Footnote
a Abayudaaya abasinga obungi abaali mu buwaŋŋanguse baabeeranga wamu mu byalo ebyali byesudde akabanga okuva mu kibuga Babulooni. Ng’ekyokulabirako, Ezeekyeri yali abeera wamu n’Abayudaaya abaali babeera okumpi n’Omugga Kebali. (Ezk. 3:15) Kyokka waaliwo n’Abayudaaya abatonotono abaali babeera mu kibuga. Mu abo mwe mwali “ab’olulyo olulangira n’abaana b’abakungu.”—Dan. 1:3, 6; 2 Bassek. 24:15.