Footnote
g Mu bunnabbi bwe obukwata ku kiseera eky’enkomerero, Yesu yagamba nti: “Yerusaalemi [ekibuga ekyali kikiikirira obufuzi bwa Katonda] kiririnnyirirwa amawanga, okutuusa ebiseera ebigereke eby’amawanga lwe biriggwaako.” (Lukka 21:24) N’olwekyo ne mu kiseera Yesu we yabeerera wano ku nsi tewaaliwo kabaka yali akiikirira Katonda, era ekyo kyandibadde bwe kityo okutuusa mu kiseera eky’enkomerero.