LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Okitobba lup. 6-11
  • Yakuwa Ye ‘Ssanyu Lyaffe ery’Ensusso’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Ye ‘Ssanyu Lyaffe ery’Ensusso’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSIBUKO Y’ESSANYU ERYA NNAMADDALA
  • TOKKIRIZA KINTU KYONNA KUKUMALAKO SSANYU
  • Essanyu—Ngeri Gye Tufuna Okuva eri Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Engeri gy’Oyinza Okweyongera Okufuna Essanyu mu Buweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Funa Essanyu Erisingawo Eriva mu Kugaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Okitobba lup. 6-11

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40

OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu

Yakuwa Ye ‘Ssanyu Lyaffe ery’Ensusso’

“ Nja kutuuka . . . eri Katonda, essanyu lyange ery’ensusso.”—ZAB. 43:4.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ebintu ebiyinza okutuleetera obutaba basanyufu, n’ebyo bye tulina okukola okuddamu okuba n’essanyu.

1-2. (a) Abantu bangi bawulira batya leero? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

LEERO abantu bangi bakola ebintu ebitali bimu nga banoonya essanyu. Kyokka wadde kiri kityo, tebafuna ssanyu lya nnamaddala. Basigala banakuwavu era tebaba bamativu. Abantu ba Yakuwa nabo oluusi beewulira bwe batyo. Olw’okuba tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ebiyinza okutuviirako okweraliikirira n’okuba abanakuwavu.—2 Tim. 3:1.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebiyinza okutuleetera obutaba basanyufu n’ebyo bye tusobola okukola okuddamu okuba n’essanyu. Naye ka tusooke tulabe we tusobola okujja essanyu erya nnamaddala.

ENSIBUKO Y’ESSANYU ERYA NNAMADDALA

3. Ebitonde bituyigiriza ki ku Yakuwa? (Laba n’ebifaananyi.)

3 Yakuwa bulijjo abaddenga musanyufu era ayagala naffe tubeere basanyufu. Eyo ye nsonga lwaki yakola ebintu bingi ebituleetera okuba abasanyufu. Ng’ekyokulabirako, kitusanyusa okulaba ensi yaffe ng’erabika bulungi, ng’eriko langi ez’enjawulo, tunyumirwa okulaba ensolo nga zizannya, era kitusanyusa bwe tulya emmere ewooma. Mazima ddala Katonda atwagala era ayagala tunyumirwe obulamu!

Ebifaananyi: Ebisolo eby’enjawulo nga bizannya. 1. Enjovu ento ng’eyita mu mazzi. 2. Penguin ento nga zitambulira mu muzira. 3. Obubuzi obuto nga buzannyira ku ttale. 4. Ebyennyanja nga bizannyira mu mazzi.

Baby elephant: Image © Romi Gamit/Shutterstock; penguin chicks: Vladimir Seliverstov/500px via Getty Images; baby goats: Rita Kochmarjova/stock.adobe.com; two dolphins: georgeclerk/E+ via Getty Images

Bwe tulaba ebisolo nga bizannya kitujjukiza nti Yakuwa musanyufu (Laba akatundu 3)


4. (a) Lwaki Yakuwa asigadde musanyufu wadde ng’alaba okubonaabona okuliwo? (b) Yakuwa atuyamba atya? (Zabbuli 16:11)

4 Wadde nga Yakuwa ‘Katonda musanyufu,’ amanyi bulungi obulumi n’okubonaabona kwe tuyitamu mu nsi eno. (1 Tim. 1:11) Naye ekyo tekimuleetedde kuggweebwako ssanyu lye. Akimanyi nti okubonaabona kwonna okuliwo kwa kaseera buseera era ye kennyini yateekawo olunaku lw’anaamalawo ebizibu ebiriwo. Alindirira n’obugumiikiriza okutuuka ku kiseera ekyo lw’anaamalirawo ddala ennaku n’okubonaabona. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, Yakuwa amanyi bulungi byonna bye tuyitamu era ayagala okutuyamba. Atuyamba atya? Emu ku ngeri gy’akikolamu kwe kutusobozesa okufuna essanyu. (Soma Zabbuli 16:11.) Weetegereze engeri Yakuwa gye yasobozesa Yesu okuba omusanyufu.

