Footnote
c EBIFAANANYI: (okuva waggulu okudda wansi): Omwami ne mukyala we babuulira mu kitundu gye kiri ekizibu okusanga abantu awaka. Nnannyini maka agasooka ali ku mulimu, ow’okubiri ali mu ddwaliro, ate ow’okusatu agenze kugula bintu. Omuntu ow’omu maka agasooka bamutuukako nga bagenda ewuwe mu biseera ebirala mu lunaku. Ow’omu maka ag’okubiri bamutuukako nga babuulira mu kifo ekya lukale okumpi n’eddwaliro ly’abadde agenzeemu. Ate ow’okusatu bamutuukako nga bamukubira essimu.