Footnote
b Wadde ng’obwakabaka bwa Bungereza n’eggwanga ly’Amerika bibaddewo okuviira ddala mu kyasa ekya 18, okwolesebwa Yokaana kwe yafuna kwalaga nti Bungereza n’Amerika zandifuuse obufuzi kirimaanyi ku ntandikwa y’olunaku lwa Mukama waffe. Ebintu Yokaana bye yalaba mu kwolesebwa okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa byali bya kutuukirira mu “lunaku lwa Mukama waffe.” (Kub. 1:10) Bungereza n’Amerika zaafuuka obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu mu kiseera kya Ssematalo I.