Footnote
d Okunoonyereza kulaga nti abantu bwe balekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala kitera okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Muno mwe muli obwenzi, okulya ebisiyaga, oba okwegatta n’ab’eŋŋanda. Empisa z’abaana zitera okwonooneka, batandika okukola obubi ku masomero, bennyamira, era oluusi basalawo n’okwetta.