LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 35
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Ssekukkulu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eyogera Ki ku Ssekukkulu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Ebyafaayo Ebikwata ku Ssekukkulu
  • Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ssekukkulu?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ssekukkulu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 35

Bayibuli Eyogera Ki ku Ssekukkulu?

Bayibuli ky’egamba

Bayibuli tetubuulira lunaku Yesu lwe yazaalibwa era tetulagira kukuza mazaalibwa ge. Ekitabo Cyclopedia ekyawandiikibwa McClintock ne Strong kigamba nti: “Katonda si ye yalagira abantu okukuza Ssekukkulu era Ssekukkulu terina w’eyogerwako mu Ndagaano Empya.”

Bwe twekenneenya ebyafaayo ebikwata ku Ssekukkulu tukiraba nti yasibuka mu bakaafiiri. Bayibuli eraga nti singa tusinza Katonda mu ngeri gy’atasiima, kimunyiiza.—Okuva 32:5-7.

Ebyafaayo Ebikwata ku Ssekukkulu

  1. Okukuza amazaalibwa ga Yesu: “Abakristaayo abaasooka tebaakuzanga mazaalibwa ga Yesu kubanga okukuza amazaalibwa g’omuntu yenna baali bakitwala ng’akalombolombo ak’ekikaafiiri.”—The World Book Encyclopedia.

  2. Ddesemba 25: Tewali bukakafu bulaga nti Yesu yazaalibwa ku lunaku olwo. Kirabika abakulembeze b’eddiini baalonda olunaku olwo nga baagala lukwatagane n’ebikujjuko eby’abakaafiiri ebyabangawo mu Ddesemba.

  3. Okugaba ebirabo, okulya ebijjulo, n’ebikujjuko: Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopedia Americana kigamba nti: ‘Ebintu bingi ebikolebwa ku Ssekukkulu byakolebwanga ku lunaku Abaruumi lwe baakuzanga oluyitibwa Saturnalia, olwabeerangawo wakati wa Ddesemba. Ng’ekyokulabirako, ku lunaku olwo abantu baalyanga ebijjulo, baagabiranga bannaabwe ebirabo, era baakoleezanga emisubbaawa.’Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba nti ku lunaku lwa Saturnalia “abantu tebaakolanga mulimu gwonna wadde bizineesi yonna.”

  4. Okutimba obutaala bwa Ssekukkulu: Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Encyclopedia of Religion, abantu b’omu Bulaaya bwe baabanga bakuza olunaku olusingayo okuba n’essaawa entono ez’obudde obw’emisana oba nga baagala okugoba emyoyo emibi, baatimbanga amayumba gaabwe “obutaala awamu n’amatabi g’emiti oba emiti egya buli kika.”

  5. Ekimera ekiyitibwa Mistletoe n’akati akayitibwa holly: ‘Edda, bakabona abamu mu nsi z’omu Bulaaya baagambanga nti ekimera ekiyitibwa mistletoe kisobola okukola ebyamagero. Ate akati akayitibwa holly kaasinzibwanga abantu abamu abaali bakatwala ng’akati akabawa essuubi ly’okudda kw’enjuba.”—The Encyclopedia Americana.

  6. Christmas tree (Obuti bwe batimba mu mayumba mu biseera bya ssekkukulu): “Okusinza emiti okwali kwettanirwa ennyo abakaafiiri ab’omu Bulaaya kwasigala kugenda mu maaso ne bwe baafuka Abakristaayo.” Ekimu ku bintu ebyaleetera okusinza emiti okugenda mu maaso ke kalombolombo akaakolebwanga mu kusinza emiti akakyakolebwa ne leero, ‘ak’okuteeka omuti oguyitibwa Yule (Christmas tree) mu miryango oba munda mu mayumba mu kiseera ky’ennaku enkulu ezibaawo mu kiseera ky’obutiti.’​—Encyclopædia Britannica.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share