Footnote
a Bayibuli eyogera ku mannya ga bamalayika abamu. (Balam. 13:18; Dan. 8:16; Luk. 1:19; Kub. 12:7) Okuva bwe kiri nti Yakuwa yawa buli mmunyeenye erinnya (Zab. 147:4), ne bamalayika bonna bateekwa okuba nga balina amannya, nga muno mw’otwalidde n’oyo eyafuuka Sitaani.