Footnote
a Ekigambo Septuagint kitegeeza “Nsanvu.” Kigambibwa nti omulimu gw’okuvvuunula Septuagint gwatandikira mu Misiri mu kyasa eky’okusatu E.E.T. era ne guggwa awo nga mu 150 E.E.T. Enzivvuunula eyo ya mugaso nnyo ne leero, kubanga eyamba abeekenneenya ba Bayibuli okutegeera amakulu g’ebigambo by’Olwebbulaniya ebitali byangu kutegeera n’amakulu g’ennyiriri ezimu.