LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS

Footnote

a Bwe kiba nti bapayoniya abapya tebaweza muwendo guba gwetaagibwa, bapayoniya abamu abatabaddeeko mu ssomero lino mu myaka etaano egiyise, basobola okuddamu okuyitibwa.

Essomero ly’Abakadde

Ekigendererwa: Okuyamba abakadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu kibiina n’okwongera okuba abanywevu mu by’omwoyo.

Ebbanga Lye Limala: Ennaku ttaano.

Ekifo: Ofiisi y’ettabi y’esalawo; litera kuba ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba ku Kizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene.

Ebisaanyizo: Balina kuba bakadde mu kibiina.

Okulibaamu: Ofiisi y’ettabi y’eyita abakadde abanaalibaamu.

Bino bye bimu ku ebyo abo abaali mu ssomero ery’omulundi ogwa 92 eryali mu Amerika bye baayogera:

“Essomero lino linnyambye nnyo okwekebera n’okulaba engeri gye nnyinza okulabirira endiga za Yakuwa.”

“Kati nsobola bulungi okuzzaamu abalala amaanyi nga nkozesa Ebyawandiikibwa.”

“Bye njize nja kubikozesa obulamu bwange bwonna.”

Essomero ly’Abalabirizi Abakyalira Ebibiina ne Bakyala Baabwe

Ekigendererwa: Okutendeka abalabirizi b’ebitundu n’abalabirizi ba disitulikiti okuyamba ebibiina.​—1 Tim. 5:17; 1 Peet. 5:2, 3.

Ebbanga Lye Limala: Emyezi ebiri.

Ekifo: Ofiisi y’ettabi y’esalawo.

Ebisaanyizo: Balina okuba nga balabirizi ba bitundu oba balabirizi ba disitulikiti.

Okulibaamu: Ofiisi y’ettabi y’eyita abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe.

“Tweyongera okukiraba nti Yesu y’akulembera ekibiina. Twakiraba nti kikulu nnyo okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okuyamba ebibiina okuba obumu. Essomero lino lyatuyamba okukiraba nti wadde ng’abalabirizi abakyalira ebibiina balina okuwa ab’oluganda amagezi n’okubawabula, ekigendererwa kyabwe ekikulu kwe kuyamba ab’oluganda okukimanya nti Yakuwa abaagala nnyo.”​—Joel, eyali mu ssomero ery’omulundi ogusooka mu 1999.

Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina

Ekigendererwa: Okutendeka abakadde n’abaweereza abali obwannamunigina basobole okwetikka obuvunaanyizibwa obusingako mu kibiina. Ab’oluganda bangi abava mu ssomero eryo bajja kusindikibwanga okuweereza awali obwetaavu mu nsi yaabwe. Abalala bayinza okusindikibwa okuweereza mu nsi endala bwe baba nga beetegefu okugenda. Ate abamu bayinza okusindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera mu bitundu ebyesudde.

Ebbanga Lye Limala: Emyezi ebbiri.

Ekifo: Ofiisi y’ettabi y’esalawo; litera okuba ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba ku Kizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene.

Ebisaanyizo: Ab’oluganda abali obwannamunigina abali wakati w’emyaka 23 ne 62, nga balamu bulungi, era nga baagala okuweereza awali obwetaavu obusingako. (Mak. 10:29, 30) Balina okuba nga bamaze waakiri emyaka ebiri nga baweereza nga bapayoniya aba bulijjo era nga bamaze emyaka waakiri ebiri egy’omuddiriŋŋanwa nga baweereza ng’abakadde oba abaweereza.

Okulibaamu: Olukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okuligendamu lubeerawo ku lukuŋŋaana lw’ekitundu.

Ow’oluganda Rick, eyali mu ssomero ery’omulundi ogwa 23 eryali mu Amerika, agamba nti: “Essomero lino lyannyamba okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Yakuwa bw’akuwa obuvunaanyizibwa, akuyamba okubutuukiriza. Lyannyamba okukiraba nti singa nkulembeza Katonda by’ayagala, ajja kunnyamba.”

Ow’oluganda Andreas, abeera mu Bugirimaani, agamba nti: “Nnakiraba nti ekibiina kya Katonda kiddukanyizibwa mu ngeri ya kyamagero. Bye nnayiga byannyamba okweteekateeka okwettika obuvunaanyizibwa obusingawo. Ate era, ebyokulabirako bingi okuva mu Bayibuli byannyamba okukiraba nti okuweereza Yakuwa ne baganda bange kivaamu essanyu erya nnamaddala.”

Essomero ly’Abakristaayo Abafumbo

Ekigendererwa: Okutendeka Abakristaayo abafumbo basobole okukozesebwa mu bujjuvu mu kibiina kya Yakuwa. Bangi abava mu ssomero eryo bajja kuweerezebwanga awali obwetaavu mu nsi yaabwe. Abamu bayinza okusindikibwa mu nsi endala bwe baba nga beetegefu okugenda. Ate abalala bayinza okusindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera mu bitundu ebyesudde.

