Footnote
a Kiteeberezebwa nti Samaliya, ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi, kyalimu abantu nga 20,000 oba 30,000 mu kiseera kya Yona. Mu kiseera Nineeve we kyakulaakulanira ennyo, kiyinza okuba nga kye kibuga ekyali kisinga obunene mu nsi yonna.