LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 136
  • Ddala Maliyamu Maama wa Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Maliyamu Maama wa Katonda?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • “Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yagumira Ennaku ey’Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Yafumiitiriza mu Mutima Gwe”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Maliyamu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 136
Maliyamu ng’asitudde Yesu omuto

Ddala Maliyamu Maama wa Katonda?

Bayibuli ky’egamba

Nedda, Bayibuli teyigiriza nti Maliyamu maama wa Katonda, era teragira Bakristaayo kusinza Maliyamua oba kumugulumiza. Lowooza ku bino:

  • Maliyamu teyagambako nti yali maama wa Katonda. Bayibuli eraga nti Maliyamu yazaala ‘Mwana wa Katonda,’ so si Katonda kennyini.—Makko 1:1; Lukka 1:32.

  • Yesu Kristo teyagambako nti Maliyamu yali maama wa Katonda oba nti asaanidde okusinzibwa. Mu butuufu omukazi omu bwe yagamba Yesu nti: “Alina essanyu omukazi eyakuzaala era eyakuyonsa,” Yesu yamuddamu nti: “Nedda, abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”—Lukka 11:27, 28.

  • Ebigambo “Maama wa Katonda” ne “Theotokos” (Eyasitula Katonda) tebisangibwa mu Bayibuli.

  • “Nnaabakyala w’Eggulu” ayogerwako mu Bayibuli si ye Maliyamu, wabula yali katonda ow’obulimba Abayisirayiri abajeemu gwe baali basinza. (Yeremiya 44:15-19) “Nnaabakyala w’Eggulu” oyo ayinza okuba nga yali katonda omukazi ow’Abababulooni ayitibwa Ishtar (Astarte).

  • Abakristaayo abaasooka tebaasinza Maliyamu, era tebaamuwa kitiibwa kya njawulo. Mu kitabo ekiyitibwa In Quest of the Jewish Mary, munnabyafaayo omu yagamba nti Abakristaayo abaasooka “beewalanga nnyo okusinza okw’obulimba era bayinza okuba nga baatya okuwa Maliyamu ekitiibwa eky’enjawulo olw’okuba kyandireetedde abantu okulowooza nti bamusinza.”

  • Bayibuli egamba nti Katonda abaddewo emirembe n’emirembe. (Zabbuli 90:1, 2; Isaaya 40:28) Olw’okuba Katonda talina ntandikwa, tasobola kuba ng’alina nnyina. Ate era, Maliyamu yali tayinza kusitula Katonda mu lubuto lwe, kubanga Bayibuli eraga nti n’eggulu Katonda taligyaamu.—1 Bassekabaka 8:27.

Maliyamu Maama wa Yesu, so si “Maama wa Katonda”

Maliyamu yali Muyudaaya, era yali ava mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Lukka 3:23-31) Katonda yamusiima olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi. (Lukka 1:28) Era eyo ye nsonga lwaki yamulonda okuba maama wa Yesu. (Lukka 1:31, 35) Maliyamu yazaala abaana abalala mu mwami we Yusufu.—Makko 6:3.

Wadde nga Bayibuli eraga nti Maliyamu yafuuka Omuyigirizwa wa Yesu, terina bingi by’emwogerako.—Ebikolwa 1:14.

Lwaki abamu balowooza nti Maliyamu maama wa Katonda?

Abantu baatandika okusinza Maliyamu ng’ekyasa eky’okuna kinaatera okuggwaako. Mu kiseera ekyo, Obukatuliki bwafuuka eddiini enkulu mu ttwale lya Rooma. N’ekyavaamu, abantu bangi abaali abakaafiiri baatandika okweyita Abakristaayo. Ate era Ekkereziya yali etandise okuyigiriza enjigiriza ya Tiriniti etali mu Byawandiikibwa.

Enjigiriza ya Tiriniti yaleetera abantu bangi okukkiriza nti bwe kiba nti Yesu ye Katonda, kitegeeza nti Maliyamu maama wa Katonda. Mu mwaka gwa 431 E.E., olukiiko lwa Ekkereziya olwali mu Efeso lwalangirira nti Maliyamu “Maama wa Katonda.” Oluvannyuma lw’olukiiko olwo, okusinza Maliyamu kweyongera. Abakaafiiri bwe beeyongera okuyingira Obukatuliki, ebifaananyi bya Maliyamu byatandika mpolampola okukozesebwa mu kifo ky’ebya bakatonda baabwe ab’enzaalo, gamba nga Atemi (Abaruumi gwe baayitanga Diana), ne Isis.

Mu 432 E.E., Ppaapa Sixtus III yalagira nti kkereziya ezimbirwe “Maama wa Katonda” mu Rooma. Kkereziya eyo yazimbibwa okumpi n’awaali yeekaalu ya katonda w’Abaruumi ow’enzaalo ayitibwa Lucina. Omuwandiisi w’ekitabo ekiyitibwa Mary—The Complete Resource yagamba nti, ‘kkereziya eyo bukakafu obulaga nti Obukatuliki bwazza okusinza Maliyamu mu kifo kya katonda ow’obulimba ayitibwa Lucina.’

a Amadiini agatali gamu gayigiriza nti Maliyamu maama wa Katonda. Oluusi gamuyita “Nnaabakyala w’Eggulu” oba Theotokos, ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza oyo “Eyasitula Katonda.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share