Ebbanga Lye Limala: Emyezi ebiri.

Ekifo: Essomero lino lyatandika dda mu Amerika, era okuva mu Ssebutemba 2012, lijja kutandika okufunibwa ne mu matabi amalala aganaaba galondeddwa okwetooloola ensi. Lijja kubanga mu Bizimbe by’Obwakabaka oba mu Bizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene.

Ebisaanyizo: Abafumbo abali wakati w’emyaka 25 ne 50, nga balamu bulungi, nga basobola okuweereza awali obwetaavu, era nga balina omwoyo ng’ogwa Isaaya eyagamba nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.” (Is. 6:8) Ate era, balina okuba nga bamaze waakiri emyaka ebiri nga bafumbo era nga kati baakamala waakiri emyaka ebiri egy’omuddiriŋŋanwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Omwami alina okuba ng’amaze waakiri emyaka ebiri egy’omuddiriŋŋanwa ng’aweereza ng’omukadde oba omuweereza.

Okulibaamu: Olukuŋŋaana olw’abo abaagala okugenda mu ssomero eryo lujja kubangawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Singa olukuŋŋaana olwo terubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti naye ng’oyagala okugenda mu ssomero eryo, osobola okuwandiikira ofiisi y’ettabi okumanya ebisingawo.

“Abakristaayo abafumbo abaagala okugaziya ku buweereza bwabwe baganyulwa nnyo mu wiiki omunaana ze bamala nga batendekebwa! Tuli bamalirivu okuba n’eriiso eriraba awamu, ekyo kitusobozese okukozesa obulungi ebiseera byaffe.”​​—Eric ne Corina (wansi), abaali mu ssomero ery’omulundi ogusooka mu 2011.

Essomero lya Gireyaadi

Ekigendererwa: Litendeka ab’oluganda okuweereza ng’abaminsani mu bitundu ebirimu abantu abangi, okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina, oba okuweereza ku Beseri. Litendeka ab’oluganda okuyamba mu mulimu gw’okubuulira ne mu mirimu egikolebwa ku ofiisi z’amatabi.

Ebbanga: Emyezi ettaano.

Ekifo: Liba ku Watchtower Educational Center, e Patterson, mu New York, Amerika.

Ebisaanyizo: Balina okuba nga bafumbo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo, kwe kugamba, abaminsani abatagendangako mu ssomero lino, bapayoniya ab’enjawulo, abalabirizi abakyalira ebibiina, oba Ababeseri. Balina okuba nga bamaze waakiri emyaka esatu egy’omuddiriŋŋanwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Balina okuba nga basobola bulungi okwogera, okusoma, n’okuwandiika Olungereza.

Okulibaamu: Akakiiko k’ettabi ke kaweereza abafumbo foomu ez’okusaba okugenda mu ssomero lino.

Lade ne Monique okuva mu Amerika kati baweereza mu Afirika. Lade agamba, “Essomero lino lyatuyamba okuba abeetegefu okugenda yonna gye tuba tusindikiddwa okukolera awamu ne baganda baffe.”

Monique agamba, “Bwe  nfuba okukolera ku ebyo bye nnayiga okuva mu Bayibuli, nneeyongera okufuna essanyu mu buweereza bwange. Ekyo kye kimu ku bintu ebiraga nti Yakuwa anjagala nnyo.”

Essomero ly’Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi ne Bakyala Baabwe

Ekigendererwa: Okuyamba abo abali ku Bukiiko bw’Amatabi okusobola okulabirira obulungi amaka ga Beseri n’emirimu gy’Obwakabaka gyonna egikolebwa mu kitundu ky’ettabi lyabwe. Era bayiga ebikwata ku mulimu gw’okuvvuunula ebitabo, okubikuba mu kyapa, n’okubituusa mu bibiina.

Ebbanga Lye Limala: Emyezi ebiri.

Ekifo: Liba ku Watchtower Educational Center, e Patterson, mu New York, Amerika.

Ebisaanyizo: Abo abali ku Kakiiko k’Ettabi oba ku Kakiiko k’Ensi oba abo ababa baakalondebwa okuweereza ku bukiiko obwo.

Okulibaamu: Akakiiko Akafuzi ke kayita ab’oluganda abalibaamu ne bakyala baabwe.

Lowell ne Cara abaali mu ssomero ery’omulundi ogwa 25 kati baweereza mu Nigeria. Lowell agamba nti: “Nnakiraba nti ne bwe mba n’eby’okukola bingi, oba ka mbe nga mpeereddwa mulimu ki, okusobola okusanyusa Yakuwa, nteekwa okukola ebintu byonna nga bw’ayagala. Twayiga nti kikulu nnyo okukoppa engeri Yakuwa gy’ayolekamu okwagala kwe eri abaweereza be.”

Cara agamba nti: “Ekimu ku bintu bye nnayiga mu ssomero eryo kiri nti: Bwe mba sisobola kunnyonnyola kintu mu ngeri ennyangu, kiba kiraga nti neetaaga okwongera okukitegeera obulungi nga sinnaba kukiyigiriza balala.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share