Footnote
a Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, twagala okweyongera okukula mu by’omwoyo n’okweyongera okumuweereza. Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne obutalekulira oba obutakoowa! Ebbaluwa gye yawandiikira Abafiripi erimu amagezi amalungi agasobola okutuyamba okweyongera okudduka embiro ez’obulamu. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gye tusobola okukolera ku magezi Pawulo ge yawa.