LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 123
  • Katonda Ali Buli Wamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Ali Buli Wamu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Oyinza Otya Okumanya Katonda?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Katonda Muntu wa Ddala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Yakuwa Katonda Wa Ngeri Ki?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 123
Obwengula obujjudde emmunyeenye

Katonda Ali Buli Wamu?

Bayibuli ky’egamba

Katonda asobola okulaba buli kimu, era asobola okubaako ky’akola buli wantu wonna. (Engero 15:3; Abebbulaniya 4:13) Kyokka Bayibuli teyigiriza nti Katonda ali buli wamu, kwe kugamba, nti ali buli wantu wonna, oba mu buli kintu kyonna. Mu kifo ky’ekyo, eraga nti Katonda wa ddala, era aliko ekifo w’abeera.

  • Enfaanana ya Katonda: Katonda mwoyo. (Yokaana 4:24) Ekyo kitegeeza nti abantu tebasobola kumulaba. (Yokaana 1:18) Okwolesebwa okukwata ku Katonda abaweereza be abamu kwe baafuna okwogerwako mu Bayibuli, kulaga nti Katonda aliko ekifo w’abeera. Tayogerwako ng’ali buli wamu.​—Isaaya 6:1, 2; Okubikkulirwa 4:2, 3, 8.

  • Ekifo Katonda w’abeera: Katonda alina ‘kifo ky’abeeramu mu ggulu’ abantu kye batasobola kulaba. (1 Bassekabaka 8:30) Bayibuli eyogera ku kiseera ebitonde eby’omwoyo lwe ‘byagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,’a ekiraga nti Katonda alina ekifo ky’abeeramu.​—Yobu 1:6.

Bwe kiba nti Katonda tabeera buli wamu, ddala anfaako?

Yee. Katonda afaayo nnyo ku buli muntu. Wadde nga Katonda abeera mu ggulu, alaba abo bonna abali ku nsi abafuba okukola ebimusanyusa, era abaako ky’akolawo okubayamba. (1 Bassekabaka 8:39; 2 Ebyomumirembe 16:9) Ka tulabe engeri Yakuwa gy’alagamu nti afaayo nnyo ku abo abamusinza:

  • Bw’osaba: Yakuwa asobola okuddamu essaala yo mu kiseera kyennyini w’oba omusabidde.​—2 Ebyomumirembe 18:31.

  • Ng’oli mwennyamivu: “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.”​—Zabbuli 34:18.

  • Nga weetaaga obulagirizi: Yakuwa ajja “kukuwa amagezi” ng’ayitira mu Kigambo kye Bayibuli.​—Zabbuli 32:8.

Endowooza enkyamu abantu gye balina ku wa Katonda gy’abeera

Endowooza enkyamu: Katonda abeera buli wamu mu bitonde bye.

Ekituufu: Katonda tabeera ku nsi oba awantu awalala wonna awalabika. (1 Bassekabaka 8:27) Kyo kituufu nti emmunyeenye n’ebitonde ebirala ‘birangirira ekitiibwa kya Katonda.’ (Zabbuli 19:1) Kyokka Katonda tabeera mu bitonde bye, ng’era omubumbi bw’atasobola kubeera mu kibumbe kye. Naye bwe tulaba ekibumbe, tusobola okubaako kye tuyiga ku oyo eyakibumba. Mu ngeri y’emu, ebintu bye tulabako Katonda bye yatonda bituyamba okumanya “engeri ze ezitalabika,” gamba ng’amaanyi ge, amagezi ge, n’okwagala kwe.​—Abaruumi 1:20.

Endowooza enkyamu: Katonda alina kubeera buli wamu okusobola okumanya ebintu byonna, n’okukozesa amaanyi ge mu bujjuvu.

Ekituufu: Omwoyo omutukuvu ge maanyi ga Katonda g’akozesa. Okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, Katonda asobola okumanya n’okukola ekintu kyonna, mu kifo kyonna, era mu kiseera kyonna, nga ye kennyini tali mu kifo ekyo.​—Zabbuli 139:7.

Endowooza enkyamu: Zabbuli 139:8 lulaga nti Katonda ali buli wamu, kubanga lugamba nti: “Singa nnali wa kulinnya mu ggulu, wandibaddeyo; ne bwe nnandyaze obuliri bwange emagombe, laba! eyo nayo wandibaddeyo.”

Ekituufu: Ekyawandiikibwa kino tekyogera ku kifo Katonda w’abeera, wabula kiraga nti tewali kifo kye tuyinza kubeeramu Katonda n’atasobola kutuyamba.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share