EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Beera Mukakafu nti Yakuwa Asobola Okukununula
Soma Okubala 13:25–14:4 olabe engeri Abayisirayiri gye baalemererwa okwesiga Yakuwa.
Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Biki ebyandiyambye Abayisirayiri okubeera abakakafu nti Yakuwa yali asobola okubanunula? (Zab. 78:12-16, 43-53) Kiki ekyabaleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa? (Ma. 1:26-28) Yoswa ne Kalebu baakiraga batya nti baali beesiga Yakuwa?—Kubal. 14:6-9.
Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Biki ebyandiyambye Abayisirayiri okweyongera okwesiga Yakuwa? (Zab. 9:10; 22:4; 78:11) Kakwate ki akaliwo wakati w’okwesiga Yakuwa n’okumuwa ekitiibwa?—Kubal. 14:11.
Lowooza ku ebyo by’oyigamu. Weebuuze:
- ‘Mbeera ki eziyinza okukifuula ekizibu gye ndi okwesiga Yakuwa?’ 
- ‘Biki ebiyinza okunnyamba okweyongera okwesiga Yakuwa mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso?’ 
- ‘Ng’ekibonyoobonyo ekinene kigenda kisembera, nsaanidde kuba mukakafu ku ki?’—Luk. 21:25-28.