LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Ssebutemba lup. 14-19
  • Wa Abalala Ekitiibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Wa Abalala Ekitiibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KITEGEEZA KI OKUWA ABALALA EKITIIBWA?
  • AB’OMU MAKA GO BAWE EKITIIBWA
  • BAKKIRIZA BANNO BASSEEMU EKITIIBWA
  • ABATALI BAWEEREZA BA YAKUWA BASSEEMU EKITIIBWA
  • Kiki Ekituuse ku Kuwa Ekitiibwa?
    Zuukuka!—2024
  • Owa Abalala Ekitiibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Lwaki Tusaanidde Okugondera Abo Abatukulembera?
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Oyinza Otya Okulaga nti Ossaamu Munno Ekitiibwa?
    Zuukuka!—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ssebutemba lup. 14-19

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38

OLUYIMBA 120 Koppa Obuwombeefu bwa Kristo

Wa Abalala Ekitiibwa

“Okussibwamu ekitiibwa kisinga ffeeza ne zzaabu.”—NGE. 22:1.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ensonga lwaki tulina okuwa abalala ekitiibwa era n’engeri gye tusobola okukikolamu ne bwe kiba nga si kyangu.

1. Abantu bawulira batya bwe baweebwa ekitiibwa? (Engero 22:1)

KIKUSANYUSA abalala bwe bakuwa ekitiibwa? Awatali kubuusabuusa kikusanyusa. Abantu ffenna twetaaga okuweebwa ekitiibwa era tuwulira bulungi bwe bakituwa. Mu butuufu tekyewuunyisa Bayibuli bw’egamba nti “okussibwamu ekitiibwa kisinga ffeeza ne zzaabu”!—Soma Engero 22:1.

2-3. Lwaki oluusi kituzibuwalira okuwa abalala ekitiibwa, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kuwa balala kitiibwa. Emu ku nsonga eri nti kitwanguyira okulaba obunafu bw’abalala. Ate era abantu be tubeeramu tebassaamu balala kitiibwa. Naye ffe tusaanidde okuba ab’enjawulo. Lwaki? Kubanga Yakuwa ayagala tuwe “abantu aba buli ngeri” ekitiibwa.—1 Peet. 2:17.

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba kye kitegeeza okuwa abalala ekitiibwa, n’engeri gye tusobola okuwa ekitiibwa (1) ab’omu maka gaffe, (2) bakkiriza bannaffe, (3) n’abo abataweereza Yakuwa. Okusingira ddala tugenda kulaba engeri gye tusobola okuwaamu abalala ekitiibwa ne bwe kiba nga si kyangu.

KITEGEEZA KI OKUWA ABALALA EKITIIBWA?

4. Kitegeeza ki okuwa abalala ekitiibwa?

4 Okuwa abalala ekitiibwa kitegeeza ki? Okuwa abalala ekitiibwa kizingiramu ekyo kye tubalowoozaako, n’engeri gye tubayisaamu. Bwe tuba tuwa abalala ekitiibwa, tuba tubafaako era tuba tubatwala nti ba muwendo oboolyawo olw’engeri ennungi ze balina, ebyo bye bakoze oba bye batuuseeko, oba obuvunaanyizibwa bwe balina. Bwe tuba tuwa abalala ekitiibwa, tubayisa mu ngeri ebaleetera okuwulira nti ba mugaso, basiimibwa, era nti ba muwendo. Kya lwatu, ebyo bye tukola okuwa abalala ekitiibwa birina okuba nga biviira ddala ku mutima.—Mat. 15:8.

5. Kiki ekitukubiriza okuwa abalala ekitiibwa?

5 Yakuwa ayagala tuwe abalala ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, atugamba okuwa “ab’obuyinza” ekitiibwa. (Bar. 13:​1, 7) Naye abamu bayinza okugamba nti, “nze kinnyanguyira okuwa ekitiibwa abantu abakola ebintu mu ngeri entuufu.” Naye kiba kituufu okulowooza bwe tutyo? Ng’abaweereza ba Yakuwa tukimanyi nti okuwa abalala ekitiibwa tekirina kwesigama ku ngeri gye bakolamu bintu yokka, wabula kyesigama ku kintu ekikulu ennyo, nga kuno kwe kwagala kwe tulina eri Yakuwa, n’okuba nti twagala okukola ebimusanyusa.—Yos. 4:14; 1 Peet. 3:15.

