LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Ddesemba lup. 2-7
  • Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okutuyamba nga Tulina Ebizibu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okutuyamba nga Tulina Ebizibu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA ALEKA YOBU OKUFUNA EBIZIBU
  • ENGERI EBYO EBIRI MU KITABO KYA YOBU GYE BITUYAMBA OKUGUMIIKIRIZA
  • KOZESA EBYO EBIRI MU KITABO KYA YOBU OKUYAMBA ABALALA
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ebiri mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okukuyamba ng’Owabula Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ddesemba lup. 2-7

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

Bye Tuyiga mu Kitabo kya Yobu Bisobola Okutuyamba nga Tulina Ebizibu

“Mazima ddala Katonda tayinza kukola bintu bibi.”—YOB. 34:12.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ebyo bye tuyiga mu kitabo kya Yobu ebiraga ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, n’engeri gye tusobola okugumiikiriza bwe tuba n’ebizibu.

1-2. Ezimu ku nsonga lwaki tusaanidde okusoma ekitabo kya Yobu ze ziruwa?

GYE buvuddeko awo onyumiddwa okusoma ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu? Wadde ng’ekitabo ekyo kyawandiikibwa emyaka nga 3,500 emabega, abantu bangi bakyakitwala ng’ekimu ku bitabo ebikyasinze okuwandiikibwa obulungi. Ekitabo ekimu bwe kiba kyogera ku ngeri ennyangu ekitabo kya Yobu gye kyawandiikibwamu, n’ebigambo ebirungi era eby’amaanyi ebikirimu, kigamba nti, omuwandiisi w’ekitabo ekyo yali “muwandiisi musuffu nnyo.” Wadde nga Musa ye yawandiika ekitabo kino, Yakuwa ye yamuluŋŋamya okukiwandiika.—2 Tim. 3:16.

2 Ekitabo kya Yobu kye kimu ku bitabo ebikulu ennyo ebiri mu Bayibuli. Lwaki? Emu ku nsonga eri nti, kiraga ekintu ekikulu ennyo ebitonde byonna ebitegeera kye birina okukola, nga kwe kutukuza erinnya lya Yakuwa. Ate era mu kitabo ekyo tuyiga ku ngeri za Yakuwa gamba ng’okwagala, amagezi, obwenkanya, n’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, ekitabo kya Yobu kikozesa ekitiibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna” nga kyogera ku Yakuwa, emirundi egisukka mu 20, era ng’emirundi egyo mingi okusinga bwe kikozesebwa mu bitabo bya Bayibuli ebirala byonna ng’obigasse wamu. Ebiri mu kitabo ekyo era bituyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikwata ku bulamu, nga mwe muli ne kino bangi kye beebuuza: Lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo?

3. Tuganyulwa tutya bwe tusoma ekitabo kya Yobu?

3 Omuntu bw’abeera ku ntikko y’olusozi aba asobola okulaba obulungi ebyo ebimwetooloodde. Mu ngeri y’emu ebyo bye tusoma mu kitabo kya Yobu bisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye tufuna. Ka tulabe engeri ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu gye bisobola okutuyambamu bwe tuba n’ebizibu. Tugenda kulaba engeri Abayisirayiri gye baali basobola okuganyulwa mu ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu, era n’engeri naffe gye bisobola okutuganyula leero. Ate era tugenda kulaba engeri gye tusobola okubikozesa okuyamba abalala.

YAKUWA ALEKA YOBU OKUFUNA EBIZIBU

4. Njawulo ki ey’amaanyi eyaliwo wakati wa Yobu n’Abayisirayiri abaali e Misiri?

4 Mu kiseera Abayisirayiri bwe baali nga babonaabona nga baweereza ng’abaddu e Misiri, omusajja ayitibwa Yobu yali abeera mu nsi ya Uzi, era kirabika ensi eyo yali ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’Ensi Ensuubize, mu kitundu ky’e bukiikakkono bwa Buwalabu. Okwawukana ku Bayisirayiri abaali batandise okusinza ebifaananyi nga bali e Misiri, Yobu ye yali aweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Yos. 24:14; Ezk. 20:8) Yakuwa bwe yali ayogera ku Yobu yagamba nti: “Tewali alinga ye mu nsi.”a (Yob. 1:8) Yobu yali mugagga nnyo era ye muntu eyali asinga okussibwamu ekitiibwa mu kitundu gye yali abeera. (Yob. 1:3) Sitaani ateekwa okuba nga yali awulira bubi okulaba omusajja oyo eyali omugagga ennyo ng’aweereza Katonda n’obwesigwa!

