Footnote
a Amadiini agamu galina obulombolombo obugamba nti kikyamu okwatula erinnya lya Katonda wadde ng’osaba. Kyokka, erinnya lya Katonda lisangibwa mu Baibuli emirundi nga 7,000 mu nnimi mwe yasooka okuwandiikibwa, ng’emirundi egisinga lisangibwa mu zabbuli ne mu kusaba kw’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.