Footnote
b Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:1-14 ne mu Okubikkulirwa 11:7-12 bwombi bwogera ku bintu ebyaliwo mu 1919. Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:1-14 bukwata ku kudda kw’abantu ba Katonda bonna mu kusinza okw’amazima oluvannyuma lw’okumala ekiseera ekiwanvu ennyo nga bali mu buwambe. Ate obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 11:7-12 bwogera ku kulondebwa okwaliwo mu 1919 okw’abaafukibwako amafuta abatonotono abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda oluvannyuma lw’okumala ekiseera kitono nga bakugiddwa okukola omulimu gwabwe.