Footnote
a Mu Byawandiikibwa, ekigambo “obukyayi” kirina amakulu agatali gamu. Mu bimu kitegeeza okuba n’okwagala okutono eri ekintu. (Ekyamateeka 21:15, 16) “Obukyayi” kiyinza okutegeeza okwetamwa ekintu, naye ng’omuntu talina kigendererwa kya kukikolako kabi, wabula ng’akyewala bwewazi olw’okuba takyagala. Kyokka, ekigambo “obukyayi” era kiyinza okutegeeza empalana ey’amaanyi, ng’era omuntu bw’agenda mu maaso n’empalana eyo, atera okwoleka ebikolwa eby’obukambwe. Gano ge makulu g’ekigambo ekigenda okwogerwako mu kitundu kino.