BEERA BULINDAALA!
Amadiini Okubaako Oludda lwe Gawagira mu Lutalo Oluli mu Ukraine—Bayibuli Ekyogerako Ki?
Lowooza ku bino wammanga abakulembeze b’eddini abatutumufu bye boogera ku lutalo oluli mu Ukraine:
“Omukulembeze w’eddiini y’Abasodokisi mu Russia, Patriarch Kirill, talina kyonna ky’ayogedde ku bulumbaganyi bwa Russia. . . . Eby’obulimba eddiini y’Abasodokisi by’eyogedde ku Ukraine, Putin abikozesezza okulaga nti yali mutuufu okulumba Ukraine.”—EUobserver, Maaki 7, 2022.
“Patriarch Kirill . . . awagidde ekya Russia okulumba Ukraine ng’agamba nti olutalo luno ngeri emu ey’okulwanyisa ekibi.”—AP News, Maaki 8, 2022.
“Omukulembeze w’eddiini y’Abasodokisi mu Ukraine, Metropolitan Epiphanius I ow’e Kyiv, ku Bbalaza yawa abantu be omukisa ‘balwanyise abasirikale ba Russia abaali babalumbye’ . . . Era yagamba nti si kibi okutta abasirikale ba Russia.”—Jerusalem Post, Maaki 16, 2022.
“Ffe abali mu mukago ogugatta enzikiriza oguyitibwa Ukrainian Council of Churches and Religious Organizations (UCCRO) tuwagira eggye lya Ukraine ne bonna abatulwanirira era tubasabira basobole okututaasa okuva ku mulabe waffe.”—Ebigambo bya UCCROa, Febwali 24, 2022.
Olowooza otya? Amadiini agagamba nti gagoberera Yesu Kristo gandikubiriza abagoberezi baago okwenyigira mu ntalo? Ekyo Bayibuli ekyogerako ki?
Ebyafaayo ebikwata ku madiini okwenyigira mu ntalo
Wadde ng’amadiini geefuula okuba nti gakolerera emirembe, ebyafaayo biraga nti gawagidde entalo era gagamba nti si kikyamu okuzeenyigiramu. Okumala emyaka mingi Abajulirwa ba Yakuwa bayanise obunnanfuusi obwo. Lowooza ku bitundu bino ebiri mu bitabo byaffe.
Ekitundu ekirina omutwe, “The Crusades—‘A Tragic Illusion’” kiraga engeri Eddiini y’Ekikatuliki gy’evunaanyizibwa olw’abantu abattibwa ekirindi mu linnya lya Katonda ne Kristo.
Ekitundu ekirina omutwe, “The Catholic Church in Africa” kiraga engeri eddiini gye yalemererwa okuziyiza entalo mu mawanga n’ekittabantu.
Ebitundu, “Is Religion to Blame?,” “Religion’s Role in Man’s Wars,” ne “Religion Takes Sides” binnyonnyola engeri abakulembeze b’eddiini y’Abakatuliki, Abasodokisi, n’Abapolesitanti gye bawagiddemu enjuyi ezirwanagana mu ntalo ennyingi ezibaddewo.
Amaddini g’Ekikristaayo Gandiwagidde Entalo?
Ekyo Yesu kye Yayigiriza: “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Matayo 22:39) “Mweyongere okwagala abalabe bammwe.”—Matayo 5:44-47.
Lowooza ku kino: Eddiini eyinza okugamba nti egoberera ekiragiro kya Yesu ekikwata ku kwagala ate nga mu kiseera kye kimu ekubiriza abagoberezi baayo okutta abalala mu ntalo? Okufuna eky’okuddamu, soma ekitundu, “True Christians and War” ne “Is It Possible to Love One’s Enemies?”
Ekyo Yesu kye yayogera: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa Obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, abantu bange bandirwanye ne siweebwayo.” (Yokaana 18:36) “Abo bonna abakwata ekitala balittibwa na kitala.”—Matayo 26:47-52.
Lowooza ku kino: Bwe kiba nti Abakristaayo tebakkirizibwa kulwana kutaasa Yesu, wandibaddewo ensonga yonna eyandibaleetedde okwenyigira mu ntalo? Soma ekitundu “Is War Compatible With Christianity?” okulaba engeri Abakristaayo mu biseera eby’edda gye bagobereramu ekyokulabirako kya Yesu awamu n’ebyo bye yayigiriza.
Kiki ekijja okutuuka ku madiini agenyigira mu ntalo?
Bayibuli eyigiriza nti Katonda yeesamba amadiini agagamba nti gakkiririza mu Yesu kyokka nga tegagoberera ebyo bye yayigiriza.—Matayo 7:21-23; Tito 1:16.
Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti, mu maaso ga Katonda amadiini ago gavunaanyizibwa olw’abo “bonna abattibwa ku nsi.” (Okubikkulirwa 18:21, 24) Okumanya ensonga lwaki kiri bwe kityo, soma ekitundu “What Is Babylon the Great?”
Yesu yakiraga nti amadiini gonna Katonda g’atasiima gajja kuzikirizibwa olw’ebikolwa byago ebibi, ng’omuti omubi ogubala ebibala ebibi bwe “gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.” (Matayo 7:15-20) Soma ekitundu “Enkomerero y’Eddiini ez’Obulimba Eri Kumpi!” okumanya ekyo bwe kinaabaawo.
Photo credits, left to right: Photo by Sefa Karacan/Anadolu Agency/Getty Images; Maxym Marusenko/NurPhoto via Getty Images
a Omukago oguyitibwa UCCRO, oba Ukrainian Council of Churches and Religious Organizations, gulimu enzikiriza ez’enjawulo 15 omuli Abasodokisi, Abayonaani, Abakatuliki, Abapoletesitanti, n’ebinja by’Abalokole awamu n’Abayudaaya n’Abasiramu.