Footnote
b Saala yali mwannyina wa Ibulayimu. Teera ye yali kitaabwe bombi, naye nga bannyaabwe ba njawulo. (Olubereberye 20:12) Wadde nga mu kiseera kino kya muzizo omusajja okuwasa mwannyina, kikulu okukijjukira nti mu kiseera ekyo ebintu byali bya njawulo. Abantu baali kumpi batuukiridde nga Adamu ne Kaawa bwe baali nga tebannayonoona, era baawangaalanga nnyo. Kyali tekimenya mateeka abantu okufumbiriganwa wadde nga baluganda. Naye oluvannyuma lw’emyaka 400, abantu baali tebakyawangaala nnyo. Mu kiseera ekyo, amateeka Katonda ge yawa Musa gaagaana omuntu okufumbiriganwa n’omuntu gw’alinako oluganda olw’okumpi.—Eby’Abaleevi 18:6.