Ddala Erinnya lya Katonda ye Yesu?
Bayibuli ky’egamba
Yesu yagamba nti “Mwana wa Katonda.” (Yokaana 10:36; 11:4) Yesu tagambangako nti ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.
Ate era Yesu yasabanga Katonda. (Matayo 26:39) Yesu bwe yali ayigiriza abagoberezi be okusaba, yabagamba basabe nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”—Matayo 6:9.
Yesu yajuliza ekyawandiikibwa ekirimu erinnya lya Katonda bwe yagamba nti: “Wulira ggwe Isirayiri, Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.”—Makko 12:29; Ekyamateeka 6:4.