5. Lwaki Yakuwa yaleka Yobu okufuna ebizibu? (Yob. 1:​20-22; 2:​9, 10)

5 Sitaani yagamba nti singa Yobu afuna ebizibu, yandirekedde awo okuweereza Yakuwa. (Yob. 1:​7-11; 2:​2-5) Wadde nga Yakuwa yali ayagala nnyo Yobu, ebyo Sitaani bye yayogera byaleetawo ebibuuzo ebikulu. N’olwekyo Yakuwa yaleka Sitaani aleetere Yobu ebizibu, Sitaani akirage obanga ekyo kye yali ayogera kituufu. (Yob. 1:​12-19; 2:​6-8) Sitaani yaleetera abantu okunyaga ebisibo bya Yobu, yatta abaana ba Yobu kkumi, era yaleetera Yobu obulwadde bw’amayute obwali buluma ennyo, obwamuluma okuva ku mutwe okutuuka ku bigere. Wadde nga Sitaani yaleetera Yobu ebizibu eby’amaanyi bwe bityo, Yobu yasigala aweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Soma Yobu 1:​20-22; 2:​9, 10.) Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yawonya Yobu obulwadde bwe yalina, yamuddiza eby’obugagga bye n’ekitiibwa, era yamusobozesa okuzaala abaana abalala kkumi. Ate era mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yawangaaza Yobu emyaka emirala 140, n’alaba bazzukulu be okutuukira ddala ku mulembe ogw’okuna. (Yob. 42:​10-13, 16) Biki abaweereza ba Katonda abaaliwo mu biseera eby’edda bye baali basobola okuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Yobu, era biki naffe bye tusobola okumuyigirako leero?

6. Okumanya ebyo ebyatuuka ku Yobu, kyandiyambye kitya Abayisirayiri? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Engeri Abayisirayiri gye bandiganyuddwa. Abayisirayiri bwe baali e Misiri, baabonaabona nnyo. Ng’ekyokulabirako, Yoswa ne Kalebu baali bamaze obuvubuka bwabwe bwonna nga baddu. Oluvannyuma, wadde nga teyali nsobi yaabwe, baamala emyaka 40 nga batambula mu ddungu. Bwe kiba nti Abayisirayiri baamanya ku bizibu Yobu bye yafuna, n’emikisa gye yafuna oluvannyuma, oboolyawo kyandibayambye awamu ne bazzukulu baabwe okutegeera ani avunaanyizibwa ku bizibu bye tufuna. Ate era ekyo kyandibayambye okumanya ensonga lwaki Katonda aleka abaweereza be okufuna ebizibu, era nti asanyuka nnyo bwe basigala nga beesigwa.

Omusajja Omuyisirayiri afumiitiriza nga bw’apanga bbulooka. Kumpi awo waliwo Omumisiri akuba Abayisirayiri abalala embooko.

Abayisirayiri abaali abaddu mu Misiri okumala emyaka mingi baali basobola okuyiga ebyo ebikwata ku Yobu ne bibayamba (Laba akatundu 6)


7-8. Ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu biyinza bitya okuyamba abo aboolekagana n’ebizibu? Waayo ekyokulabirako.

7 Engeri gye tuganyulwa. Eky’ennaku, abantu bangi leero tebakyakkiririza mu Katonda kubanga tebategeera nsonga lwaki abantu abalungi bafuna ebizibu. Lowooza ku mwannyinaffe Hazelb abeera mu Rwanda. Bwe yali akyali muto, yali akkiririza mu Katonda. Naye yafuna ebizibu bingi. Bazadde be baagattululwa, era oluvannyuma maama we yafumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo yayisa bubi Hazel. Hazel bwe yali omutiini waliwo omusajja eyamusobyako. Bwe yagenda mu kkanisa ye ng’ayagala okubudaabudibwa, tewali yamubudaabuda. Oluvannyuma Hazel yawandiikira Katonda ebbaluwa. Mu bbaluwa eyo yagamba nti: “Katonda mbaddenga nkusaba era nga nfuba okukola ebirungi, naye onsasuddemu bibi. Ŋŋenda kukuvaako ntandike okukola buli kye mpulira nti kinandeetera essanyu.” Okufaananako Hazel, abantu bangi bayigiriziddwa ebintu eby’obulimba ku Katonda era balowooza nti y’aleeta ebizibu bye tufuna. Tuwulira bubi nnyo olw’okuba tebamanyi mazima gakwata ku Katonda era twagala okubayamba.

