Footnote
b Abamisiri ab’edda baalyanga emigaati oba keeki ez’ebika eby’enjawulo ebisukka mu 90. N’olwekyo, omuntu eyakuliranga abaafumbiranga Falaawo emigaati yabanga muntu wa kitiibwa nnyo. Ate era waliwo eyakuliranga abaaweerezanga Falaawo eby’okunywa. Abo be baakakasanga nti envinnyo oba omwenge Falaawo gwe yanywanga gwe gwabanga gusingayo obulungi era baagukuumanga guleme kuteekebwamu butwa, kubanga bakabaka baateranga okuliibwamu olukwe ne baweebwa obutwa. Oluusi omuntu eyaweerezanga kabaka eby’okunywa yafuukanga muwi wa magezi, era kabaka yamwesiganga nnyo.