Footnote
c EBIFAANANYI: Ekifaananyi kino kiraga ekiyinza okubaawo mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene.’ Ab’oluganda ne bannyinaffe abatonotono bakuŋŋaanidde mu kifo eky’ekusifu mu nnyumba y’ow’oluganda omu. Olw’okuba ba mukwano, basobola okubudaabudagana mu kiseera ekyo ekizibu. Ebifaananyi ebiddirira ebisatu biraga nti ab’oluganda ne bannyinaffe abo be bamu baalina omukwano ogw’oku lusegere ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika.