LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 54
  • Lwaki Abantu Bafa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Abantu Bafa?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibiuli ky’egamba
  • Kibi ki Adamu ne Kaawa Kye Baakola?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Lwaki Tufa?
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 54

Lwaki Abantu Bafa?

Bayibiuli ky’egamba

Kya bulijjo okwebuuza ensonga lwaki abantu bafa, naddala bwe tufiirwa omuntu gwe twagala ennyo. Bayibuli egamba nti: “Obulumi obuleeta okufa kye kibi.”​—1 Abakkolinso 15:56.

Lwaki abantu bonna boonoona era ne bafa?

Abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, baafa olw’okuba baayonoona mu maaso ga Katonda. (Olubereberye 3:17-19) Baalina okufa kubanga baajeemera Katonda ‘ensibuko y’obulamu.’​—Zabbuli 36:9; Olubereberye 2:17.

Bazzukulu ba Adamu bonna baasikira ekibi kye. Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Abantu bonna bafa kubanga bonna boonoonyi.​—Abaruumi 3:23.

Engeri okufa gye kujja okuggibwawo

Katonda yasuubiza nti ekiseera kijja kutuuka ‘amirire ddala okufa emirembe gyonna.’ (Isaaya 25:8) Okuggyawo okufa, alina kusooka kuggyawo ensibuko yaakwo, nga kye kibi. Kino Katonda ajja kukituukiriza ng’ayitira mu Yesu Kristo, “aggyawo ebibi by’ensi.”​—Yokaana 1:29; 1 Yokaana 1:7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share