5-6. Lwaki tugamba nti Yesu musanyufu?

5 Mu bitonde bya Yakuwa byonna, Yesu y’asingayo okuba omusanyufu. Lwaki? Lowooza ku nsonga bbiri. (1) Yesu “kye kifaananyi kya Katonda atalabika” era ayolekera ddala engeri za Kitaawe mu mbeera zonna. (Bak. 1:15) (2) Mu bitonde byonna, Yesu y’akyasinze okumala ne Yakuwa ebbanga eddene, ate nga Yakuwa ye Nsibuko y’essanyu.

6 Bulijjo Yesu abaddenga akola ebyo Kitaawe by’amutuma okukola era ekyo kimuleetedde essanyu. (Nge. 8:​30, 31; Yok. 8:29) Olw’okuba aweereza Yakuwa n’obwesigwa, Yakuwa amwagala nnyo era amusiima.—Mat. 3:17.

7. Tuyinza tutya okufuna essanyu erya nnamaddala?

7 Naffe tusobola okufuna essanyu erya nnamaddala bwe tubeera n’enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa kubanga Yakuwa ye Nsibuko y’essanyu. Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa era ne tumukoppa, gye tukoma okubeera abasanyufu. Ate era bwe tukola Yakuwa by’ayagala era ne tukimanya nti atusiima tuba basanyufu.a (Zab. 33:12) Naye watya singa olumu tetuba basanyufu era oluusi ne tuwulira bwe tutyo okumala ebbanga ddene? Ekyo kiba kitegeeza nti Yakuwa tatusiima? Nedda! Ffenna tetutuukiridde era ebiseera ebimu tuba n’obulumi, tuba banakuwavu, era twennyamira. Ekyo Yakuwa akitegeera. (Zab. 103:14) Kati ka twogere ku bintu ebiyinza okutumalako essanyu n’engeri gye tusobola okuddamu okuba abasanyufu.

By’Osobola Okukola Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala

Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala twetaaga okusaba Yakuwa, kubanga essanyu kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bag. 5:22) Bwe tuba n’obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, tusobola “okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu” ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu.—Bak. 1:11.

Kulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwo. Soma Bayibuli buli lunaku n’ebitabo ebikubibwa ekibiina. Kozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira abalala “amawulire amalungi ag’essanyu eringi.” (Luk. 2:10) Abo abakulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwabwe be bantu abasingayo okuba abasanyufu.—Zab. 65:4.

Gondera Yakuwa ekiseera kyonna. Kijjukire nti amateeka ga Yakuwa gaganyula ggwe. Okugondera Yakuwa tekikumalako ddembe lyo wabula kikuyamba okuba omusanyufu.—Luk. 11:28.

TOKKIRIZA KINTU KYONNA KUKUMALAKO SSANYU

8. Ebizibu biyinza kutukosa bitya?

8 Ekisooka: Ebizibu bye tufuna. Oyinza okuba ng’oyigganyizibwa olw’okuba oweereza Yakuwa, ng’obonaabona olw’akatyabaga, olw’obwavu, olw’obulwadde, oba olw’okuba okaddiye. Kyangu okuggweebwako essanyu nga twolekagana n’ebizibu ebyo, naddala bwe kiba nti tetulina kya maanyi kye tuyinza kukolawo okukyusa embeera. Bayibuli ekiraga bulungi nti “ennaku emenya omwoyo.” (Nge. 15:13) Babis aweereza ng’omukadde yafiirwa muganda we ne bazadde be mu bbanga lya myaka ena. Agamba nti: “Nnawulira ekiwuubaalo era nga mpulira ng’atalina buyambi. Olw’okuba nnalina eby’okukola bingi, saasobola kufuna budde bumala kubeerako ne bazadde bange awamu ne muganda wange nga tebannafa. Ekyo oluusi kyandeeteranga okuwulira obubi.” Ebizibu bye tufuna bisobola okutuleetera okuwulira nga tuweddemu amaanyi era nga tuli banakuwavu.

