Abakaddiye—Muli ba Muwendo Nnyo eri Ekibiina
“Nneewuunya nnyo bwe nfumiitiriza ku biseera eby’emabega era ne ndowooza ku bintu ebingi bye nnali nsobola okukola. Naye kati nkaddiye sikyasobola kukola ebyo bye nnakolanga.”—Connie, ow’emyaka 83.
Oboolyawo tokyasobola kukola bintu bingi nga bye wakolanga edda ng’okyalina amaanyi era nga tonnakaddiwa. Wadde ng’okimanyi nti obadde mwesigwa eri Yakuwa okumala emyaka mingi, bw’ogeraageranya ebyo bye wakolanga ng’oweereza Yakuwa mu biseera ebyayita, oyinza okukiraba nti kati okola kitono nnyo era ekyo kiyinza okukumalamu amaanyi. Bw’oba ng’owulira bw’otyo, kiki ekiyinza okukuyamba okuba omusanyufu?
EKYO YAKUWA KY’AKUSUUBIRAMU
Weebuuze, ‘Kiki Yakuwa ky’ansuubiramu?’ Fumiitiriza ku bigambo ebiri mu Ekyamateeka 6:5, awagamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna n’amaanyi go gonna.”
Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, Yakuwa akusuubira okumuweereza n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amaanyi go gonna. Ekyo bw’onookifumiitirizaako, kijja kukuyamba okwewala okwegeraageranya ku balala oba okugeraageranya ebyo by’osobola okukola kati n’ebyo bye wakolanga mu biseera eby’edda.
Lowooza ku kino: Bwe wali tonnakaddiwa, Yakuwa wali omuwa kyenkana wa? Abaweereza ba Yakuwa bangi bayinza okuddamu ekibuuzo ekyo nga bagamba nti baali bamuwa ekyo ekisingayo obulungi. Mu kiseera ekyo, Yakuwa wali omuwa ekyo ekisingayo obulungi okusinziira ku mbeera yo. Yakuwa osobola kumuwa kyenkana wa mu kiseera kino? Osobola okumuwa ekisingayo obulungi, kwe kugamba, ekyo ky’osobola okukola okusinziira ku mbeera yo bw’eri mu kiseera kino. Bw’onoobera n’endowooza ng’eyo, kijja kukuyamba okukiraba nti Yakuwa okyamuwa ekyo ekisingayo obulungi nga bwe wakolanga edda.
Bwe wali okyali muvubuka wawa Yakuwa ekisingayo obulungi, era okyamuwa ekisingayo obulungi wadde ng’okaddiye
OSOBOLA OKUBAAKO BY’OKOLA OKUYAMBA ABALALA
Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byo ku bintu by’otakyasobola kukola mu kiseera kino, lowooza ku bintu ebitali bimu by’osobola okukola okuyamba abalala. Mu kiseera kino ng’okaddiye, waliwo ebintu by’osobola okukola bye wali tosobola kukola ng’okyali muto. Lowooza ku bino wammanga:
Buulira abalala ku ebyo by’oyize mu bulamu bwo. Lowooza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera mu nnyiriri zino:
Kabaka Dawudi: “Nnali muto, naye kati nkaddiye, kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.”—Zab. 37:25.
Yoswa: “Kaakano nnaatera okufa, era mukimanyi bulungi nti tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza ekitatuukiridde. Byonna bituukiridde gye muli. Tewali na kimu kitatuukiridde.”—Yos. 23:14.
Dawudi ne Yoswa baali bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa era baalina bingi bye balabye mu bulamu bwabwe. Olw’okuba abaweereza ba Yakuwa abo baalina obumanyirivu, tewali kubuusabuusa nti kye baali boogerako baali bakitegeera bulungi era ekyo kyayamba abaali babawuliriza okwanguyirwa okukkiriza bye baayogera. Oboolyawo naawe wali oyogeddeko ebigambo ebifaananako bwe bityo. Naye kati olw’okuba olina bingi by’oyiseemu mu bulamu, bw’oyogera ebigambo ebifaananako bwe bityo, bikwata nnyo ku bakuwuliriza n’okusingawo.
Bw’oba omaze ebbanga ddene ng’oweereza Yakuwa, awatali kubuusabuusa olina bingi by’olabye era by’oyiseemu era osobola okubuulira abalala ku birungi ebiva mu kuweereza Yakuwa. Olinayo ekintu ky’ojjukira ekyakuyamba okulaba nti Yakuwa awa abaweereza be emikisa? Ekintu ekyo osobola okukibuulirako abalala! Ekyo kisobola okuzzaamu abalala amaanyi nga naawe bwe kyakuzzaamu amaanyi. Awatali kubuusabuusa abalala bwe banaawulira ku bintu ebirungi by’oyiseemu oba by’olabye ng’oweereza Yakuwa kijja kubazzaamu nnyo amaanyi.—Bar. 1:11, 12.
