Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Bakyusizzaamu ku Zimu ku Njigiriza Zaabwe?
Enjigiriza zaffe zonna zeesigamiziddwa ku Bayibuli. N’olwekyo, tukyusizzaamu ku zimu ku njigiriza zaffe bwe tweyongedde okutegeera Ebyawandiikibwa.a
Ekyo kituukana n’omusingi gwa Bayibuli oguli mu Engero 4:18 ogugamba nti: “Ekkubo ly’abatuukirivu liringa ekitangaala ekibaawo ng’obudde bwakakya ekigenda kyeyongerayongera okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.” Ng’ekitangaala ky’enjuba eba evaayo bwe kigenda nga kyeyongera empola empola, Katonda ayamba abantu be okweyongera okutegeera amazima agali mu Kigambo kye, mu kiseera ekituufu. (1 Peetero 1:10-12) Bayibuli egamba nti, okumanya kwandyeyongedde nnyo mu “kiseera eky’enkomerero.”—Danyeri 12:4.
Enkyukakyuka bwe zikolebwa mu zimu ku njigiriza zaaffe, ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa oba kututiisa. Abaweereza ba Katonda ab’edda nabo waliwo ebintu ebimu bye baasooka okutegeera obubi, era abamu baalinako ne ku ndowooza enkyamu nga beetaaga okutereeza endowooza zaabwe.
Musa yayagala okununula eggwanga lya Isirayiri mu bwangu, ekintu Yakuwa kye yali ateeseteese okukola emyaka 40 mu maaso, okuva mu kiseera Musa we yali ayagalira okukikola.—Ebikolwa 7:23-25, 30, 35.
Abatume baalemererwa okutegeera obunnabbi obwali bukwata ku kufa n’okuzuukira kwa Masiya.—Isaaya 53:8-12; Matayo 16:21-23.
Abamu ku Bakristaayo ab’edda baalina endowooza ekyamu ku kiseera “olunaku lwa Yakuwa” kye lwandijiddemu. —2 Abasessalonika 2:1, 2.
Oluvannyuma Katonda yatereeza endowooza yaabwe. Naffe tuli bakakafu nti ajja kweyongera okutuyamba.
a Tetukweka nkyukakyuka ze tuba tukoze mu ngeri gye tutegeeramu Bayibuli. Mu butuufu enkyukakyuka ezo tuzifulumya ne mu bitabo byaffe. Ng’ekyokulabirako, Laba ekitundu, “Beliefs Clarified” ekiri ku mu kutu gwaffe.