LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Ssebutemba lup. 14-18
  • Nfunye Emikisa Mingi mu Kuweereza Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nfunye Emikisa Mingi mu Kuweereza Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • AMAKA MWE NNAKULIRA
  • NNYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA
  • ŊŊENDA MU GIREYAADI ERA BYE NSUUBIRA TEBITUUKIRIRA MANGU
  • TUWEEREREZA WAMU MU CAMEROON
  • TUSALAWO EKINTU EKITAALI KYANGU
  • NJIGA EKINTU EKIKULU ENNYO
  • Nnamalirira Obutaleka Mikono Gyange Kugwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • “Katonda Yali Ludda Wa?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Okuyigira ku Bantu Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi Kinviiriddemu Emikisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • “Nnina Bingi Bye Njigidde ku Balala!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Ssebutemba lup. 14-18
André Ramseyer.

EBYAFAAYO

Nfunye Emikisa Mingi mu Kuweereza Yakuwa

BYAYOGERWA ANDRÉ RAMSEYER

MU 1951, nnagenda mu kabuga Rouyn, akasangibwa mu ssaza ly’e Canada eriyitibwa Quebec. Bwe nnatuukayo nnagenda ku nnyumba gye baali bandagiridde okugenda era ne nkonkona ku luggi. Ow’oluganda Marcel Filteaua, eyali aweereza ng’omuminsani era nga yatendekebwa mu ssomero lya Gireyaadi, yajja n’aggulawo. Yali wa myaka 23 nga muwanvu; ate nze nnali wa 16 nga ndi mumpi ku ye. Nnamulaga ebbaluwa gye baali bampadde nga bansindise okuweereza nga payoniya. Yagisoma oluvannyuma n’antunuulira n’ambuuza nti, “Maama wo akimanyi nti ozze eno?”

AMAKA MWE NNAKULIRA

Bazadde bange baava Switzerland ne basengukira mu kabuga Timmins ak’omu ssaza Ontario, mu Canada era banzaala mu 1934. Awo nga mu 1939, maama yatandika okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi n’okubangawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Nze ne baganda bange omukaaga yatutwalanga mu nkuŋŋaana. Waayita ekiseera kitono n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

Taata teyasanyukira ekyo maama kye yasalawo, naye maama yali ayagala nnyo amazima era yali mumalirivu okuganywereramu. Yaganywereramu ne mu myaka gya 1940 omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa bwe gwali nga guwereddwa mu Canada. Era wadde nga taata yayogeranga bubi naye, yamuyisanga mu ngeri ey’ekisa era yamuwanga ekitiibwa. Ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo kyannyamba nze ne baganda bange okusalawo okuweereza Yakuwa. Ekirungi, oluvannyuma lw’ekiseera taata yakyusaamu n’atandika okutuyisa mu ngeri ey’ekisa.

NNYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Mu 1950, nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga New York. Oluvannyuma lw’okusisinkana ab’oluganda abaali bava mu nsi ez’enjawulo n’okuwulira ebyo abayizi b’essomero lya Gireyaadi bye baayogera, nnakwatibwako nnyo ne mpulira nga njagala kukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa. Nnamalirira okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Olwali okuddayo eka nnajjuzaamu foomu nga nsaba okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Ab’oluganda ku ofiisi y’ettabi ey’omu Canada bampandiikira ne baŋŋamba nti nsooke kubatizibwa. Bwe kityo nnabatizibwa nga Okitobba 1, 1950. Nga wayise omwezi gumu nnafuuka payoniya owa bulijjo era ne nsindikibwa okuweereza mu Kapuskasing. Akabuga ako kaali keesudde mayiro nnyingi okuva we nnali mbeera.

André ng’akutte “Watchtower.”

