Footnote
c Amangu ddala ng’abanoonyi b’obubudamu baakatuuka mu nsi, abakadde basaanidde okugoberera obulagirizi obuli mu katabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, essuula 8, akatundu 30. Basobola okukozesa jw.org okuwuliziganya ne ofiisi y’ettabi ab’oluganda abo gye baba bavudde. Nga bwe balinda ebyo ofiisi y’ettabi by’eneebaddamu, abakadde basobola okugezaako okumanya ebikwata ku mbeera y’abanoonyi b’obubudamu ey’eby’omwoyo nga babaako ebibuuzo bye bababuuza mu ngeri ey’amagezi.