Footnote
a Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2019 kiwa ensonga ssatu lwaki tusobola okusigala nga tuli bakkakkamu ne bwe wagwawo ebizibu eby’amaanyi mu nsi oba ne bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi mu bulamu bwaffe. Ekitundu kino kijja kwogera ku nsonga ezo essatu era kituyambe obuteeraliikirira kisukkiridde n’okwongera okwesiga Yakuwa. Fumiitiriza ku kyawandiikibwa ky’omwaka. Bw’oba osobola, kikwate bukusu. Kijja kukugumya osobole okwaŋŋanga ebizibu ebijja mu maaso.