6. Kisoboka okussa ekitiibwa mu muntu atakuwa kitiibwa? Nnyonnyola. (Laba n’ekifaananyi ddiba.)

6 Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘ddala kisoboka okuwa omuntu ekitiibwa nga ye takussaamu kitiibwa?’ Yee. Lowooza ku by’okulabirako bino. Kabaka Sawulo yayogera mu ngeri ey’obukambwe era eswaza mutabani we Yonasaani mu maaso g’abantu abalala. (1 Sam. 20:​30-34) Wadde kyali kityo, Yonasaani yasigala assaamu kitaawe ekitiibwa era yawagira kitaawe mu lutalo okutuusa Sawulo lwe yafa. (Kuv. 20:12; 2 Sam. 1:23) Kabona Asinga Obukulu Eli yawaayiriza Kaana nti yali atamidde. (1 Sam. 1:​12-14) Wadde kyali kityo, Kaana yayogera ne Eli mu ngeri eraga nti amussaamu ekitiibwa wadde nga kyali kimanyiddwa mu Isirayiri yonna nti Eli yali alemereddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga taata era nga kabona asinga obukulu. (1 Sam. 1:​15-18; 2:​22-24) Ate abamu ku basajja b’omu Asene baajerega omutume Pawulo ne batuuka n’okugamba nti “ajoboja.” (Bik. 17:18) Wadde kyali kityo, omutume Pawulo yayogera nabo mu ngeri eraga nti abassaamu ekitiibwa. (Bik. 17:22) Ebyokulabirako ebyo biraga nti okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri Yakuwa n’okuba nti tetwagala kukola bimunyiiza bisobola okutuleetera okuwa abalala ekitiibwa ka kibe nga kyangu oba nedda. Kati ka tulabe b’ani be tulina okuwa ekitiibwa n’ensonga lwaki tulina okukibawa.

Yonasaani, Sawulo, n’abasirikale Abayisirayiri nga bakozesa ebitala byabwe, amafumu, n’engabo okulwana.

Wadde nga kabaka Sawulo yaweebuula mutabani we Yonasaani, Yonasaani yeeyongera okumuwagira (Laba akatundu 6)


AB’OMU MAKA GO BAWE EKITIIBWA

7. Lwaki kiyinza okuba ekizibu okuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa?

7 Ensonga lwaki kiyinza okuba ekizibu. Tumala obudde bungi nga tuli n’ab’omu maka gaffe. Ekyo kituleetera okumanya engeri ennungi ze balina, n’obunafu bwabwe. Abamu bayinza okuba n’obulwadde obukifuula ekizibu gye tuli okubalabirira, oba abalala bayinza okuba nga beeraliikirivu nnyo. Ate abamu bayinza okwogera oba okukola ebintu ebitulumya. Abamu bayisa ab’omu maka gaabwe mu ngeri eraga nti tebabassaamu kitiibwa. N’ekivaamu, ab’omu maka baggweebwako emirembe, tebaba basanyufu, era baba tebakyakolagana bulungi. Okufaananako obulwadde obuviirako ebitundu by’omubiri ebimu okuba nga tebikolera wamu bulungi, ab’omu maka bwe baba nga tebawaŋŋana kitiibwa, tebaba bumu. Omuntu alina obulwadde obwo ayinza okuba nga tasobola kubujjanjaba. Naye okwawukana ku ekyo, ab’omu maka basobola okuyiga okuwaŋŋana ekitiibwa, ekyo ne kibasobozesa okukolagana obulungi.

8. Lwaki kikulu okuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa? (1 Timoseewo 5:​4, 8)

8 Ensonga lwaki tusaanidde okubassaamu ekitiibwa. (Soma 1 Timoseewo 5:​4, 8.) Mu bbaluwa Pawulo gye yasooka okuwandiikira Timoseewo, yalaga engeri buli omu ku b’omu maka gy’asobola okufaayo ku byetaago bya munne. Yannyonnyola nti okuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa tetukikola olw’okwagala okutuukiriza omukolo, naye ensonga enkulu etuleetera okukikola kwe kwagala “okwemalira ku Katonda.” Ekyo kitegeeza nti tuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa olw’okuba twagala Yakuwa era tukitwala nti kitundu kya kusinza kwaffe. Yakuwa ye yateekawo enteekateeka y’amaka. (Bef. 3:​14, 15) N’olwekyo bwe tussa ekitiibwa mu b’omu maka gaffe, tuba tussa ekitiibwa mu Yakuwa, oyo eyatandikawo amaka. (1 Tim. 5:4.) Eyo nsonga nnungi nnyo etuleetera okuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa!

