Footnote
a Yakuwa yakola enteekateeka abantu mu Isirayiri ey’edda okuweebwa eddembe. Enteekateeka eyo yali eyitibwa Jjubiri. Abakristaayo tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, naye tulina kye tuyigira ku Jjubiri. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Jjubiri eyabangawo mu Isirayiri gy’etujjukiza enteekateeka Yakuwa gy’atukoledde n’engeri gye tuyinza okugiganyulwamu.