Footnote
a Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okwogera oba okukola ebintu ebirumya baganda baffe. Tweyisa tutya mu mbeera ng’eyo? Tukola kyonna ekisoboka okuzzaawo enkolagana ne baganda baffe? Twanguwa okwetonda? Oba muli tugamba nti, bwe kiba kibayisizza bubi obwo buzibu bwabwe? Ate watya singa tutera okunyiiga amangu olw’ebyo abalala bye baba boogedde oba bye bakoze? Tutera okukitwala nti ffe bwe tutyo bwe tuli ne tulema okukyusa? Oba obwo tubutwala ng’obunafu bwe tulina bwe twetaaga okulwanyisa?