8 Ebyo bye tuyiga mu kitabo kya Yobu bituyamba okukitegeera nti Katonda si y’aleeta ebizibu, Sitaani y’abireeta! Ate era bituyamba okukimanya nti omuntu bw’afuna ebizibu, tetusaanidde kulowooza nti ateekwa okuba alina ekikyamu kye yakola. Bayibuli eraga nti “ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa” bisobola okutuuka ku muntu yenna ekiseera kyonna. (Mub. 9:11; Yob. 4:​1, 8) Ate era tuyize nti bwe tusigala nga tuli beesigwa nga twolekagana n’ebizibu, tuyambako mu kutukuza erinnya lya Yakuwa era tumuwa eky’okuddamu eri Sitaani. (Yob. 2:3; Nge. 27:11) Ebyo bye tuyize tubitwala nga bikulu kubanga bituyamba okumanya ensonga lwaki tufuna ebizibu. Oluvannyuma Hazel yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’akitegeera nti Katonda si ye yali amuleetera ebizibu. Agamba nti: “Nnaddamu okusaba Katonda okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwange. Nnabuulira Yakuwa nti bwe nnamugamba nti nnali ŋŋenda kumuvaako, nnali sikitegeeza. Nnayogera ebigambo ebyo kubanga nnali simanyi ekyo kyennyini Yakuwa kyali. Kati nkiraba nti Yakuwa anjagala nnyo. Ndi musanyufu era ndi mumativu.” Kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa si y’aleeta ebizibu! Kati ka tulabe engeri ebyo bye tusoma ku Yobu gye bisobola okutuyamba kinnoomu nga tufunye ebizibu.

ENGERI EBYO EBIRI MU KITABO KYA YOBU GYE BITUYAMBA OKUGUMIIKIRIZA

9. Nnyonnyola embeera Yobu gye yalimu ng’atudde mu vvu? (Yakobo 5:11)

9 Kuba akafaananyi ng’olaba Yobu atudde yekka mu vvu, omubiri gwe gwonna gujjudde amayute, era yeefunyizza olw’obulumi obw’amaanyi bw’alimu. Olususu lwe lulabika bubi nnyo era amagumba gamuli kungulu. Olw’obulumi bwe yalimu, yali takyalina maanyi gakola kintu kyonna. Yeeyaguzanga lujjo, era emirundi mingi yeemulugunyanga olw’obulumi bwe yalimu n’olw’engeri gye yali yeewuliramu. Naye Yobu teyabeera bubeezi awo ng’alinda lw’anaafa, wabula yeeyongera okugumiikiriza era n’asigala nga mwesigwa eri Yakuwa. (Soma Yakobo 5:11.) Kiki ekyayamba Yobu okugumiikiriza?

10. Kiki ekiraga nti Yobu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

10 Yobu yabuulira Yakuwa engeri gye yali yeewuliramu. (Yob. 10:​1, 2; 16:20) Ng’ekyokulabirako, mu ssuula 3 Yobu yeemulugunya nnyo olw’ebizibu ebyamutuukako n’atuuka n’okulowooza nti Yakuwa ye yali abireese. Oluvannyuma bwe yali anyumya ne mikwano gye abasatu, baamugamba nti Katonda yali amubonereza olw’ebibi bye yali akoze. Naye Yobu yabaddangamu nti ye mwesigwa eri Yakuwa. Ebigambo bya Yobu biraga nti waliwo ekiseera lwe yali yeetwala nti mutuukirivu okusinga Katonda. (Yob. 10:​1-3; 32:​1, 2; 35:​1, 2) Ne Yobu kennyini yagamba nti emirundi egimu ebigambo bye yakozesanga ng’agezaako okulaga nti mwesigwa eri Katonda, byabanga ‘tebiriimu nsa.’ (Yob. 6:​3, 26) Mu ssuula 31, Yobu yatuuka n’okugamba Katonda amwejjeereze. (Yob. 31:35) Kya lwatu, Yobu teyali mutuufu kubuuza Yakuwa nfunda na nfunda amubuulire ensonga lwaki yali abonaabona.

