LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Maaki lup. 14-19
  • Buulira n’Obunyiikivu nga Yesu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Buulira n’Obunyiikivu nga Yesu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YASSA EBIROWOOZO BYE KU EKYO YAKUWA KY’AYAGALA
  • YAFUMIITIRIZA KU BUNNABBI OBULI MU BAYIBULI
  • YEESIGA YAKUWA OKUMUYAMBA
  • YALINA ESSUUBI NTI WALIWO ABAJJA OKUSIIMA OBUBAKA BWE
  • Engeri gy’Oyinza Okweyongera Okufuna Essanyu mu Buweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okwagala ka Kukuleetere Okweyongera Okubuulira!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olwa 2025-2026 Olubaako Akiikiridde Ettabi
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Maaki lup. 14-19

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

OLUYIMBA 57 Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri

Buulira n’Obunyiikivu nga Yesu

“Mukama waffe . . . n’abatuma babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga na buli kifo gye yali agenda.”—LUK. 10:1.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri ekyokulabirako Yesu kye yassaawo gye kisobola okutuyamba okubuulira n’obunyiikivu.

1. Ekimu ku bintu ebyawulawo abaweereza ba Yakuwa ku bantu abalala abeeyita Abakristaayo kye kiruwa?

EKIMU ku bintu ebyawulawo abaweereza ba Yakuwa ku bantu abalala abeeyita Abakristaayo, kwe kubuulira n’obunyiikivu. (Tit. 2:14) Naye ebiseera ebimu oyinza okuwulira nga tonyumirwa kubuulira. Oboolyawo oluusi owulira ng’ow’oluganda omu aweereza ng’omukadde eyagamba nti: “Ebiseera ebimu mba mpulira nga saagala kubuulira.”

2. Lwaki oluusi tekiba kyangu kusigala nga tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?

2 Tuyinza okuba nga tetunyumirwa mulimu gwa kubuulira nga bwe tunyumirwa emirimu emirala gye tukola nga tuweereza Yakuwa. Lwaki? Bwe twenyigira mu kuzimba oba okuddaabiriza ebizimbe by’Obwakabaka, mu kuyamba ababa bakoseddwa obutyabaga, oba okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, tuyinza okulabirawo ebirungi ebivaamu era tuwulira essanyu lingi. Bwe tuba tukola ebintu ebyo nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe, tuwulira emirembe era tulagaŋŋana okwagala. Ate era tukimanyi nti bakkiriza bannaffe basiima bye tubakolera. Ku luuyi olulala, tuyinza okuba nga tumaze emyaka egiwera nga tubuulira mu kitundu kye kimu, naye ng’abantu batono nnyo abawuliriza. Oba abantu bangi be tubuulira bayinza okuba nga tebaagalira ddala bubaka bwaffe. Ate era tukimanyi nti ng’enkomerero egenda esembera, abantu bajja kweyongera okuziyiza omulimu gwaffe. (Mat. 10:22) Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banyiikivu, oboolyawo n’okweyongerera ddala okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?

3. Ekyokulabirako ekiri mu Lukka 13:​6-9, kituyigiriza ki ku Yesu?

3 Okwekenneenya ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kisobola okutuyamba okuba abanyiikivu mu kubuulira. Yesu bwe yali ku nsi, obunyiikivu bwe yalina mu mulimu gw’okubuulira tebwakendeerako. Mu butuufu, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yeeyongera bweyongezi okuba omunyiikivu. (Soma Lukka 13:​6-9.) Okufaananako omusajja eyali alima mu nnimiro y’emizabbibu eyamala emyaka esatu ng’alabirira omutiini ogwali gutabala, Yesu yamala emyaka ng’esatu ng’abuulira Abayudaaya, naye abasinga obungi ku bo tebakkiriza bubaka bwe. Wadde kyali kityo, teyalekera awo kubabuulira. Yali ng’omulimi w’emizabbibu eyasigala ng’alina essuubi nti oboolyawo ekiseera kyandituuse omutiini ne gubala. Yesu yeeyongera okukola n’obunyiikivu okuyamba Abayudaaya okukkiriza amawulire amalungi.

4. Bintu ki ebina bye tusobola okuyigira ku Yesu?

4 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yesu gye yabuulira n’obunyiikivu naddala mu myezi omukaaga egyasembayo mu buweereza bwe ku nsi. Tusobola okusigala nga tuli banyiikivu bwe togondera ebyo Yesu bye yatulagira era ne tukola ebyo bye yakola. Kati ka tulabe ekyokulabirako kye yassaawo mu bintu bino bina: (1) Yassa ebirowoozo bye ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala akole, (2) yafumiitiriza ku bunnabbi obuli mu Bayibuli, (3) yeesiga Yakuwa okumuyamba, ne (4) yasigala alina essuubi nti wandibaddewo abantu abasiima amawulire amalungi.

YASSA EBIROWOOZO BYE KU EKYO YAKUWA KY’AYAGALA

5. Yesu yakiraga atya nti yali yeemalidde ku kukola ekyo Katonda kye yali ayagala akole?

5 Yesu yabuulira n’obunyiikivu “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” kubanga yali akimanyi nti ekyo Katonda kye yali ayagala akole. (Luk. 4:43) Okubuulira yali akutwala nga gwe mulimu ogusinga obukulu mu bulamu bwe. Ne bwe yali abuzaayo ekiseera kitono amalirize obuweereza bwe ku nsi, yatambulanga “mu bibuga byonna ne mu bubuga bwonna ng’ayigiriza” abantu. (Luk. 13:22) Ate era yatendeka abayigirizwa abalala okukolera awamu naye mu mulimu gw’okubuulira.—Luk. 10:1.

6. Kakwate ki akaliwo wakati w’omulimu gw’okubuulira n’emirimu emirala gye tukola nga tuweereza Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Ne leero okubuulira gwe mulimu ogusinga obukulu Yakuwa ne Yesu gwe baagala tukole. (Mat. 24:14; 28:​19, 20) Waliwo akakwate wakati w’omulimu gw’okubuulira n’emirimu emirala gye tukola nga tuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tuzimba ebizimbe by’Obwakabaka abantu be tubuulira basobole okujja mu bizimbe ebyo okusinza Yakuwa. Ate emirimu egikolebwa ku Beseri giwagira omulimu gw’okubuulira. Akatyabaga bwe kagwawo, tudduukirira bakkiriza bannaffe ne bafuna bye beetaaga, ne kibasobozesa okuddamu okukuŋŋaana n’okukola omulimu gw’okubuulira. Bwe tujjukira nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo, era nti gwe mulimu ogusinga obukulu Yakuwa gw’ayagala tukole leero, kituleetera okugwenyigiramu obutayosa. Ow’oluganda János, aweereza ng’omukadde mu Hungary, agamba nti: “Bulijjo nfuba okukikuumira mu birowoozo nti mu mirimu gyonna gye tukola nga tuweereza Yakuwa, omulimu gw’okubuulira gwe gusinga obukulu.”

Ebifaananyi: 1. Ow’oluganda ng’ayambako mu kuzimba ekimu ku bizimbe by’ekibiina. 2. Ow’oluganda omulala ayambako ku mirimu egikolebwa ku Beseri ng’asinziira waka. 3. Oluvannyuma ab’oluganda abo bombi bakolera wamu omulimu gw’okubuulira.

Okubuulira amawulire amalungi gwe mulimu ogusinga obukulu Yakuwa ne Yesu gwe baagala tukole leero (Laba akatundu 6)


7. Lwaki Yakuwa ayagala tweyongere okubuulira? (1 Timoseewo 2:​3, 4)

7 Tusobola okweyongera okuba abanyiikivu mu kubuulira singa tutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira. Yakuwa ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okuwulira amawulire amalungi basobole okumanya amazima agamukwatako. (Soma 1 Timoseewo 2:​3, 4.) Eyo ye nsonga lwaki atutendeka tusobole okweyongera okulongoosa mu ngeri gye tukolamu omulimu ogwo oguwonyaawo obulamu. Ng’ekyokulabirako, akatabo Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa, kalimu amagezi agatuyamba okutandika okunyumya n’abantu nga tulina ekigendererwa eky’okubafuula abayigirizwa. Abantu ne bwe batakkiriza kuyiga Bayibuli mu kiseera kino, bayinza okutandika okuyiga ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnaggwaako. Ebyo bye tubabuulira mu kiseera kino bayinza okubijjukira mu biseera eby’omu maaso ne kibayamba okwagala okuweereza Yakuwa. Naye ekyo okusobola okubaawo, tulina okweyongera okubuulira.

YAFUMIITIRIZA KU BUNNABBI OBULI MU BAYIBULI

8. Okumanya obunnabbi obuli mu Bayibuli, kyayamba kitya Yesu okukozesa obulungi ebiseera bye?

8 Yesu yali amanyi engeri obunnabbi obuli mu Bayibuli gye bwandibadde butuukirizibwamu. Ng’ekyokulabirako, yali akimanyi nti obuweereza bwe ku nsi bwandimaze emyaka esatu n’ekitundu gyokka. (Dan. 9:​26, 27) Era yali amanyi bulungi n’obunnabbi obwali bulaga ddi lwe yandifudde n’engeri gye yandifuddemu. (Luk. 18:​31-34) Olw’okuba yali amanyi bulungi obunnabbi obwo, kyamuyamba okukozesa obulungi ebiseera bye. N’ekyavaamu, yabuulira n’obunyiikivu okusobola okumaliriza omulimu ogwamuweebwa.

9. Lwaki okumanya obunnabbi obuli mu Bayibuli kituleetera okubuulira n’obunyiikivu?

9 Bwe tufumiitiriza ku bunnabbi obuli mu Bayibuli obutuukirizibwa mu kiseera kyaffe, kituleetera okubuulira n’obunyiikivu. Tukimanyi nti wasigaddeyo ekiseera kitono nnyo ensi ya Sitaani ezikirizibwe, era nti ebiriwo mu nsi n’engeri abantu gye beeyisaamu biraga nti tuli wala nnyo mu nnaku ez’enkomerero. Era tukimanyi nti okusindikagana okuliwo wakati w’obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika n’obwa Russia, butuukiriza obunnabbi obukwata ku kabaka ow’ebukiikaddyo n’ow’ebukiikakkono “mu kiseera eky’enkomerero.” (Dan. 11:40) Ate era tukimanyi nti ebigere by’ekibumbe ebyogerwako mu Danyeri 2:​43-45, bikiikirira obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. Ng’obunnabbi obwo bwe bulaga, tuli bakakafu nti mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bugenda kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna. Obunnabbi obwo bwonna bulaga nti wasigaddeyo ekiseera kitono nnyo enkomerero etuuke. N’olwekyo tusaanidde okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga tubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu.

10. Mu ngeri ki obunnabbi obulala obuli mu Bayibuli gye butuyamba okweyongera okuba abanyiikivu mu kubuulira?

10 Obunnabbi obuli mu Bayibuli era bulimu obubaka bwe twagala ennyo okubuulirako abalala. Mwannyinaffe Carrie abeera mu Dominican Republic agamba nti: “Bwe ndowooza ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubiza mu biseera eby’omu maaso, mpulira nga njagala nnyo okubibuulirako abalala.” Agattako nti: “Bwe ndaba ebizibu bye bayitamu, nkiraba nti nabo beetaaga okumanya ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubiza.” Obunnabbi obuli mu Bayibuli era bulaga nti Yakuwa atuyamba nga tukola omulimu guno. Ekyo nakyo kituleetera okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Leila, abeera mu Hungary, agamba nti: “Isaaya 11:​6-9 walaga nti Yakuwa asobola okuyamba omuntu yenna okukyuka. Okumanya ekyo kinnyamba okubuulira n’abantu abalabika ng’abatakkirize mawulire malungi.” Ate ow’oluganda Christopher abeera mu Zambia, agamba nti: “Ng’obunnabbi obuli mu Makko 13:10 bwe bulaga, amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna, era ngitwala nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo.” Bunnabbi ki obuli mu Bayibuli obukuleetera okweyongera okubuulira n’obunyiikivu?

YEESIGA YAKUWA OKUMUYAMBA

11. Lwaki Yesu yalina okwesiga Yakuwa okumuyamba asobole okweyongera okubuulira n’obunyiikivu? (Lukka 12:​49, 53)

11 Yesu yali yeesiga Yakuwa era ekyo kyamusobozesa okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Wadde nga yalinga mwegendereza ng’abuulira, yali akimanyi nti amawulire amalungi gandinyiizizza abantu abamu, era nti bangi bandigezezzaako okugaziyiza. (Soma Lukka 12:​49, 53.) Olw’okuba abakulembeze b’eddiini baali tebaagala mawulire malungi ge yali abuulira, enfunda n’enfunda baagezaako okumutta. (Yok. 8:59; 10:​31, 39) Naye Yesu yeeyongera okubuulira, kuba yali akimanyi nti Yakuwa yali wamu naye. Yagamba nti: “Siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. . . . tanjabuliranga, kubanga bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.”—Yok. 8:​16, 29.

12. Yesu yateekateeka atya abayigirizwa be okubuulira ne bwe bandibadde bayigganyizibwa?

12 Yesu yagamba abayigirizwa be nti Yakuwa yandibayambyenga nga bakola omulimu gw’okubuulira. Enfunda n’enfunda yabakakasa nti ekyo Yakuwa yandikikoze ne bwe bandibadde bayigganyizibwa. (Mat. 10:​18-20; Luk. 12:​11, 12) Olw’okuba yali akimanyi nti abantu bangi bandiziyizza omulimu gw’okubuulira, yakubiriza abayigirizwa be okuba abeegendereza. (Mat. 10:16; Luk. 10:3) Yabagamba nti baali tebasaanidde kukaka bantu kuwuliriza bubaka bwabwe bwe baba nga tebabwagala. (Luk. 10:​10, 11) Ate era yabagamba nti bwe bandiyigganyiziddwa mu kitundu ekimu bandiddukidde mu kitundu ekirala. (Mat. 10:23) Wadde nga Yesu yali munyiikivu nnyo era nga yeesiga Yakuwa, yeewalanga embeera ezandimuviiriddemu emitawaana.—Yok. 11:​53, 54.

13. Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba?

13 Leero abantu bangi baziyiza omulimu gwaffe. N’olwekyo, twetaaga Yakuwa okutuyamba okusobola okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. (Kub. 12:17) Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba? Lowooza ku ssaala Yesu gye yasaba esangibwa mu Yokaana essuula 17. Mu ssaala eyo Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abatume be, era Yakuwa yagiddamu. Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga engeri Yakuwa gye yayambamu abatume okweyongera okubuulira n’obunyiikivu wadde nga baali bayigganyizibwa. Mu ssaala eyo era Yesu yasabira n’abo abandiwulirizza obubaka abatume bwe bandibadde babuulira. Mu bantu abo naawe mw’oli. Ne leero Yakuwa akyaddamu essaala eyo. Ajja kukuyamba nga bwe yayamba abatume.—Yok. 17:​11, 15, 20.

14. Lwaki tuli bakakafu nti tujja kusobola okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Ng’enkomerero egenda esembera, kiyinza okweyongera okutubeerera ekizibu okubuulira amawulire amalungi. Naye Yesu yatukakasa nti tujja kuba n’obuyambi bwe twetaaga okusobola okubuulira n’obunyiikivu. (Luk. 21:​12-15) Okufaananako Yesu n’abayigirizwa be, tetukaka bantu kutuwuliriza era tetuwakana nabo. Ne mu bitundu omulimu gwaffe gye gukugirwa, bakkiriza bannaffe beeyongedde okubuulira amawulire amalungi, kubanga beesiga Yakuwa so si busobozi bwabwe. Nga Yakuwa bwe yawa abaweereza be amaanyi mu kyasa ekyasooka, ne leero atuwa amaanyi ‘tusobole okubuulira mu bujjuvu’ nga bw’ayagala. (2 Tim. 4:17) Ba mukakafu nti bwe weesiga Yakuwa, naawe ojja kweyongera okubuulira n’obunyiikivu.

