Ebiri mu Bayibuli Byakyusibwamuko?
Nedda. Bw’ogeraageranya Bayibuli gye tulina kati n’ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda, okizuula nti obubaka obuli mu Bayibuli tebukyukanga, wadde ng’okumala emyaka mingi ezze ekoppololwa ku bintu ebyonooneka amangu.
Ekyo kitegeeza nti abakoppolozi tebalina nsobi yonna gye baakola?
Ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda nkumi na nkumi byazuulibwa. Ebimu ku biri mu biwandiiko ebyo byawukanamuko, ekiraga nti abakoppolozi balina ensobi ze baakola. Naye enjawulo ezo ntono nnyo era tezikyusa makulu. Kyokka waliwo enjawulo ez’amaanyi entonotono ezaazuulibwa, era ng’ezimu ku zo zirabika baazikola mu bugenderevu mu biseera eby’edda, nga balina ekigendererwa eky’okukyusa obubaka obuli mu Bayibuli. Ka tulabe ebyokulabirako bibiri:
Enkyusa za Bayibuli ezimu ez’edda zirimu ebigambo bino mu 1 Yokaana 5:7: “Mu ggulu, Kitaffe, Kigambo, ne Mwoyo Mutukuvu: era abasatu abo bali omuntu omu.” Kyokka ebiwandiiko ebyesigika biraga nti ebigambo ebyo tebyalimu mu biwandiiko ebyasooka, byayongerwamu luvannyuma.a N’olwekyo enkyusa za Bayibuli ezeesigika ez’omu kiseera kino zaggyamu ebigambo ebyo.
Erinnya lya Katonda lirabika emirundi nkumi na nkumi mu biwandiiko bya Bayibuli eby’edda. Kyokka mu nkyusa za Bayibuli nnyingi, erinnya eryo lyaggibwamu, mu kifo kyalyo ne bateekawo ebitiibwa gamba nga “Mukama” oba “Katonda.”
Tukakasa tutya nti tewali nsobi ndala ez’amaanyi ezitannaba kuzuulibwa?
Waliwo ebiwandiiko bya Bayibuli bingi eby’edda ebizuuliddwa ne kiba nti kyangu nnyo okuzuula ensobi we ziri.b Ebiwandiiko ebyo bwe byageraageranyizibwa ne Bayibuli gye tulina leero, kyakakasibwa nti ebiri mu Bayibuli bituufu.
Bwe yali ayogera ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebitera okuyitibwa Endagaano Enkadde, omwekenneenya wa Bayibuli eyali ayitibwa William H. Green yagamba nti: “Tewali kiwandiiko eky’edda, ekikuumiddwa obulungi okusinga ‘Endagaano Enkadde.’”
Ng’ayogera ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, oba “Endagaano Empya,” omwekenneenya wa Bayibuli F. F. Bruce yagamba nti: “Waliwo obukakafu bungi obulaga nti ebiri mu Ndagaano Empya byesigika okusinga ebiri mu biwandiiko by’abawandiisi bangi ab’edda. Kyokka tewali n’omu awakanya ebyo ebiri mu biwandiiko by’abawandiisi abo.”
Sir Frederic Kenyon amanyiddwa ennyo ng’eyali omukugu ku bikwata ku biwandiiko bya Bayibuli yagamba nti: “Omuntu asobola okukwata Bayibuli mu mukono gwe n’ayogera nga taliimu kubuusabuusa kwonna nti alina Ekigambo kya Katonda eky’amazima, ekibaddewo okumala emyaka mingi era nga tekiriimu bintu bya maanyi ebyakyusibwa.”
Biki ebirala bye tusinziirako okukakasa nti obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyusibwa?
Abakoppolozi bonna abaakoppolola Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani baalekamu n’ebibi abantu ba Katonda bye baakola.c (Okubala 20:12; 2 Samwiri 11:2-4; Abaggalatiya 2:11-14) Ate era baalekamu n’ebyawandiikibwa ebyogera ku kunenyezebwa kw’Abayisirayiri olw’obujeemu bwabwe, era ebyayanika obulombolombo bw’abantu obukyamu. (Koseya 4:2; Malaki 2:8, 9; Matayo 23:8, 9; 1 Yokaana 5:21) Mu kukoppolola ebintu ebyo nga bwe byali, kyalaga nti abakoppolozi abo baali beesigika, era baali bassa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda.
Katonda eyaluŋŋamya abo abaawandiika Bayibuli, yali tasobola kugikuuma n’etakyusibwa?d (Isaaya 40:8; 1 Peetero 1:24, 25) Ekyo yali akisobolera ddala kubanga teyawandiisa Bayibuli kuganyula bantu ab’edda bokka, wabula naffe abaliwo leero. (1 Abakkolinso 10:11) Mu butuufu, “byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”—Abaruumi 15:4.
Yesu n’abagoberezi be baajulizanga Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya era tebaabangamu kubuusabuusa kwonna nti Ebyawandiikibwa ebyo bituufu.—Lukka 4:16-21; Ebikolwa 17:1-3.
a Ebigambo ebyo tebisangibwa mu Codex Sinaiticus, mu Codex Alexandrinus, mu Vatican Manuscript 1209, mu Latin Vulgate eyasooka, mu Philoxenian-Harclean Syriac Version, oba mu Syriac Peshitta.
b Ng’ekyokulabirako, ebiwandiiko eby’Oluyonaani ebisukka mu 5,000 eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebitera okuyitibwa Endagaano Empya, byazuulibwa.
c Bayibuli tegamba nti abaweereza ba Katonda tebakola nsobi, wabula egamba nti: “Teri muntu atayonoona.”—1 Bassekabaka 8:46.
d Wadde ng’abantu abawandiika Bayibuli Katonda teyababuuliranga butereevu buli kigambo kye baawandiika, Bayibuli eraga nti Katonda ye yabaluŋŋamya.—2 Timoseewo 3:16, 17; 2 Peetero 1:21.