Footnote
b Okusobola okutuyamba okwetegekera okuyimba, obuyimba buteekebwako okumala eddakiika kkumi ng’ekitundu eky’oku makya n’eky’olweggulo eby’enkuŋŋaana zaffe ennene tebinnatandika. Obuyimba obwo bukubibwa okutuyamba okuteekateeka omutima gwaffe n’ebirowoozo byaffe okuganyulwa mu programu. N’olwekyo obuyimba obwo bwe butandika tusaanide okutuula mu bifo byaffe tubuwulirize.