9. Omwami n’omukyala bayinza batya okuwaŋŋana ekitiibwa? (Laba n’ebifaananyi.)

9 Bye tulina okukola okubassaamu ekitiibwa. Omwami assaamu mukyala we ekitiibwa akiraga nti wa muwendo gy’ali ka kibe nti waliwo abantu oba nedda. (Nge. 31:28; 1 Peet. 3:7) Tamukuba, tamujooga, era tamuleetera kuwulira nti si wa mugaso. Ow’oluganda Ariela abeera mu Argentina agamba nti: “Olw’obulwadde mukyala wange bw’alina, oluusi ayogera ebigambo ebinnumya. Ekyo bwe kibaawo ngezaako okukijjukira nti ebyo by’ayogera si by’aba ategeeza. Oluusi embeera bw’enkaluubirira, ngezaako okujjukira ebyo ebiri mu 1 Abakkolinso 13:​5, ebinnyamba okwogera naye mu ngeri eraga nti mmussaamu ekitiibwa era nga simukambuwalidde.” (Nge. 19:11) Omukyala akiraga nti assaamu omwami we ekitiibwa, ng’amwogerako bulungi eri abalala. (Bef. 5:33) Yeewala okukozesa ebigambo ebimuweebula, okumujerega, oba okumutuuma amannya agafeebya. Omukyala aba akimanyi nti enneeyisa ng’eyo esobola okumalawo essanyu mu bufumbo. (Nge. 14:1) Mwannyinaffe omu mu Yitale alina omwami alina ekizibu ky’okweraliikirira ekisukkiridde agamba nti: “Ebiseera ebimu mpulira nti omwami wange yeeraliikirira ku buli kintu. Mu biseera ebyayita, engeri gye nnayogeranga naye n’engeri gye nnamutunuulirangamu byali biraga nti simussaamu kitiibwa. Naye nkizudde nti gye nkomye okubeera n’abantu aboogera ku balala mu ngeri eraga nti babassaamu ekitiibwa, nange gye nkomye okuwa omwami wange ekitiibwa.”

Ebifaananyi: Abafumbo nga bakolera wamu era buli omu assaamu munne ekitiibwa. 1. Omwami ayogera ne mukyala we mu ngeri ey’ekisa nga bafumba ekijjulo. 2. Omukyala ayogera bulungi ku mwami we, ng’omwami we agabula ow’oluganda akaddiye emmere.

Bwe tuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa, tuba tuwa Yakuwa ekitiibwa, oyo eyatandikawo amaka (Laba akatundu 9)


10. Abaana bayinza batya okukiraga nti bassaamu bazadde baabwe ekitiibwa?

10 Abavubuka, mugondere amateeka bazadde bammwe ge babateerawo. (Bef. 6:​1-3) Mwogere nabo mu ngeri eraga nti mubassaamu ekitiibwa. (Kuv. 21:17) Bazadde bo bwe bagenda bakula, weeyongere okukiraga nti obassaamu ekitiibwa era kola kyonna ky’osobola okukiraga nti obafaako. Lowooza ku mwannyinaffe María alina kitaawe atali Mujulirwa wa Yakuwa. Kitaawe bwe yalwala, yakifuula kizibu eri María okumulabirira. María agamba nti: “Nnasaba Yakuwa annyambe okuwa taata wange ekitiibwa, era ekyo nkirage ne mu bikolwa. Muli nnagamba nti bwe kiba nti Yakuwa ayagala mpe bazadde bange ekitiibwa, era ajja kunsobozesa okukikola. Oluvannyuma lw’ekiseera nnakitegeera nti okuwa taata wange ekitiibwa teyeetaaga kusooka kukyusa nneeyisa ye.” Bwe tuwa ab’omu maka gaffe ekitiibwa, ne bwe baba nga balina obunafu obutali bumu, tuba tukiraga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa, oyo eyatandikawo amaka.

BAKKIRIZA BANNO BASSEEMU EKITIIBWA

11. Lwaki oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okussaamu bakkiriza bannaffe ekitiibwa?

11 Ensonga lwaki kiyinza okuba ekizibu. Bakkiriza bannaffe bamanyi emisingi gya Bayibuli; naye ebiseera ebimu batuyisa mu ngeri etali ya kisa, batuloowooleza ebintu ebikyamu, oba bakola ebintu ebitunyiiza. Ekyo bwe kibaawo, kiyinza okutuzibuwalira okweyongera okubassaamu ekitiibwa. (Bak. 3:13) Kiki ekisobola okutuyamba okweyongera okubassaamu ekitiibwa?

