Footnote
a Ng’ayogera ku bigambo bya Pawulo nti ‘okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa,’ omwekenneenya wa Baibuli, Gordon D. Fee awandiika nti: “Mu ebyo Pawulo bye yayigiriza, [obugumiikiriza n’ekisa] bikiikirira engeri bbiri Katonda zaalaga eri abantu (cf. Bar. 2:4). Ku luuyi olumu, obugumiikiriza bwa Katonda bulagibwa mu kuziyiza obusungu bwe eri abantu abeewaggudde. Ku luuyi olulala ekisa kye kirabibwa mu bikolwa bye eby’obusaasizi. Bwe kityo, ng’ayogera ku kwagala, Pawulo atandika n’engeri za Katonda bbiri. Era alaga nti okuyitira mu Kristo, Katonda yeeraze okuba omugumiikiriza era ow’ekisa eri abo abagwanira okusalirwa omusango.”