LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 25
  • Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Bayibuli ky’egamba
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 25
Abantu abava mu mawanga ag’enjawulo

Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?

Bayibuli ky’egamba

Abantu si be bajja okuleetawo emirembe egya nnamaddala. Obwakabaka bwa Katonda, ng’eno gavumenti eri mu mikono gya Yesu Kristo, y’ejja okuleeta emirembe ku nsi. Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo.

  1. Katonda ajja ‘kumalawo entalo mu nsi yonna,’ bw’atyo atuukirize ekisuubizo eky’okuleeta ‘emirembe ku nsi mu bantu b’asiima.’—Zabbuli 46:9; Lukka 2:14.

  2. Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna nga businziira mu ggulu. (Danyeri 7:14) Bujja kumalawo mwoyo gwa ggwanga aviiriddeko obukuubagano obusinga obungi mu nsi.

  3. Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ayitibwa “Omukulu ow’Emirembe,” era ajja kukakasa nti emirembe tegiggwaawo ku nsi.—Isaaya 9:6, 7.

  4. Abantu abaagala entalo tebajja kukkirizibwa kubeera mu Bwakabaka bwa Katonda, kubanga Katonda “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 11:5; Engero 2:22.

  5. Katonda ayigiriza abantu be engeri gye bayinza okubeera mu mirembe. Bayibuli eyogera bw’eti ku ebyo ebiva mu buyigirize obwo: “Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi n’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, era tebaliyiga kulwana nate.”—Isaaya 2:3, 4.

Ne mu kiseera kino, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bayize okubeera mu mirembe ne bannaabwe. (Matayo 5:9) Wadde nga tuli ba mawanga ga njawulo era nga tubeera mu nsi ezisukka 230, tetukwata byakulwanyisa kulwana.

Abajulirwa ba Yakuwa bayize okuba mu mirembe ne bannaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share