12. Lwaki kikulu okussaamu bakkiriza bannaffe ekitiibwa? (2 Peetero 2:​9-12)

12 Ensonga lwaki tusaanidde okubassaamu ekitiibwa. (Soma 2 Peetero 2:​9-12.) Mu bbaluwa eyokubiri omutume Peetero gye yaluŋŋamizibwa okuwandiika, yagamba nti abamu ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, baali boogera bubi ku ‘b’ekitiibwa,’ kwe kugamba, abakadde mu kibiina. Bamalayika abeesigwa abaali balaba ebyo ebyali bigenda mu maaso baakolawo ki? “Olw’okuba bassa ekitiibwa mu Yakuwa,” tebaayogera wadde ekigambo ekimu bwe kiti ekibi ku basajja abo. Kirowoozeeko! Bamalayika abo abatuukiridde tebaayogera bigambo bibi eri abasajja abo ab’amalala. Mu kifo ky’ekyo, baaleka Yakuwa y’aba anenya abasajja abo era abasalire omusango. (Bar. 14:​10-12; geraageranya Yuda 9.) Waliwo kye tusobola okuyigira ku bamalayika abo. Bwe kiba nti abo abatuziyiza tubayisa mu ngeri eraga nti tubassaamu ekitiibwa, bakkiriza bannaffe twandibadde tubassaamu ekitiibwa n’okusingawo. Bayibuli eraga nti mu kuwa abalala ekitiibwa, ffe ‘tulina okusooka.’ (Bar. 12:10) Bwe tukola bwe tutyo tuba tulaga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa.

13-14. Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ebifaananyi.)

13 Bye tulina okukola okubassaamu ekitiibwa. Abakadde, bwe muba muwabula abalala mukikole mu ngeri ey’okwagala. (Fir. 8, 9) Mubawabule mu ngeri ey’ekisa era mukikole mu kiseera nga temulina bibasumbuwa. Bannyinaffe, musobola okubaako kye mukolawo okuleetera bonna mu kibiina okweyongera okuwaŋŋana ekitiibwa, nga temwenyigira mu lugambo oba okuwaayiriza abalala. (Tit. 2:​3-5) Ffenna tusobola okukiraga nti tuwa abakadde mu kibiina ekitiibwa nga tukolagana bulungi nabo, nga tubasiima olw’emirimu gye bakola gamba ng’okukubiriza enkuŋŋaana, okutukulembera mu mulimu gw’okubuulira, era n’okuyamba abo ababa bakutte “ekkubo ekkyamu.”—Bag. 6:1; 1 Tim. 5:17.

14 Mwannyinaffe ayitibwa Rocío yakisanga nga kizibu okussa ekitiibwa mu mukadde omu eyamuwabula. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Muli nnawulira nti omukadde oyo teyayogera nange mu ngeri ey’ekisa. Nnamwogerangako bubi nga ndi ewaka. Wadde nga saakimulaga, nnali mpulira nti tanfaako era saakolera ku kuwabula kwe yampa.” Kiki ekyayamba Rocío? Agamba nti: “Lumu bwe nnali nsoma Bayibuli, nnasoma ebyo ebiri mu 1 Abassessalonika 5:​12, 13. Bwe nnakimanya nti nnali ssiwa waluganda oyo kitiibwa, omuntu wange ow’omunda yatandika okunnumiriza. Nnasaba Yakuwa era ne nnoonyereza mu bitabo byaffe mbeeko kye nzuula ekisobola okunnyamba okutereeza endowooza yange. Oluvannyuma nnakizuula nti nnalina amalala era nti ow’oluganda oyo teyalina buzibu. Kati nkimanyi bulungi nti bwe siba mwetoowaze, kiyinza okunviirako obutawa balala kitiibwa. Waliwo bingi bye nkyetaaga okutereeza, naye bwe nfuba okuwa abalala ekitiibwa mpulira bulungi kuba mba nfuba okusanyusa Yakuwa.”

Ebifaananyi: Mwannyinaffe akaddiye asoma Bayibuli era afumiitiriza ku bintu ebitali bimu abakadde bye bakola. 1. Omukadde awa emboozi mu lukuŋŋaana. 2. Ayamba ow’oluganda ali mu kagaali k’abalema. 3. Ayoola omuzira wabweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka.

Ffenna tusobola okukiraga nti tussaamu abakadde mu kibiina ekitiibwa nga tukolagana bulungi nabo era nga tubasiima olw’emirimu gye bakola (Laba akatundu 13-14)


ABATALI BAWEEREZA BA YAKUWA BASSEEMU EKITIIBWA

15. Lwaki kiyinza okutuzibuwalira okussa ekitiibwa mu bantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa?

15 Ensonga lwaki kiyinza okuba ekizibu. Emirundi egimu bwe tuba tubuulira, tusanga abantu abalabika ng’abatayagala kuwuliriza bubaka bwaffe. (Bef. 4:18) Abalala bagaanira ddala okuwuliriza obubaka bwaffe olw’ebyo bye baayigirizbwa okukkiririzaamu nga bakyali bato. Abantu abamu be tukola nabo oba be tusoma nabo baba bakambwe. Ate era, bakama baffe ku mirimu bayinza okuba nga tebasiima mirimu gye tukola. Oluvannyuma lw’ekiseera, tuyinza okulekera awo okussa ekitiibwa mu bantu ng’abo n’okubayisa mu ngeri ey’ekisa.

16. Lwaki kikulu okussaamu abantu abatali baweereza ba Yakuwa ekitiibwa? (1 Peetero 2:12; 3:15)

16 Ensonga lwaki tusaanidde okubassaamu ekitiibwa. Kijjukire nti Yakuwa afaayo nnyo ne ku ngeri gye tuyisaamu abo abatali baweereza be. Omutume Peetero yajjukiza Abakristaayo nti empisa zaabwe ennungi zisobola okuleetera abalala ‘okugulumiza Katonda.’ N’olw’ensonga eyo, yabakubiriza nti bwe baba bannyonnyola abalala ebyo bye bakkiririzaamu, basaanidde okukikola mu ‘bukkakkamu era nga babassaamu ekitiibwa.’ (Soma 1 Peetero 2:12; 3:15.) Abakristaayo ne bwe baba nga bannyonnyola abo abali mu buyinza oba omuntu omulala yenna ebyo bye bakkiririzaamu, balina okukikola mu ngeri eraga nti babassaamu ekitiibwa. Ekyo kiri bwe kityo kubanga Yakuwa aba alaba era aba awulira ebyo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu. Ekyo tekyandituleetedde okuyisa obulungi abantu abataweereza Yakuwa era n’okubassaamu ekitiibwa?

17. Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu abo abatali baweereza ba Yakuwa?

17 Bye tulina okukola okubassaamu ekitiibwa. Bwe tuba mu buweereza ne tusanga abantu abamanyi ekitono ku Bayibuli oba abatalina kye bagimanyiiko, tetusaanidde kubalaga nti ffe tubasinga. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okutwala abantu abo nti ba muwendo eri Yakuwa era nti batusinga. (Kag. 2:7; Baf. 2:3) Omuntu bw’avumirira ebyo by’okkiririzaamu, weewale okumwesasuza, gamba ng’oyogera ng’asaaga naye ng’omufeebya. (1 Peet. 2:23) Bw’oyogera ekintu n’okyejjusa, weetonde mu bwangu. Oyinza otya okussa ekitiibwa mu abo b’okola nabo? Beera mukozi munyiikivu era fuba okulaba ebirungi mu abo b’okola nabo oba b’okolera. (Tit. 2:​9, 10) Bw’obeera omukozi omwesigwa, omunyiikivu, era akola n’omutima gwe gwonna, ojja kusanyusa Katonda ne bwe kiba nti abo b’okolera tebatera kusiima.—Bak. 3:​22, 23.

18. Lwaki kirungi okussaamu abalala ekitiibwa?

18 Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okussa ekitiibwa mu balala! Mu kitundu kino tukirabye nti bwe tussa ekitiibwa mu b’omu maka gaffe, tuba tussa ekitiibwa mu Yakuwa, oyo eyatandikawo amaka. Mu ngeri y’emu, bwe tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe, ne Kitaffe ow’omu ggulu tuba tumussizzaamu ekitiibwa. Ate era bwe tussa ekitiibwa mu bantu abatali baweereza ba Yakuwa, tukifuula kyangu gye bali okugulumiza Yakuwa Katonda waffe. Ne bwe kiba nti bwe tuwa abalala ekitiibwa bo tebakituwa, tusaanidde okweyongera okubawa ekitiibwa. Lwaki? Kubanga Yakuwa ajja kutuwa emikisa. Mu butuufu asuubiza nti: “Abo abanzisaamu ekitiibwa be nja okuwa ekitiibwa.”—1 Sam. 2:30.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu b’omu maka gaffe?

  • Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe?

  • Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu bantu abatali baweereza ba Yakuwa?

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

a Amannya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share