11. Biki Yakuwa bye yayogera ne Yobu?

11 Bwe tulowooza ku ebyo Yobu bye yayogera n’engeri gye yayogeramu ne Yakuwa, tukiraba nti yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era yali mukakafu nti ajja kumulamula mu bwenkanya. Oluvannyuma Yakuwa yayogera ne Yobu ng’asinziira mu mbuyaga. Naye teyamunnyonnyola nsonga lwaki yali abonaabona. Ate era teyamunenya olw’okwogera engeri gye yali yeewuliramu oba olw’okwewozaako ng’agamba nti tewali kikyamu kyonna kye yali akoze. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa yabuulirira Yobu nga taata bw’abuulirira mutabani we. Eyo ye yali engeri entuufu ey’okuyambamu Yobu. N’ekyavaamu, Yobu yayoleka obwetoowaze n’akikkiriza nti yali tamanyi bingi bizingirwamu era oluvannyuma yeenenya olw’okwogera nga tasoose kulowooza. (Yob. 31:6; 40:​4, 5; 42:​1-6) Ebyo ebyatuuka ku Yobu byali biyinza bitya okuyamba abaweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’edda, era naffe biyinza bitya okutuyamba leero?

12. Abayisirayiri bwe bandiyize ku ebyo ebyatuuka ku Yobu bandiganyuddwa batya?

12 Engeri Abayisirayiri gye bandiganyuddwa. Abayisirayiri bandibadde basobola okubaako bye bayigira ku ebyo ebyatuuka ku Yobu. Lowooza ku Musa. Bwe yali akulembera eggwanga lya Isirayiri, yayolekagana n’okusoomooza kungi era kwamumalangamu amaanyi. Obutafaananako Bayisiri abaali abajeemu abeemulugunyanga ku Yakuwa enfunda n’enfunda, Musa bwe yabangako n’ekimweraliikiriza, yakitegeezanga Yakuwa. (Kuv. 16:​6-8; Kubal. 11:​10-14; 14:​1-4, 11; 16:​41, 49; 17:5) Musa era yali yeetaaga okuba omugumiikiriza Yakuwa bwe yamuwabula. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baali e Kadesi kirabika mu mwaka ogwa 40 nga batambula mu ddungu, Musa yayogera “nga tasoose kulowooza,” bw’atyo n’atagulumiza Yakuwa. (Zab. 106:​32, 33) N’ekyavaamu, Yakuwa teyakkiriza Musa kuyingira mu Nsi Nsuubize. (Ma. 32:​50-52) Musa ateekwa okuba nga yawulira bubi olw’ekyo Yakuwa kye yali asazeewo, naye yayoleka obwetoowaze n’akikkiriza. Ebyo ebikwata ku Yobu byandiyambye Abayisirayiri ab’emirembe egyandizzeewo okugumiikiriza nga bafunye ebizibu. Abayisirayiri abeesigwa bwe bandifumiitirizza ku ebyo ebyatuuka ku Yobu kyandibayambye okuyiga okutegeeza Yakuwa engeri gye beewuliramu, n’okukijjukira nti si batuukirivu okusinga Yakuwa. Ate era kyandibayambye okuba abeetoowaze ne bakkiriza okukangavvulwa Yakuwa.

