Footnote
a Abayudaaya kabaka yabakkiriza era bakozese n’olunaku olwaddako bafufuggalize ddala abalabe baabwe. (Es. 9:12-14) N’okutuusa kati, buli mwaka mu mwezi gwa Adali, oba awo Febwali ng’aggwako oba Maaki ng’atandika, Abayudaaya bajjukira obuwanguzi obwo. Embaga ey’okujjukira obuwanguzi obwo eyitibwa Pulimu, olw’akalulu akayitibwa Puli Kamani ke yakuba ng’akola olukwe lw’okusaanyaawo Abaisiraeri.