Nga mpeerereza mu Quebec

Mu 1951, ofiisi y’ettabi yasaba Abajulirwa ba Yakuwa abaali basobola okwogera Olufalansa okulowooza ku ky’okugenda mu ssaza ly’e Quebec gye boogera Olufalansa. Mu ssaza lino waaliyo obwetaavu bungi obw’ababuulizi. Olw’okuba nnakula njogera Olufalansa n’Olungereza, nnasalawo okugenda era nnasindikibwa kuweereza mu kabuga Rouyn. Nnali sirina gwe mmanyi mu kitundu ekyo. Ekintu kyokka kye nnalina ye ndagiriro gye bampa gye njogeddeko ku ntandikwa. Naye ebintu byagenda bulungi. Nze ne Marcel twafuuka ba mukwano nnyo era nnanyumirwa nnyo okuweereza mu Quebec okumala emyaka ena, era nga ndi eyo nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.

ŊŊENDA MU GIREYAADI ERA BYE NSUUBIRA TEBITUUKIRIRA MANGU

Bwe nnali mu Quebec, nnasanyuka nnyo bwe nnayitibwa okugenda mu ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 26 mu South Lansing, New York. Twatikkirwa nga Febwali 12, 1956, era nnasindikibwa kuweerereza mu nsi kati eyitibwa Ghanab, esangibwa mu Bugwanjubwa bwa Afirika. Naye nga ssinnagenda, nnalina okuddayo mu Canada okumala “wiiki ntono” okukola ku biwandiiko byange eby’okutambulirako.

Nneesanga mmaze emyezi musanvu mu kibuga Toronto nga nnindirira ebiwandiiko ebyo okukolwako. Mu kiseera ekyo, ab’omu maka g’ow’oluganda Cripps bansembeza okugira nga mbeera nabo, era eyo gye nnamanyira muwala waabwe Sheila. Nze ne Sheila twatandika okwagalana. Bwe nnali nga nnaatera okumusaba anfumbirwe, nnafuna ebiwandiiko ebyali binzikiriza okugenda mu Ghana. Nze ne Sheila ensonga eyo twagitegeezaako Yakuwa okuyitira mu kusaba ne tusalawo nti ŋŋende mpeereze mu Ghana. Naye twali tugenda kusigala nga twewandiikira amabaluwa okulaba obanga twali tusobola okufumbiriganwa. Ekyo kye twasalawo tekyali kyangu naye oluvannyuma twakiraba nti kye kyali ekituufu.

Mmaampu eraga ebimu ku bifo André bye yabeeramu ne bye yaweererezaamu: Manitoba, Ontario, and Quebec, Canada; Cameroon, Côte d’Ivoire, Ghana, Nigeria, ne Togo, Afirika.

Oluvannyuma lw’okumala omwezi mulamba nga ntambulira mu ggaali y’omukka, emmeeri enneetissi y’emigugu, n’ennyonnyi, nnatuuka mu kibuga Accra, ekya Ghana. Mu Ghana nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti. Obuvunaanyizibwa obwo bwali buzingiramu okutambula mu Ghana yonna ne mu nsi egiriraanye eyitibwa Ivory Coast (kati eyitibwa Côte d’Ivoire) ne mu nsi endala eyitibwa Togoland (kati eyitibwa Togo). Ebiseera ebisinga obungi nnatambulanga nzekka nga nkozesa emmotoka eyampeebwa ofiisi y’ettabi. Nnanyumirwanga nnyo okukyalira ab’oluganda!

Ku wiikendi nnabeeranga n’obuvunaanyizibwa ku nkuŋŋaana ennene. Tetwalina bizimbe bituuza nkuŋŋaana nnene. Bwe kityo ab’oluganda baazimbanga ebidaala nga bakozesa amabanda ate nga waggulu babikkayo amatabi g’enkindu omusana guleme okutwokya. Olw’okuba tewaabeerangawo firiiji za kuterekamu mmere eyandiriiriddwa abantu abaalinga ku lukuŋŋaana, ensolo ennamu zaaleetebwanga mu kifo awaabanga olukuŋŋaana era ne zittibwa okusobola okuliibwa abantu abaabanga ku lukuŋŋaana.

Oluusi ku nkuŋŋaana ezo waabangawo ebintu ebisesa. Lumu ow’oluganda Herb Jennings,c eyali aweereza ng’omuminsani, bwe yali awa emboozi ente yatoloka we yali esibiddwa n’ejja n’eyimirira mu maaso wakati we n’abaali bamuwuliriza. Ow’oluganda Herb yayimirizaamu okwogera era ente yali erabika ng’esobeddwa. Naye ab’oluganda bana abaali ab’amaanyi bajja ne bagisitula ne bagiggyawo ng’eno ab’oluganda bwe basekera waggulu.

Mu wiiki enkuŋŋaana ennene we zaabeererangawo, nnalaganga abantu b’omu byalo ebyali byetoolooddewo firimu eyalina omutwe The New World Society in Action. Ekyo okusobola okukikola, nnawanikanga olutimbe olweru lwe nnasibanga ku nkondo bbiri eruuyi n’eruuyi oba ku miti ebiri ne ndagira okwo firimu. Ekyo abantu b’omu byalo ebyo baakyagala nnyo era bangi ku bo eyo ye firimu gye baasooka okulaba. Baaleekananga n’essanyu bwe baalabanga abantu nga babatizibwa. Firimu eyo yasobozesa abo abaagiraba okukitegeera nti Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu era nti bali mu si yonna.

André ne Sheila ku lunaku lw’embaga yaabwe.

Twafumbiriganwa mu Ghana mu 1959

Oluvannyuma lw’okumala emyaka ng’ebiri nga mpeereza mu Afirika, mu 1958 nnasanyuka nnyo okugenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga New York olwaliko ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo. Nnafuna essanyu lingi nnyo okulaba Sheila, eyajja ku lukuŋŋaana olwo ng’avudde mu Quebec gye yali aweerereza nga payoniya ow’enjawulo. Twali tumaze ekiseera nga twewandiikira amabaluwa, naye kati okuva bwe kiri nti twali tuzzeemu okusisinkana, nnamusaba anfumbirwe era n’akkiriza. Nnawandiikira ow’oluganda Knorrd ne mmubuuza obanga Sheila yali asobola okugenda mu Sssomero lya Gireyaadi anneegatteko mu Afirika. Yakkiriza, era oluvannyuma Sheila yajja mu Ghana. Twafumbiriganwa mu Accra, mu Okitobba 3, 1959. Twakiraba nti Yakuwa yatuwa emikisa olw’okukulembeza by’ayagala mu bulamu bwaffe.

TUWEEREREZA WAMU MU CAMEROON

André ng’atudde mu ofiisi ye e Cameroon.

Nga ndi ku Beseri y’omu Cameroon

Mu 1961, twasindikibwa okuweereza mu nsi eyitibwa Cameroon. Olw’okuba nnali nsabiddwa okuyambako mu kutandikawo ofiisi y’ettabi, nnalina eby’okukola bingi. Nnasabibwa okulabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Cameroon era nnalina bingi eby’okuyiga. Mu 1965 twakitegeera nti Sheila yali lubuto. Ekituufu kiri nti twalwawo okukkiriza nti twali tugenda kufuuka bazadde. Kyokka bwe twali tutandise okukkiriza obuvunaanyizibwa obwo obupya era nga tukola enteekateeka okuddayo e Canada, waliwo ekintu ekibi ennyo ekyabaawo.

Sheila yavaamu olubuto. Omusawo yatutegeeza nti omwana waffe oyo eyali tannazaalibwa yali mulenzi. Ekyo kyaliwo emyaka egisukka mu 50 emabega, naye tetukyerabiranga. Wadde nga kyatuluma nnyo, twasalawo okusigala mu buweereza bwaffe bwe twali twagala ennyo.

Nga ndi ne Sheila mu Cameroon mu 1965

Ab’oluganda mu Cameroon baateranga okuyigganyizibwa ennyo olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Embeera okusingira ddala yabanga nzibu nnyo mu biseera by’okulonda omukulembeze w’eggwanga. Nga Maayi 13, 1970, ekintu kye twali tutasuubira kubaawo kyabaawo. Abajulirwa ba Yakuwa baawerebwa. Ofiisi yaffe ey’ettabi eyali erabika obulungi gye twali twakabeeramu okumala emyezi etaano gyokka, gavumenti yagitwala. Mu wiiki emu, abaminsani bonna nga mw’otwalidde Sheila nange, baagobebwa mu Cameroon. Olw’okuba twali twagala nnyo ab’oluganda ne bannyinaffe era nga tweraliikirira ekiyinza okubatuukako, tekyatubeerera kyangu kubaleka.

Emyezi omukaaga egyaddako twagimala ku ofiisi y’ettabi mu Bufalansa. Nga tuli eyo, nnafuba nnyo okuyamba ab’oluganda mu Cameroon. Mu Ddesemba w’omwaka ogwo twasindikibwa okuweerereza ku ofiisi y’ettabi mu Nigeria, eyatandika okulabirira omulimu gwaffe mu Cameroon. Bakkiriza bannaffe mu Nigeria baatwaniriza n’essanyu, era twafuna essanyu lingi okuweerereza awamu nabo okumala emyaka egiwera.

TUSALAWO EKINTU EKITAALI KYANGU

Mu 1973 twalina okusalawo ekintu ekitaali kyangu. Sheila yalina obulwadde obw’amaanyi obwali bumutawaanya. Lumu bwe twali ku lukuŋŋaana olunene mu New York, Sheila yaŋŋamba ng’ali mu bulumi nti: “Sikyasobola kweyongerayo mu buweereza! Ndi mukoowu era emirundi egisinga obungi mba mulwadde.” Yali aweererezza wamu nange mu Bugwanjuba bwa Afirika okumala emyaka egisukka mu 14. Nnamusiima nnyo olw’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, naye kati twalina okukola enkyukakyuka. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbeera yaffe era n’okusaba ennyo Yakuwa, twasalawo okuddayo mu Canada gye yali asobola okufuna obujjanjabi obusingawo. Okulekera awo okuweereza ng’abaminsani n’okulekayo obuweereza obw’ekiseera kyonna, kye kimu ku bintu ebikyasinzeeyo okuba ebizibu bye twali tusazeewo.

Oluvannyuma lw’okutuuka mu Canada, mukwano gwange eyali akola omulimu gw’okutunda emmotoka mu bukiikakkono bw’ekibuga Toronto yampa omulimu. Twafuna ennyumba gye twapangisa era ne tugula ebintu ebyakozesebwako, bwe tutyo ne tutandika obulamu obupya nga tetufunye mabanja gateetaagisa. Twali tetwagala kuba na bintu bingi nga tusuubira nti oboolyawo lumu tuliddamu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Kyatwewuunyisa nnyo okuba nti ekyo kye twali tusuubira kyatuukirira mangu.

Nnatandika okukola nga nnakyewa buli Lwamukaaga nga nnyambako mu kuzimba ekizimbe ekituuza enkuŋŋaana ennene ekiri mu Norval, Ontario. Oluvannyuma lw’ekiseera ab’oluganda bambuuza obanga nnali nsobola okukola ng’Omulabirizi w’ekizimbe ekyo ekibaamu enkuŋŋaana ennene. Olw’okuba kati Sheila yali agenda atereera, twakiraba nti obuvunaanyizibwa obwo twali tubusobola. Bwe kityo twasenguka ne tugenda okubeera ku kizimbe ekyo mu Jjuuni 1974. Twasanyuka nnyo okuddamu okubeera mu buweereza obw’ekiseera kyonna!

Ekirungi Sheila yeeyongera okutereera. Nga wayise emyaka ebiri, twakkiriza omulimu gw’okukyalira ebibiina. Ebibiina bye twali tukyalira byali mu Manitoba, essaza ly’omu Canada erimanyiddwa okubaamu obunnyogovu obw’amaanyi. Kyokka twasanyukanga nnyo okubeerako ne bakkiriza bannaffe mu kitundu ekyo. Twakiraba nti ekikulu si wa we tuweereza, wabula kwe kweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa ka tube nga tuweerereza mu kitundu ki.