13. Ebyo ebikwata ku Yobu bituyamba bitya okugumiikiriza? (Abebbulaniya 10:36)

13 Engeri gye tuganyulwa. Leero Abakristaayo nabo beetaaga okugumiikiriza. (Soma Abebbulaniya 10:36.) Ng’ekyokulabirako, abamu ku ffe tuyinza okuba nga tuli balwadde, nga tuli bennyamivu, nga tulina ebizibu mu maka, nga tufiiriddwa abantu baffe, oba nga tulina ebizibu ebirala. Ate ebiseera ebimu, ebyo abalala bye boogera, oba bye bakola biyinza okukifuula ekizibu gye tuli okugumiikiriza. (Nge. 12:18) Wadde kiri kityo, ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu bituyigiriza engeri gye tusobola okweyabizaamu Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja kutuwulira. (1 Yok. 5:14) Tajja kutunenya singa oluusi bwe tuba tumusaba era nga tumubuulira ekyo ekituli ku mutima, twogera ebigambo “ebitaliimu nsa” nga bwe kyali eri Yobu. Mu kifo ky’ekyo, ajja kutuwa amaanyi n’amagezi bye twetaaga okugumiikiriza. (2 Byom. 16:9; Yak. 1:5) Ate era bwe kiba kyetaagisa, ajja kutuwabula nga bwe yakola eri Yobu. Ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu era bituyigiriza engeri gye tusaanidde okweyisaamu Yakuwa bw’atuwabula okuyitira mu Kigambo Kye, mu kibiina kye, oba mu Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo. (Beb. 12:​5-7) Yakuwa bwe yawabula Yobu, Yobu yayoleka obwetoowaze n’akkiriza ekyo Yakuwa kye yamugamba. Mu ngeri y’emu, naffe tuganyulwa bwe twoleka obwetoowaze ne tukkiriza Yakuwa okututereeza. (2 Kol. 13:11) Mazima ddala, waliwo bingi bye tuyigira ku Yobu! Kati ka twetegereze engeri gye tusobola okukozesa ebyo ebikwata ku Yobu okuyamba abalala.

KOZESA EBYO EBIRI MU KITABO KYA YOBU OKUYAMBA ABALALA

14. Emu ku ngeri gye tuyinza okunnyonnyolamu abantu ensonga lwaki waliwo okubonaabona y’eruwa?

14 Wali osanzeeko omuntu ng’obuulira n’akubuuza nti: Lwaki abantu babonaabona? Waddamu otya ekibuuzo ekyo? Oyinza okuba wamubuulira ekyo Bayibuli ky’eyogera ekyaliwo mu lusuku Edeni. Oboolyawo wasooka n’omunnyonnyola nti Sitaani, ekitonde eky’omwoyo, yalimbalimba omusajja n’omukazi abaasooka n’abaleetera okujeemera Katonda. (Lub. 3:​1-6) Oluvannyuma wamunnyonnyola nti olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeema, eyo ye nsonga lwaki abantu babonaabona era bafa. (Bar. 5:12) Oboolyawo wafundikira omugamba nti Katonda alese ekiseera okuyitawo okulaga nti ebyo Sitaani bye yayogera bya bulimba, era nti Katonda akozesa ekiseera kino okubunyisa amawulire amalungi nti ajja kuggyawo okubonaabona era nti abantu bajja kubeera balamu emirembe gyonna. (Kub. 21:​3, 4) Eyo yali ngeri nnungi gye wakozesa okuddamu ekibuuzo ekyo, era omuntu oyo ayinza okuba nga yakwatibwako nnyo.

15. Tuyinza tutya okukozesa ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu, okunnyonnyola abantu ensonga lwaki waliwo okubonaabona? (Laba n’ebifaananyi.)

15 Ka tulabe engeri endala gye tusobola okunnyonnyola abantu lwaki waliwo okubonaabona nga tukozesa ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu. Oyinza okutandika nga weebaza omuntu okubuuza ekibuuzo ekyo. Oluvannyuma oyinza okumugamba nti, Yobu omusajja omwesigwa eyafuna ebizibu eby’amaanyi, naye yeebuuzaako ekibuuzo kye kimu. Yatuuka nʼokulowooza nti Katonda ye yali amuleetera ebizibu. (Yob. 7:​17-21) Omuntu gw’oyogera naye kiyinza okumukwatako okukimanya nti okumala emyaka mingi abantu babaddenga baagala okumanya ensonga lwaki tubonaabona. Mu ngeri ey’amagezi oyinza okumunnyonnyola nti ebizibu Yobu bye yafuna Sitaani ye yabimuleetera, so si Katonda. Ekyo Sitaani yakikola kubanga yali ayagala okulaga nti abantu baweereza Katonda olw’okuba alina by’abawa. Era oyinza okumugamba nti, wadde nga Katonda si ye yaleeta ebizibu Yobu bye yafuna, bwe yamuleka okubifuna kyalaga nti Katonda mukakafu nti abantu basobola okusigala nga beesigwa gy’ali, ne bakiraga nti Sitaani mulimba. Ng’omaliriza osobola okumugamba nti Katonda yawa yobu emikisa olw’okusigala nga mwesigwa. N’olwekyo tusobola okubudaabuda abalala nga tubayamba okukitegeera nti Yakuwa si y’aleeta ebizibu.