Omulimu gwaffe ogw’okubuulira ne bwe gukugirwa, ababuulizi abanyiikivu beeyongera okubuulira mu ngeri ey’amagezi (Laba akatundu 14)a


YALINA ESSUUBI NTI WALIWO ABAJJA OKUSIIMA OBUBAKA BWE

15. Kiki ekiraga nti Yesu yali mukakafu nti abantu abamu bandisiimye amawulire amalungi?

15 Yesu yali mukakafu nti wandibaddewo abantu abandisiimye amawulire amalungi. Ekyo kyamuyamba okusigala nga musanyufu n’okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ng’ekyokulabirako, nga wayise omwaka nga gumu bukya atandika okubuulira, yakiraba nti abantu bangi baali beetegefu okuwuliriza amawulire amalungi, era yabageraageranya ku nnimiro etuuse okukungulwa. (Yok. 4:35) Ate nga wayise omwaka nga gumu, yagamba abayigirizwa be nti: “Eby’okukungula bingi.” (Mat. 9:​37, 38) Ate era oluvannyuma yaddamu n’abagamba nti: “Eby’okukungula bingi, . . . Musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.” (Luk. 10:2) Yesu yasigala alina essuubi nti abantu abamu bandiwulirizza amawulire amalungi, era bwe baagawuliriza yasanyuka nnyo.—Luk. 10:21.

16. Engero Yesu ze yagera ziraga zitya nti omulimu gw’okubuulira gwandivuddemu ebirungi? (Lukka 13:​18-21) (Laba n’ekifaananyi.)

16 Yesu yayamba abayigirizwa be okusigala nga banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, ng’ababuulira ebirungi ebyandivuddemu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngero bbiri ze yagera. (Soma Lukka 13:​18-21.) Yagera olugero olukwata ku kasigo ka kalidaali okuyigiriza abayigirizwa be nti obubaka bw’Obwakabaka bwandibadde busaasaana mu ngeri eyeewuunyisa era nti tewandibaddewo kisobola kubulemesa. Ate era yagera olugero olukwata ku kizimbulukusa okulaga nti obubaka bw’Obwakabaka bwandibadde busaasaana mu bitundu bingi, era nti bwandibadde buleetera abantu okukola enkyukakyuka abalala ze bandibadde batalaba mangu. Bwe kityo, Yesu yakakasa abayigirizwa be nti omulimu gw’okubuulira gwandivuddemu ebirungi.

Bannyinaffe babiri babuulira nga bakozesa akagaali. Abantu bangi babayitako buyisi.

Okufaananako Yesu, tulina essuubi nti abantu abamu bajja kuwuliriza obubaka bwaffe (Laba akatundu 16)


17. Lwaki tusaanidde okweyongera okubuulira n’obunyiikivu?

17 Bwe tulowooza ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye guyambye abantu bangi okwetooloola ensi, kituleetera okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ng’ekyokulabirako, buli mwaka abantu bukadde na bukadde abawuliriza obubaka bwaffe, babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo era batandika okuyiga Bayibuli. Ate era abantu mitwalo na mitwalo babatizibwa ne batwegattako mu mulimu gw’okubuulira. Tetumanyi bantu bameka abajja okuwuliriza obubaka bwaffe, naye tukimanyi nti Yakuwa akuŋŋaanya ab’ekibiina ekinene abagenda okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene ekijja. (Kub. 7:​9, 14) Yakuwa nnanyini makungula akiraba nti wakyaliyo abantu bangi abaagala okuwuliriza amawulire amalungi. N’olwekyo tusaanidde okweyongera okubuulira.

18. Kiki kye twagala abalala balabe?

18 Okuva edda n’edda abagoberezi ba Yesu babaddenga babuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Mu kyasa ekyasooka, abantu bwe baakiraba nti abatume ba Yesu baali boogera n’obuvumu, ‘baakitegeera nti baabeeranga ne Yesu.’ (Bik. 4:13) Naffe bwe tubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu, abalala bayinza okukiraba nti tukoppa Yesu.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Yesu yali atwala atya omulimu gw’okubuulira, era tuyinza tutya okumukoppa?

  • Yesu yakiraga atya nti yali yeesiga Yakuwa, era naffe tuyinza tutya okukola kye kimu?

  • Yesu yali atwala atya abantu be yabuuliranga, era tumuyigirako ki?

OLUYIMBA 58 Okunoonya Abo Abaagala Emirembe

a EKIFAANANYI: Ow’oluganda abuulira omusajja mu ngeri ey’amagezi ku ssundiro ly’amafuta.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share