Footnote
a Oluvannyuma lw’okufa kwa C. T. Russell, ekitabo ekyayitibwa omuzingo ogw’omusanvu ogwa Studies in the Scriptures kyawandiikibwa okugezaako okunnyonnyola ebitabo bya Ezeekyeri n’Okubikkulirwa. Omuzingo guno gwali gwesigamiziddwa ku bintu ebimu Russell bye yali ayogedde ku bitabo bya Baibuli ebyo. Kyokka, ekiseera eky’okubikkula amakulu g’obunnabbi obwo kyali tekinnatuuka, era okutwalira awamu, ennyinnyonnyola eyali mu muzingo gwa Studies in the Scriptures yali tetegeerekeka bulungi. Mu myaka egyaddirira, ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira n’ebibaddewo mu nsi bisobozesezza Abakristaayo okutegeera amakulu g’ebitabo ebyo eby’obunnabbi mu ngeri entuufu.