Ebifaananyi: 1. Omukazi omunakuwavu akute ekifaananyi ky’aggye mu bintu ebisigaddewo ng’enju eyidde. 2. Oluvannyuma omukazi oyo agenze awali akagaali ke tugabirako ebitabo akali okumpi n’ekifo awali abo abayamba abakoseddwa akatyabaga. Awuliriza nga mwannyinaffe amusomera ekyawandiikibwa.

Oyinza otya okukozesa ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu okukakasa abalala nti Katonda si y’aleeta ebintu ebibi? (Laba akatundu 15)


16. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu gye bisobola okuyamba omuntu alina ebizibu.

16 Lowooza ku ngeri ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu gye byayambamu omusajja ayitibwa Mario. Lumu mu 2021, waliwo mwannyinaffe eyali abuulira ng’akozesa essimu. Essimu gye yasooka okukuba yagikubira Mario era yamulaga ekyawandiikibwa ekiri mu Yeremiya 29:​11,12, n’amunnyonnyola nti Katonda takoma ku kuwuliriza ssaala zaffe kyokka, naye era atusuubiza ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Mwannyinaffe bwe yabuuza Mario kye yali alowooza, yamugamba nti abadde anaatera okwetta era nti abadde awandiikira ab’omu maka ge akabaluwa akabasiibula. Mario yagamba nti: “Nzikiririza mu Katonda, naye ku makya kuno mbadde nneebuuza obanga ddala Katonda akyanfaako.” Mwanyinaffe bwe yaddamu okumukubira, baayogera ku bizibu Yobu bye yafuna. Mario yagamba nti yeetaaga okusoma ekitabo kya Yobu kyonna. Mwannyinaffe yamusindikira linki emutwala mu Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Biki ebyavaamu? Mario yakkiriza okuyiga Bayibuli era yasanyuka okukimanya nti Katonda amwagala nnyo era amufaako.

17. Lwaki kizzaamu amaanyi okuba nti Yakuwa yawandiisa ekitabo kya Yobu mu Bayibuli? (Yobu 34:12)

17 Awatali kubuusabuusa, Ekigambo kya Katonda kirina amaanyi okukyusa obulamu bwaffe. Ate era kisobola okubudaabuda abo ababonaabona. (Beb. 4:12) Kizzaamu amaanyi nti Yakuwa yawandiisa ebikwata ku Yobu mu Bayibuli! (Yob. 19:​23, 24) Bye tusoma mu kitabo ekyo bitukakasa nti “Katonda tayinza kukola bintu bibi.” (Soma Yobu 34:12.) Bituyamba okugumiikiriza nga tufunye ebizibu, n’okumanya ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo. Ate era bituyamba okubudaabuda abo abalina ebizibu. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okuyiga ku bintu ebirala ebiri mu kitabo kya Yobu, gamba ng’engeri gye tusobola okuwabulamu abalala.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Tuganyulwa tutya we tutegeera ensonga lwaki Katonda yaleka Yobu okufuna ebizibu?

  • Ebyo bye tusoma ku Yobu bituyamba bitya okugumiikiriza nga tufunye ebizibu?

  • Tuyinza tutya okukozesa ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu okuyamba abalala?

OLUYIMBA 156 Okukkiriza Kunfuula Muvumu

a Yobu yabeerawo oluvannyuma lw’okufa kwa Yusufu naye nga Yakuwa tannasindika Musa kununula Bayisirayiri kuva Misiri. N’olwekyo, emboozi eyaliwo wakati wa Yakuwa ne Sitaani, wamu n’ebizibu Yobu bye yafuna, biteekwa okuba nga byaliwo wakati w’omwaka gwa 1657 E.E.T. ne 1514 E.E.T.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share