9. Kiki ekisobola okutuyamba okuddamu okuba abasanyufu? (Yeremiya 29:​4-7, 10)

9 Ekisobola okutuyamba okuddamu okuba abasanyufu. Tusobola okuddamu okuba abasanyufu singa tukikkiriza nti embeera ekyuse era ne tusiima ebirungi bye tulina. Abantu mu nsi balowooza nti okusobola okuba abasanyufu tulina okuba nga tetulina kizibu kyonna. Naye ekyo si kituufu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni okukikkiriza nti baali bawambe mu nsi engwira era yabagamba bakole kyonna kye basobola okusigala nga basanyufu nga bali eyo. (Soma Yeremiya 29:​4-7, 10.) Ekyo kituyigiriza ki? Embeera bw’ekyuka gikkirize era siima ebintu ebirungi by’oba olina. Kijjukire nti Yakuwa ajja kukuyamba era tajja kukwabulira. (Zab. 63:7; 146:5) Mwannyinaffe Effie eyafuna akabenje akaamuviirako okusannyalala agamba nti: “Yakuwa, ab’omu maka gange, n’ab’oluganda mu kibiina bannyamba nnyo era banzizaamu nnyo amaanyi. Njagala okukiraga nti nsiima ebyo byonna bye bankolera. N’olwekyo nkola kyonna kye nsobola okusigala nga ndi musanyufu.”

10. Lwaki tusobola okusigala nga tuli basanyufu ne bwe tuba nga tulina ebizibu?

10 Ne bwe kiba nti embeera gye tulimu si gye twandyagadde okubaamu, oba bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi, oba bwe bituuka ku b’omu maka gaffe, tusobola okusigala nga tuli basanyufu.b (Zab. 126:5) Lwaki? Kubanga essanyu erya nnamaddala terisinziira ku mbeera gye tubaamu. Mwannyinaffe Maria aweereza nga payoniya agamba nti: “Bwe tuba n’ebizibu naye ne tusigala nga tuli basanyufu tekitegeeza nti tetubyogerako oba nti tetuwulira bulumi olw’ebizibu ebyo. Wabula kiba kitegeeza nti tetwerabidde bisuubizo bya Yakuwa. Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuyamba okusigala nga tuli basanyufu.” Kijjukire nti ebizibu by’olina ne bwe biba bya maanyi bitya, bya kaseera buseera. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa agenda kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okubonaabona n’ennaku.

11. Ekyokulabirako ky’omutume Pawulo kikuzzizaamu kitya amaanyi?

11 Watya singa tutandika okulowooza nti ebizibu bye tufuna biraga nti Yakuwa takyatusiima? Tusobola okulowooza ku baweereza ba Katonda abeesigwa abaafuna ebizibu eby’amaanyi. Lowooza ku mutume Pawulo. Yesu kennyini ye yamulonda okubuulira amawulire amalungi “eri ab’amawanga, eri bakabaka, n’eri abaana ba Isirayiri.” (Bik. 9:15) Eyo nga yali nkizo ya maanyi! Kyokka Pawulo yafuna ebizibu bingi. (2 Kol. 11:​23-27) Ebizibu ebingi Pawulo bye yafuna byali biraga nti Yakuwa tamusiima? Nedda! Mu butuufu, eky’okuba nti Pawulo yagumiikiriza ebizibu bye yali alina kyali kiraga nti Yakuwa amuyamba. (Bar. 5:​3-5) Kati lowooza ku mbeera gy’olimu. Naawe oweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde ng’olina ebizibu. N’olwekyo beera mukakafu nti Yakuwa akusiima.