Engeri endala gy’osobola okuzzaamu abalala amaanyi kwe kufuba okubaawo mu nkuŋŋaana mu buntu, ng’embeera yo bw’eba ekusobozesezza. Ekyo kijja kukuzzaamu nnyo amaanyi era kijja kuzzaamu ne bakkiriza banno amaanyi. Connie, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Okubeerawo mu nkuŋŋaana kinnyamba obutaggwaamu maanyi. Bwe nzija mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka, bakkiriza bannange bandaga okwagala era ekyo kinnyamba okwewala okuba omunakuwavu. Nfuba okukiraga nti nsiima ebyo bakkiriza bannange bye bankolera nga mbawaayo obulabo obutonotono. Ate era nfuba okwenyigira mu bintu eby’omwoyo nga ndi wamu ne bakkiriza bannange.”
YAKUWA ASIIMA BYONNA BY’OKOLA OKUMUWEEREZA
Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako by’abantu Yakuwa be yali atwala nti ba muwendo nnyo wadde nga bo baali bawulira nti tebakyasobola kukola kimala mu buweereza bwabwe eri Yakuwa. Lowooza ku Simiyoni, Omuyisirayiri eyali akaddiye, eyaliwo mu kiseera Yesu we yazaalibwa. Simiyoni bwe yagendanga ku Yeekaalu ateekwa okuba yalabanga abavubuka abakola emirimu egyetaagisa ku Yeekaalu. Oboolyawo Simiyoni yalowooza nti olw’okuba akaddiye takyali wa muwendo eri Yakuwa olw’okuba yali takyasobola kuweereza Yakuwa ng’abavubuka abo bwe baali bakola. Naye Yakuwa bw’atyo si bwe yali amutwala. Yali amutwala nti ‘mutuukirivu era nti atya Katonda’ era yamuwa enkizo ey’okulaba Yesu ng’akyali muwere. Ate era Yakuwa yasobozesa Simiyoni okuwa obunnabbi obwali bulaga nti omwana oyo ye yali agenda okufuuka Masiya! (Luk. 2:25-35) Awatali kubuusabuusa Yakuwa yali atwala Simiyoni eyali akaddiye ng’omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi ‘era aliko omwoyo omutukuvu.’
Yakuwa yawa Simiyoni enkizo ey’okulaba ku Yesu nga muwere, n’okuwa obunnabbi obwali bulaga nti omwana oyo ye yandifuuse Masiya
Naawe beera mukakafu nti Yakuwa asiima kyonna ky’okola ng’omuweereza wadde ng’oyolekagana n’okusoomooza okujjawo olw’obukadde. Mu maaso ga Yakuwa, ssaddaaka ‘ekkirizibwa okusinziira ku ekyo ky’olina so si ky’otalina.’—2 Kol. 8:12.
Ng’olina ekyo mu birowoozo, essira lisse ku ebyo by’osobola okukola. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri ezimu ez’okubuulira z’osobola okwenyigiramu, ka kibe nti ekyo osobola okukikola okumala ekiseera kitono. Ate era osobola okuzzaamu bakkiriza banno amaanyi ng’obakubira essimu oba ng’obawandiikira bukaadi. Ebintu ebitonotono by’okola okulaga bakkiriza banno nti obaagala bisobola okubazzaamu amaanyi, naddala bwe kiba nti bikoleddwa omuntu nga ggwe, aweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi.
Abamu ku abo abakaddiye amaanyi gaabwe gagenze gakendeera. Soma ekyokulabirako okuva mu buvanjuba bwa Afirika mu kasanduuko akalina omutwe, “Kyawonyaawo Obulamu Bwe.”
Kijjukire nti ekyokulabirako ky’otaddewo eky’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa kisobola okuzzaamu abalala amaanyi. Otaddewo ekyokulabirako ekirungi mu kuba omugumiikiriza era beera mukakafu nti ‘Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwo n’okwagala kw’olaga erinnya lye, bwe waweereza abatukuvu era ng’okyeyongera okuweereza.’—Beb. 6:10.
WEEYONGERE OKUBA OMUNYIIKIVU
Okunoonyereza kulaga nti bangi ku abo abakaddiye ababaako bye bakola okuyamba abalala baba n’obulamu obulungi, balowooza bulungi era bawangaala.
Kya lwatu, okukolera abalala ebirungi tekiggyawo bizibu byonna ebijjawo olw’obukadde. Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bujja okuggirawo ddala ekyo ekituviirako okukaddiwa n’okufa, nga kye kibi kye twasikira.—Bar. 5:12.
Wadde kiri kityo, ebyo bye tukola nga tuweereza Yakuwa ebizingiramu okuyamba abalala okumanya ebimukwatako, era biyinza okutuyamba okuba n’obulamu obulungiko. Mmwe abakaddiye, mukimanye nti Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna bye mukola nga mumuweereza era ne bakkiriza bannammwe basiima nnyo ekyokulabirako ekirungi kye mutaddewo mu kwoleka okukkiriza.