LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 52
  • Obulamu Bulina Kigendererwa Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obulamu Bulina Kigendererwa Ki?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okututonda?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okunoonya Ekigendererwa Ekituufu mu Bulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Katonda Ye w’Omukwano Asingayo Obulungi gw’Oyinza Okufuna
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 52

Obulamu Bulina Kigendererwa Ki?

Bayibuli ky’egamba

Ekibuuzo ekikwata ku kigendererwa ky’obulamu kiyinza okubuuzibwa mu ngeri ezitali zimu, gamba nga, Lwaki twatondebwa? oba Obulamu bwange bulina ekigendererwa? Bayibuli eraga nti ekigendererwa ky’obulamu bwaffe kwe kufuba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Lowooza ku nsonga zino Bayibuli z’eyogerako.

  • Katonda ye Mutonzi waffe. Bayibuli egamba nti: “[Katonda] ye yatutonda, si ffe twetonda.”​—Zabbuli 100:3; Okubikkulirwa 4:11.

  • Katonda yalina ekigendererwa okutonda ebintu byonna nga mw’otwalidde naffe.​—Isaaya 45:18.

  • Katonda yatutonda nga tulina ‘obwetaavu obw’eby’omwoyo,’ era nga buno buzingiramu okumanya ekigendererwa ky’obulamu. (Matayo 5:3) Ayagala tukole ku bwetaavu obwo.​—Zabbuli 145:16.

  • Tukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo nga tufuba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Wadde nga bangi bayinza okulowooza nti tekisoboka kubeera mikwano gya Katonda, Bayibuli etukubiriza nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8; 2:23.

  • Okusobola okubeera mikwano gya Katonda, tulina okutuukana n’ekigendererwa kye eky’okututonda. Bayibuli etubuulira ekigendererwa ekyo mu Omubuulizi 12:13, awagamba nti: “Tyanga Katonda ow’amazima era okwatenga ebiragiro bye, kubanga ekyo omuntu ky’ateekeddwa okukola.”

  • Mu biseera eby’omu maaso tujja kutegeera mu bujjuvu ekigendererwa kya Katonda bw’anaggyawo okubonaabona, n’awa mikwano gye abamusinza obulamu obutaggwaawo.​—Zabbuli 37:10, 11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share