Footnote
a Okuba nti obulamu bw’omukazi ali olubuto oba obw’omwana ali mu lubuto buli mu kabi tekiwa muntu bbeetu kuggyamu lubuto. Abasawo bwe bakikakasa nti mu kiseera eky’okuzaala, maama oba omwana ajja kufa, omukazi oyo n’omwami we be balina okusalawo bulamu bw’ani obw’okutaasa. Kyokka olw’okuba wabaddewo enkulaakulana mu by’obujjanjabi, embeera ng’eyo tetera kubaawo.