Endnote
^ [1] (akatundu 14) Ebyatuuka ku Bayudaaya nga bali mu buwambe e Babulooni n’ebyo ebyatuuka ku Bakristaayo oluvannyuma lw’obwakyewaggula okutandikawo bifaanagana. Kyokka, tetusobola kugamba nti okutwalibwa kw’Abayudaaya mu buwambe kwali kusonga ku ebyo ebyandituuse ku Bakristaayo ng’obwakyewaggula bubaluseewo. N’olwekyo tetusaanidde kulowooza nti buli kimu ekyatuuka ku Bayudaaya nga bali mu buwambe kirina kye kyali kiraga ekyandituuse ku Bakristaayo. Ebimu ku byaliwo byawukana. Ng’ekyokulabirako, Abayudaaya baamala emyaka 70 mu buwambe, ate bo Abakristaayo baamala ebyasa ebiwerako nga bali mu buwambe.