Footnote
a Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri okwagala kwe tulina eri Yakuwa, eri bakkiriza bannaffe, n’eri abalabe baffe gye kutuyamba okugumira obukyayi ensi bw’erina gye tuli. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki Yesu yagamba nti tusobola okuba abasanyufu wadde nga tukyayiddwa.