Footnote
b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Okukabasanya omwana ye mbeera ebaawo omuntu omukulu bw’akozesa omwana omuto okukussa okwegomba kwe okw’okwegatta. Kisobola okuzingiramu okwegatta n’omwana omuto, okukomberera ebitundu bye eby’ekyama, oba okwegatta naye ng’akozesa ekitundu omwana w’afulumira, era kisobola okuzingiramu okutigaatiga ebitundu by’omwana eby’ekyama, amabeere, oba akabina, oba okumukolako ebikolwa ebirala eby’obugwagwa. Kikulu okukijjukira nti omwana aba akabasanyiziddwa aba akoseddwa nnyo era taba na musango. Wadde ng’abaana abasinga okukabasanyizibwa baba bawala, n’abalenzi bangi nabo bakabasanyizibwa. Wadde ng’abasinga okukabasanya abaana baba basajja, n’abakazi abamu nabo bakabasanya abaana.