12. Kiki ekisobola okubaawo bwe tuba nga tetusobola kutuuka ku biruubirirwa byaffe?

12 Ekyokubiri: Bwe tulemererwa okutuuka ku biruubirirwa byaffe. (Nge. 13:12) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’okuba nti tusiima by’atukolera bituleetera okweteerawo ebiruubirirwa nga tumuweereza. Kyokka embeera yaffe bw’eba nga tetusobozesa kutuuka ku biruubirirwa bye tuba twetereddewo kiyinza okutumalamu amaanyi. (Nge. 17:22) Mwannyinaffe Holly aweereza nga payoniya agamba nti: “Nnali njagala okugendako mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, okuweererezaako mu nsi endala, era n’okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba e Ramapo. Naye embeera yange yakyuka ne mba nga sikyasobola kutuuka ku biruubirirwa byange ebyo. Nnawulira nga mpeddemu amaanyi. Kiruma nnyo okuba nti wandyagadde okukola ebintu bingi naye nga tosobola.” Abaweereza ba Yakuwa bangi bawulira bwe batyo bwe baba nga tebasobola kutuuka ku biruubirirwa byabwe.

13. Bwe kiba nti embeera yaffe tetusobozesa kutuuka ku biruubirirwa byaffe, kiki kye tuyinza okukola?

13 Ekisobola okutuyamba okuddamu okuba abasanyufu. Kijjukire nti Yakuwa takusuubira kukola kisukka ku busobozi bwo. Yakuwa atutwala nga tuli ba muwendo ne bwe kiba nti ebyo bye tukola nga tumuweereza tebyenkana n’ebyo abalala bye bakola. Yakuwa ayagala tumanye obusobozi bwaffe we bukoma era tumuweereze n’obwesigwa. (Mi. 6:8; 1 Kol. 4:2) Afaayo nnyo ku ekyo kye tuli munda okusinga ebyo bye tukola nga tumuweereza. Kiba kirungi okwesuubiramu ekisukka ku ekyo Yakuwa ky’atusuubiramu?c Nedda! N’olwekyo embeera yo bw’eba nga tekusobozesa kuweereza Yakuwa nga bwe wandyagadde, ebirowoozo bisse ku ebyo by’osobola okukola. Ng’ekyokulabirako, osobola okutendeka ab’oluganda abakyali abato n’okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe abakaddiye. Oba oyinza okubaako gw’okyalira, okumukubira ku ssimu, oba okumusindikira obubaka obumuzzaamu amaanyi. Yakuwa asanyuka nnyo bw’okola ekyo ky’osobola ng’omuweereza era ajja kukuyamba okuba omusanyufu. Kijjukire nti mu nsi empya tujja kuba n’emikisa mingi egy’okuweereza Yakuwa okusinga ne bwe tulowooza! Ekyo kyazzaamu amaanyi Holly eyayogeddwako waggulu. Agamba nti: “Bwe mpulira nga mpeddemu amaanyi ntera okwegamba nti, ‘Ogenda kubeerawo emirembe gyonna.’ Nkimanyi nti Yakuwa ajja kunnyamba ebimu ku biruubirirwa byange mbituukeko mu nsi empya.”

14. Kiki ekirala ekiyinza okutumalako essanyu?

14 Ekyokusatu: Okulowooza nti eby’amasanyu kye kintu ekisinga obukulu. Abamu bakozesa emikutu emigattabantu okutumbula endowooza egamba nti essanyu erya nnamaddala liva mu kukola bintu ebitunyumira. Ng’ekyokulabirako, babaleetedde okulowooza nti basaanidde kukulembeza bintu ebibanyumira gamba ng’okugula ebintu ebiri ku mulembe, oba okulambula ebifo eby’enjawulo. Si kibi okunyumirwa ebintu ng’ebyo. Yakuwa yatutonda nga tusobola okunyumirwa ebintu ebirungi. Kyokka bangi bakizudde nti ebintu bye baali balowooza nti bijja kubawa essanyu, bibamazeeko bumazi ssanyu. Mwannyinaffe Eva aweereza nga payoniya agamba nti: “Bw’oba ng’ebirowoozo byo obimalidde ku kwesanyusa buli kiseera, toliba mumativu.” Omuntu bw’amalira ebirowoozo ku by’amasanyu, aba munakuwavu era taba musanyufu.