NJIGA EKINTU EKIKULU ENNYO

Oluvannyuma lw’okumala emyaka egiwerako nga tukola omulimu gw’okukyalira ebibiina, mu 1978 twayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi mu Canada. Waayita ekiseera kitono ne njiga ekintu ekyannuma ennyo, kyokka nga kikulu nnyo. Ku lukuŋŋaana olw’enjawulo mu Montreal nnaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuwa emboozi mu Lufalansa eyali ey’essaawa emu n’ekitundu. Eky’ennaku, abawuliriza tekyabanguyira kussaayo mwoyo ku mboozi gye nnali mpa, era ow’oluganda eyali akola mu Kitongole ky’Obuweereza oluvannyuma yampabula. Ekituufu kiri nti nnandibadde nkitegeera mu kiseera ekyo nti siri mwogezi mulungi nnyo. Naye okuwabula okwo ssaakutwala bulungi. Engeri zange n’ez’ow’oluganda oyo zaali za njawulo nnyo, era nnawulira nti yali ankolokose nnyo ate nga tasoose kunsiima. Nnakola ensobi obutawuliriza kuwabula okwo nga nsinziira ku ngeri gye kwali kumpeereddwamu ne ku ngeri gye nnali ntwalamu oyo eyali akumpadde.

André ng’awa emboozi.

Oluvannyuma lw’okuwa emboozi mu Lufalansa nnayiga ekintu ekikulu ennyo

Nga wayise ennaku ntono, omu ku b’oluganda abaali ku Kakiiko k’Ettabi yayogerako nange ku nsonga eyo. Nnakikkiriza nti okuwabulwa okwampeebwa nnali sikututte bulungi era nneetonda. Oluvannyuma nneetondera ow’oluganda eyali ampabudde era yansonyiwa. Ekyo ekyaliwo kyannyamba okukitegeera nti kikulu nnyo okuba omwetoowaze era sikyerabiranga. (Nge. 16:18) Emirundi mingi nsabye Yakuwa annyambe okuba omwetoowaze, era ndi mumalirivu obutatwala bubi kuwabula okumpeebwa.

Nnaakamala emyaka egisukka mu 40 nga mpeerereza ku Beseri y’omu Canada, era okuva mu 1985, mbadde n’enkizo ey’okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Mu Febwali 2021, mukyala wange Sheila gwe nnali njagala ennyo yanfaako. Ng’oggyeeko okugumira obulumi bw’okufiirwa Sheila, nnina obulwadde obuntawaanya. Naye obuweereza bwange bunnyamba okuba n’eby’okukola bingi n’okuba omusanyufu ne kiba nti ‘n’okukiraba sikiraba nti ennaku z’obulamu ziyita mangu.’ (Mub. 5:20) Wadde nga nfunye ebizibu ebitali bimu mu bulamu, essanyu lye nfunye libisingira wala. Okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwange n’okumala emyaka 70 mu buweereza obw’ekiseera kyonna kindeetedde essanyu lingi nnyo. Kirungi ab’oluganda ne bannyinaffe abakyali abavubuka nabo okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwabwe. Ndi mukakafu nti bwe bakola bwe batyo, nabo bajja kufuna emikisa mingi mu bulamu bwabwe olw’okuweereza Yakuwa.

a Laba ebikwata ku w’oluganda Marcel Filteau, mu kitundu ekirina omutwe “Yakuwa kye Kiddukiro Kyange era Ge Maanyi Gange,” mu Watchtower eya Febwali 1, 2000.

b Edda ensi eno eyali amatwale ga Bungereza yali eyitibwa Gold Coast, naye okuva mu 1957 yatandika okuyitibwa Ghana.

c Laba ebikwata ku w’oluganda Herbert Jennings, mu kitundu “Tomanyi Bulamu Bwo Bwe Bunaaba Enkya,” mu Watchtower ya Ddesemba 1, 2000.

d Ow’oluganda Nathan H. Knorr ye yali alabirira omulimu gwaffe mu kiseera ekyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share