Footnote
c Embaga ey’Okuyitako bwe yaggwanga, olunaku olwaddangako (Nisaani 15) lwe lwabanga olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Olunaku olusooka olw’embaga eyo, yabanga ssabbiiti. Mu mwaka gwa 33 E.E., olunaku olwa Nisani 15 lwagwa ku lunaku lwa Ssabbiiti eya buli wiiki (Olwomukaaga). Olw’okuba Ssabbiiti ezo zombi zaaliwo ku lunaku lwe lumu, olunaku olwo lwayitibwa Ssabbiiti ‘enkulu.’—Soma Yokaana 19:31, 42.