Footnote
d Kyo kituufu nti mu Kigambo kya Katonda mulimu n’ebintu ebiyinza okulabika ‘ng’ebizibu okutegeera,’ nga muno mwe muli n’ebimu ku ebyo Pawulo bye yawandiika. Naye tusaanidde okukijjukira nti abo bonna abaawandiika Bayibuli baaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. Omwoyo ogwo era gwe guyamba Abakristaayo ab’amazima leero okutegeera obulungi ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba.’—2 Peet. 3:16, 17; 1 Kol. 2:10.