutambulira ku kkubo ery’obulamu. Buli lwe tubudaabuda mukkiriza munnaffe, tuba tumulaga nti tumwagala.—2 Kol. 7:6, 7, 13.
10. Kakwate ki akaliwo wakati w’obusaasizi n’okubudaabuda?
10 Waliwo akakwate wakati w’okusaasira abalala n’okubabudaabuda. Kakwate ki? Omuntu bw’aba ng’asaasira abalala, ekyo kimuleetera okubabudaabuda n’okugezaako okukendeeza ku bulumi bwe babaamu. N’olwekyo, tusooka kusaasira balala ne tulyoka tubabudaabuda. Omutume Pawulo yalaga nti waliwo akakwate wakati w’obusaasizi bwa Yakuwa n’okubudaabuda kw’awa. Yagamba nti Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (2 Kol. 1:3) Katonda ayitibwa Kitaffe ow’okusaasira oba Ensibuko y’okusaasira, kubanga okusaasira kusibuka mu ye. Era okusaasira okwo kumuleetera okutubudaabuda mu “kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Kol. 1:4) Ng’amazzi amalungi agakulukuta okuva mu nsulo bwe gaweweeza abo ababa balumwa ennyonta, Yakuwa azzaamu amaanyi era abudaabuda abo ababa boolekagana n’ebizibu. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa naffe ne tuba nga tusaasira abalala era ne tubabudaabuda? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kukulaakulanya engeri eziyinza okutuyamba okusaasira abalala n’okubabudaabuda. Ezimu ku ngeri ezo ze ziruwa?
11. Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:12 ne 1 Peetero 3:8, ngeri ki endala ze tulina okukulaakulanya okusobola okulaga abalala okwagala n’okubabudaabuda?
11 Kiki ekinaatuyamba okweyongera okwagalanga bakkiriza bannaffe ‘n’okubabudaabudanga’ buli lunaku? Tulina okukulaakulanya engeri gamba nga okulumirirwa abalala n’ekisa. (Soma Abakkolosaayi 3:12; 1 Peetero 3:8.) Engeri ezo ziyinza kutuyamba zitya? Bwe tuba nga tulumirirwa bakkiriza bannaffe era nga tubafaako, tujja kuba twagala nnyo okubabudaabuda nga boolekagana n’ebizibu. Yesu yagamba nti, “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera. Omuntu omulungi afulumya ebintu ebirungi mu tterekero lye eddungi.” (Mat. 12:34, 35) Mazima ddala okubudaabuda bakkiriza bannaffe ababa boolekagana n’ebizibu y’emu ku ngeri enkulu gye tulagamu nti tubaagala.
OKWAGALA KWE TULINA ERI BANNAFFE TUYINZA TUTYA OKUKUUMA NGA KUNYWEVU?
12. (a) Lwaki tusaanidde okubeera obulindaala? (b) Kibuuzo ki kye tugenda okwenneenya?
12 Ffenna twagala ‘okweyongera okwagalana.’ (1 Yok. 4:7) Kyokka kikulu okukijjukira nti Yesu yalaga nti mu kiseera kyaffe ‘okwagala kw’abasinga obungi kwandibadde kuwola.’ (Mat. 24:12) Yesu yali tategeeza nti abayigirizwa be abasinga obungi bandibadde balekera awo okulaga abalala okwagala. Wadde kiri kityo, tulina okusigala nga tuli bulindaala tuleme okutwalirizibwa endowooza y’abantu abatwetoolodde abatooleka kwagala. Nga tulina ekyo mu birowoozo, ka tulowooze ku kibuuzo kino ekikulu: Waliwo engeri gye tuyinza okumanya obanga okwagala kwe tulina eri baganda baffe kwa maanyi oba kutono?
13. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya obanga okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kunywevu?
13 Engeri emu gye tuyinza okumanyaamu obanga okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kwa maanyi, kwe kulowooza ku ekyo kye tukola nga wazzeewo embeera ezimu mu bulamu. (2 Kol. 8:8) Emu ku mbeera ezo omutume Peetero yagyogerako bwe yagamba nti: “Okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.” (1 Peet. 4:8) N’olwekyo, ekyo kye tukolawo nga baganda baffe bakoze ensobi oba nga bakoze ebintu ebitulumya kituyamba okumanya oba ng’okwagala kwe tulina gye bali kunywevu.
14. Okusinziira ku 1 Peetero 4:8, kwagala kwa ngeri ki kwe tusaanidde okuba nakwo? Waayo ekyokulabirako.
14 Kati ka twekenneenye ebigambo bya Peetero. Ekitundu ekisooka eky’olunyiriri 8 kiraga kwagala kwa ngeri ki kwe tusaanidde okuba nakwo. Kigamba nti: “mwagalanenga nnyo.” Ekigambo “nnyo” Peetero kye yakozesa, obutereevu kitegeeza “okunaanuuka.” Ekitundu ekyokubiri eky’olunyiriri olwo kiraga ekyo kye tukola bwe tuba nga tulina okwagala ng’okwo. Bwe tuba nga twagala nnyo abalala, kituyamba okubikka ku bibi byabwe. Okwagala okwo tuyinza okukugeraageranya ku lugoye lwe tukutte n’emikono gyaffe ebiri ne tulunaanuula ne luba nga lusobola okubikka, si ku kibi kimu kyokka oba bibiri, wabula ku “bibi bingi.” Ekigambo okubikka kikozesebwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza okusonyiwa. Ng’olugoye bwe lusobola okubikka amabala agali ku kintu, okwagala kusobola okubikka ku bunafu ne ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannaffe.
15. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe bwe kuba nga kunywevu, kutusobozesa kukola ki? (Abakkolosaayi 3:13)
15 Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kulina okuba okw’amaanyi ennyo nga kutusobozesa okubasonyiwa ensobi zaabwe, ka kibe nti ekyo oluusi kyetaagisa okufuba ennyo. (Soma Abakkolosaayi 3:13.) Bwe tusonyiwa abalala kiba kiraga nti okwagala kwe tulina kwa maanyi era kiraga nti twagala okusanyusa Yakuwa. Kiki ekirala ekiyinza okutuyamba okubuusa amaaso engeri z’abalala ezitunyiiza oba ensobi ze bakola?
Nga bwe tusigaza ebifaananyi ebirungi ebirala ne tubisangula, tusigala nga tujjukira ebintu ebirungi ku bakkiriza bannaffe ne twewala okulowooza ku bintu ebibi (Laba akatundu 16-17)
16-17. Kiki ekirala ekijja okutuyamba okubuusa amaaso ensobi entono bakkiriza bannaffe ze bakola? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)
16 Ebirowoozo bisse ku ngeri za bakkiriza banno ennungi, so si embi. Lowooza ku ky’okulabirako kino. Ka tugambe nti mugenze mu kifo ekimu ne bakkiriza banno okusanyukirako awamu. Oluvannyuma mwekubya ekifaananyi eky’awamu. Mwekubyayo ebifaananyi ebirala bibiri musobole okubaako kye mulondako singa kiri ekisoose tekivaamu bulungi. Kati olina ebifaananyi bisatu. Naye okiraba nti mu kimu ku bifaananyi ebyo, ow’oluganda omu tataddeeko kamwenyumwenyu. Kiki ky’okolera ekifaananyi ekyo? Okisangula olw’okuba olina ebifaananyi ebirala bibiri ebiraga nga buli omu ataddeko akamwenyumwenyu nga mw’otwalidde n’ow’oluganda oyo.
17 Ebifaananyi bye tusigaza tuyinza okubigeraageranya ku bintu bye tusigala nga tujjukira. Tutera okujjukira ebiseera ebirungi bwe twali nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe nga tuli basanyufu. Naye watya singa tujjukira omulundi mukkiriza munnaffe lwe yayogera oba lwe yakola ekintu ekyatunyiiza. Kiki kye tusaanidde okukola? Tusaanidde okusangula ekintu ekyo mu birowoozo byaffe nga bwe twandisangudde ekifaananyi. (Nge. 19:11; Bef. 4:32) Tusobola okwerabira ebibi ebitono bakkiriza bannaffe bye baakola olw’okuba tulina ebintu bingi ebirungi bye tubajjukirako. Ebyo bye twagala okusigala nga tujjukira.
LWAKI TWETAAGA NNYO OKWOLEKA OKWAGALA LEERO
18. Nsonga ki enkulu ezikwata ku kulaga abalala okwagala ze tulabye mu kitundu kino?
18 Lwaki twagala okukuuma okwagala kwe tulina eri bannaffe nga kunywevu? Nga bwe tulabye, bwe tulaga bakkiriza bannaffe okwagala, kiba kiraga nti twagala Yakuwa. Tulaga tutya bakkiriza bannaffe okwagala? Engeri emu gye tukulagamu kwe kubabudaabuda. Bwe tuba abasaasizi, ‘buli omu aba asobola okubudaabuda munne.’ Tuyinza tutya okukuuma okwagala kwe tulina eri abalala nga kunywevu? Nga tufuba okubasonyiwa ensobi zaabwe.
19. Lwaki kikulu nnyo okulaga baganda baffe okwagala mu kiseera kino?
19 Lwaki kikulu nnyo leero okulagaŋŋana okwagala? Weetegereze ensonga omutume Peetero gye yawa. Yagamba nti: “Enkomerero ya byonna esembedde. N’olwekyo, . . . mwagalanenga nnyo.” (1 Peet. 4:7, 8) Ng’enkomerero y’ensi ya Sitaani egenda esembera, kiki kye tusuubira? Ng’ayogera ku bagoberezi be, Yesu yagamba nti: “Mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.” (Mat. 24:9) Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde nga tukyayibwa, tulina okuba obumu. Bwe tukola bwe tutyo, Sitaani tasobola kutuleetera kuba na njawukana kubanga tuba n’okwagala ‘okunywereza ddala obumu.’—Bak. 3:14; Baf. 2:1, 2.
OLUYIMBA 130 Sonyiwanga
a Kikulu nnyo kati okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Lwaki tugamba bwe tutyo, era tuyinza tutya okubalaga okwagala?