Footnote
a Okufaananako essaala ya Mukama waffe, essaala y’Abayudaaya eyo nayo eyogera ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda. Waliwo obutakkiriziganya obanga essaala y’Abayudaaya eyo yatandikibwawo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi oba nga tannajja, naye tekitwewuunyisa nti essaala ezo zombi zirina bye zifaanaganya. Yesu bwe yayigiriza essaala eyitibwa eya Mukama waffe, teyalina kigendererwa kya kutandikawo kintu kipya. Byonna ebiri mu ssaala eyo byesigamye ku Byawandiikibwa Abayudaaya bye baalina mu kiseera ekyo. Yesu yali akubiriza Bayudaaya banne okusaba ebintu bye bayinza okuba nga baali basaba nga tannaba na kujja ku nsi.