15. Kiki kye tuyigira ku Kabaka Sulemaani?

15 Waliwo kye tusobola okuyigira ku Kabaka Sulemaani bwe kituuka ku kabi akava mu kwemalira ku by’amasanyu. Yagezaako okunoonya essanyu ng’akola ebintu byonna bye yali ayagala gamba ng’okulya emmere ennungi, okuwuliriza ebivuga n’ennyimba, n’okukozesa ssente ze okugula ebintu byonna ebirungi ebyaliwo mu kiseera kye. Naye ebintu ebyo tebyamuleetera ssanyu lya nnamaddala. Agamba nti: “Eriiso terimatira kulaba; n’okutu tekukoowa kuwulira.” (Mub. 1:8; 2:​1-11) Endowooza ensi gy’erina ku ekyo ekireeta essanyu erya nnamaddala eringa ssente ez’ebicupuli. Endowooza eyo ereetera abantu okulowooza nti basobola okufuna essanyu erya nnamaddala. Kyokka ekyo si kituufu.

16. Okubaako bye tukolera abalala kituyamba kitya okuba abasanyufu? (Laba n’ebifaananyi.)

16 Ekisobola okutuyamba okuddamu okuba abasanyufu. Yesu yayigiriza nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Ow’oluganda Alekos aweereza ng’omukadde agamba nti: “Nfuba okubaako ebintu ebitonotono bye nkolera abalala. Bwe nnyamba abalala, kinnyamba obuteerowoozaako, era ekyo kinviirako okuba omusanyufu.” Biki by’oyinza okukolera abalala? Bw’olaba omuntu omunakuwavu, muzzeemu amaanyi. Oyinza obutasobola kugonjoola bizibu by’alina, naye osobola okumubudaabuda ng’omuwuliriza bulungi, ng’omusaasira, era ng’omukubiriza okutegeeza Yakuwa ebizibu by’alina. (Zab. 55:22; 68:19) Muyambe okukijjukira nti Yakuwa tamwabulidde. (Zab. 37:28; Is. 59:1) Ate era osobola okubaako ekintu ky’omukolera gamba ng’okumufumbira emmere, oba okumutwala ne mutambulako. Oyinza n’okumusaba obuulireko naye; ekyo kiyinza okumuyamba okuwulira obulungi. Kkiriza Yakuwa akukozese okuzzaamu abalala amaanyi. Bwe tukozesa ebiseera byaffe okuyamba abalala, tujja kufuna essanyu erya nnamaddala!—Nge. 11:25.

Ebifaananyi: 1. Mwannyinaffe atudde yekka mu dduuka eritunda kaawa era anyiga essimu ye. Okumpi naye waliwo ensawo mw’agulidde ebintu. 2. Musanyufu okukyalirako mwannyinaffe akaddiye era amutwalidde ebimuli.

Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byo ku ebyo by’oyagala, kolera abalala ebirungi (Laba akatundu 16)d


17. Kiki kye tusaanidde okukola okufuna essanyu erya nnamaddala? (Zabbuli 43:4)

17 Tusobola okufuna essanyu erya nnamaddala bwe tweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu. Bayibuli etukakasa nti Yakuwa ye nsibuko ‘y’essanyu lyaffe ery’ensusso.’ (Soma Zabbuli 43:4.) N’olwekyo ka tube nga twolekagana na bizibu ki, tetusaanidde kweraliikirira kisukkiridde. Ebirowoozo byaffe ka bulijjo tubimalire ku Yakuwa, Ensibuko y’essanyu lyaffe!—Zab. 144:15.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki Yakuwa ne Yesu basanyufu?

  • Biki ebisobola okutumalako essanyu?

  • Biki ebiyinza okutuyamba okuddamu okuba abasanyufu?

OLUYIMBA 155 Essanyu Lyaffe Ery’Olubeerera

a Laba akasanduuko “By’Osobola Okukola Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala.”

b Ng’ekyokulabirako, genda ku jw.org olabe Lipoota ey’Okutaano Okuva ku Kakiiko Akafuzi eya 2023, eraga ebikwata ku Dennis ne Irina Christensen.

c Okumanya ebisingawo laba ekitundu “Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako, era Beera Musanyufu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2008.

d EKIFAANANYI: Mwannyinaffe yeegulidde ebintu bingi naye era kimusanyusizza nnyo okugula ebimuli, n’abitwalira mwannyinaffe akaddiye.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share